Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

abalamazi bakyatambula

Abakulisitu wano mu Kampala bakyasaba essaala nga bwebatambulira mu kkubo omwayita abajulizi nga bagenda okutibwa ssekabaka Mwanga mu kyaasa ekya 19. Olunaku olw’eggulo bano baatambudde okuva e Munyonyo ewatibwa  Andrew Kaggwa ne  Donozio Ssebugwawo , nebagenda e Kyamula ewatibwa   Kyamula ne  Ponsiano Ngondwe nebagenda  mu katale ka Owino eatibwa Balikudembe nga era baamalidde ku keleziya ya…

Read More

Tumukunde ayimiriziddwa

KKooti eyisizza ekiragiro ekigaana munnamaggye Brig Henry Tumukunde okusengula abantu ku ttaka lya Jomayi eriweza yiika 200. Ettaka lino liriko ebyaalo nga Njagi , ne Bujuuko ku luguudo lwe Mityana. Amyuka omuwandiisi wa kkooti Thaddeus Opeseni agambye nti waliwo ebitategerekeka wakati w’endagaano eyakolebwa jomayi ne Tumukunde kale ng’omulamuzi alina okubyetegereza Kkooti era eragidde Tumukunde okukomya…

Read More

Agambibwa okutta Kagezi akwatiddwa

Poliisi e Kasese ekutte omusajja agambibwa okukulemberamu okutta eyali amyuka ssabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono ng’agamba nti bamuyooleddwa mu bikwekweto byebakola okufuuza obuzzi bw’emisango. Enanga agambye nti omusajja ono gwebatayagala kwatuukiriza mannya bazze bamugoberera okuva Kagezi lweyafa Omusajja ono bamukwatidde ku siteegi emanyiddwa nga Kiteso- Kamaiba gy’agezaako…

Read More

Omuvubuka asse kitaawe

Abatuuze mu zooni ye Kisugu central wano e Namuwongo baguddemu entiisa omuvubuka  bw’akkakkanye ku kitaawe n’amutemateema okukkakkana ng’amusse. Omuvubuka ono ategerekeseeko erya Kazungu kigambibwa nti akkakkanye ku kitaawe James Kizza namutta ng’abadde ayagala okumubbako ssente eziweza akakadde kamu mu emitwalo nsanvu Kigambibwa nti ensimbi zino Kizza abadde yakazifuna okuva mu kibiina mwabadde atereka era ng’abadde agenda kuzizimbamu…

Read More

Bonna balina okufuna ekisonyiwo

Ekitongole ekigabi ky’ekisonyiwo  kitandise okukunganya ebikwata ku baali abayeekera abebbirira  nebadda mu ggwanga nga tebanaweebwa satifikeeti za kisonyiwo. Kamissiona w’ekitongole kino  Msgr Thomas Kisembo ategezezza nga bwebagenda okuwandiisa abo bonna abakomawo mu ggwanga nebetabika mu balala nga tebafunye lukusa. Kisembp agamba abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno beebo abazze balwanyisa gavumenti okuva mu 1986 era n’asaba buli muyeekera…

Read More

Abakukusa bakyusizza enkuba

  Poliisi eyanise enkubya empya abakukusa gyebazze nayo. oluvanyuma lw’okubatayiza wano mu ggwanga bano kati bakozesa ggwanga lya Kenya nga era kati buli lunaku bannayuganda kumpi 10 bakukusibwa nga babayisa eyo. Omukwanaganya w’akakiiko akateekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu mu minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga  Moses Binoga agamba bebakukusa befuula abagenze e Kenya okukyalira ku b’enganda zaabwe nebayitamu buyisi okwolekera amawanga…

Read More

Abakulisitu batandise okutambula

Enkumi n’enkumi z’abakulisitu  wano mu Kampala baakutambula  nga bagoberera ekkubo eryayitibwamu abajulizi nga bagenda okutibwa ku biragiro bya ssekabaka Mwanga.   Bano baakutandikira Munyonyo ewatibwa  Andrew Kaggwa ne  Donozio Ssebugwawo olwo beyongereyo e  Kyamula nga wano  posiano Ngondwe weyatibwe ,boolekere mu katale ka  St Balikudembe  ewatibwa Balikuddembe bakomekereze ku kanisa ya  St Matia Mulumba ku Old Kampala…

Read More

Omukazi bamutemyeeko omukono

E soroti omukazi bamutemyeko omukono oluvanyuma lw’abasawo abekikwangala okumukuba eddagala effu n’asanyalala omukono . Janet Aliano owo kukyalo Arusi nga aeza emyaka 54 y’agenda mu ddwaliro mu katawuni ke Takum okumujanjaba omusajja gw’ensiri, omusawo eyali mu kalwaliro Justine Elangota n’amukuba empiso ku Mukono okuva olwo negusasnyalala okutuusa lwebagutemyeko. Okusinziira ku musawo mu ddwaliro ekkulu e Soroti  Dr.…

Read More

Gavumenti yakwewola obuwumbi obusoba mu 200

  Olukiiko lwabaminisita luwadde gavumenti olukusa okwewola obuwumbi 280 okwongera ku bunji bw’amasanyalaze mu ggwanga. Ku zino obukadde bwa Euro 45 bwakuva mu ekitongole kya Bufaransa ekyebyenkulaklana sso nga obukadde 40 zaakuva mu banka mu ggwanga ya Germany eya German Development Bank. Zino zaakuzimba ebbibiro ly’amasanyalaze erya Muzizi nga lino lisangibwa mu disitulikiti ye Kibaale. Minisita w’ebyamawulire Jim Muhwezi…

Read More