Sarah Nabikolo nga ono ye namwandu w’omugenzi Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiwukira asindikiddwa mu kkooti enkulu ne banne abalala babiri ku musango gw’okutta bba.
Ono abadde alabiseeko mu kkooti ye Makindye
Obujulizi obuleeteddwa mu kkooti eno bulaze nga Kasiwukira ne mukyalawe bwebaalina obutakkaanya mu bufumbo bwabwe .
Obujulizi era bulaze nga mukyala Kasiwukira bweyalumiriza bba okubeera n’amayembe…
Poliisi erumirizza loodi meeya Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye nti bapangisa bamalaaya okugyeyambulira buli lwebaba babakwata nga bakuba enkungaana z’enongosereza mu mateeka g’eggwanga.
Aduumira ebikwekweto mu mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nti ababiri bano baagala kutabangula mirembe mu Kampala nga bekwaasa nti babanja nkyukakyuka.
Kaweesi agamba nti baakitegeddeko nga bamalaaya bano bwebaagala…
Bannabyabufuzi 10 abavunaanibwa okufuuka ekisekererwa kyaddaaki beyimiriddwa .
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City Hall Moses Nabende.
Ekkumi bano kuliko n’omuyambi wa loodi meeya wa Kampala Deo Mbabazi nga eya beyimiriddwa ku mitwalo 50 buli omi nga ababeyimiridde buli omu akabbe wa kakadde kamu ezitali zabuliwo.
Omulamuzi abalagidde beyanjule mu kkooti nga 10 June okutandika…
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okuwaayo endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga olwa bannaabwe abakwatiddwa.
Bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu ne ssenkagale w’ekibiina kya FDC Mugisha Muntu bategezezza nga bwebatayinza Kuteesa nga banaabwe tebaliiko.
Bano babadde balina okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka okuwa endowooza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka…
Ng’abasomesa bagenda mu maaso n’okwekalakaasa, abazadde abasinga leero basazeewo butatawaana kusindika baana ku ssomero
Ku ssomero lya Kyagwe road primary school, Nakivubo blue primary, Nakivubo settlement ne Bat valley primary school , abayizi balabise nga baakendedde okusinziira ku baatandise olunaku lwajjo
Abasomesa betwogeddeko nabo bagamba nti balinze ebinaava mu Lukiiko olw’okuna wakati w’ekibiina kyaabwe ne gavumenti
Akulira omukago…
Eby’ekibiina kya FDC okugenda mu palamenti okuwa endowoza zaabwe ku nongosereza mu ssemateeka kwongedde okukaluba.
Kati akulira abakyala mu FDC Ingrid Turinawe akwatiddwa wamu ne banne abalala 2 wali ku palamenti gyebabadde bagenze okuwayo endowooza zaabwe.
Akulira abavubuka ba FDC Francis Mwijukye agambye nti bano bakwatiddwa n'omukyala ategerekese nga Nalongo Hamida ng'ono yye ayambuddwa n'okukubwa ensambaggere ezimutwazizza…
Abantu abasoba mu 50 bafudde oluvanyuma lw’ettaka okubumbulukuka nelibaziika mu ssaza lye Antioquia mu ggwanga lya Colombia.
Omukulembeze w’eggwanga lino Juan Manuel Santos ategezezza nga ab’obuyinza bwebatamanyi bantu bameka bakyabutikiddwa naye nga batya nti abawerako baakiziddwa.
Enkuba eyatonye nga tesalako y’aviiriddeko omugga Liboriana okubooga amazzi negeera ettaka eryabumbulukuse neribikka abawerako.
Abaddukirize batuuse dda nga era banji basima mu…
Poliisi mu disitulikiti ya Amuria eriko omukazi ow’emyaka 46 gwekutte lwakugezaako kwewa butwa yette nga alumiriza mukamwanawe okumuyisaamu amaaso.
Okusinziira ku yeerabiddeko n’agage,Margaret Idiat agezezzaako okwetta nga agamba akooye okujoogebwa.
Mukyala Margaret Idiat agamba mukaamwanawe ono Hellen Apio tasiima.y’abagulira ettaka n’okulabirira mutabaniwe mungeri eyenjawulo naye mukazi we amuyisaamu amaaso nga kwogasse n’okumuyita malaaya.
Atwala poliisi ye Amuria Joseph…
Minisita webyenguudo Engineer John Byabagambe ategezezza nti omulimu gwokuzimba oluguudo lwe ggaali yomukka olwa STANDARD Gauge Railway ebula mbale gutandike.
Agambye bana Uganda yonna gyerunayita tebagenda kutandika kintu kyonna nga tebamaze kuliyirira bantu, abasing kyebabadde bererikiridde.
Asinzidde mu Colline Hotel e Mukono mu musomo ogwategekeddwa ministry yenguudo okunyonyola abakulembeze nabatuuze, nagamba nti gavumenti yatekawo ensawo enzibizi okuliyirira…
Poliisi ezinzeeko amaka g’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ne loodi meeya erias Lukwago nebabalemesa okuva ewaka.
Besigye y’omu ku kibinja kyabanakibiina kya FDC abasuubirwa okulabikako mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka akakola ku nsonga z’ebbago z’etteeka ku nongosereza mu ssemateeka w’eggwanga.
Ekikwekweto kino kikulembeddwamu omu ku baduumira ebikwekweto bya poliisi e Kasangati Fred Ahimbisibwe…