Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa ne dereeva we bwebabadde boolekera e Wankulukuku awabadde olukungaana lw’abavuganya ku nongosereza mu mateeka
Poliisi ekozesezza eryaanyi okwasa endabirwaamu y’emmotoka ya Besigye ey’emabega olwo n’ekubamu ttiyagaasi nga tennabasikambula mu motoka munda
Mu kavuvungano kano, abawagizi ba Besigye batandise okuyiika olwo omukka ogubalagala negulamula n’amasasi mu bbanga.
Twogeddeko era…
Abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwaamu balemezzaayo ekibonerezo eky’emyaka 32 egyaweebwa omusajja eyatta mutabani we ow’emyaka ebiri ng’amulanga kumukaabirira.
Abalamuzi bagambye nti buli kimu kiraga nti Charles Sekamatte yatta mutabani we Ronald Kayiwa omulambo gwe n’agusuula mu kasasiro gyegwajjibwa.
Abalamuzi abakulembeddwaamu Remmy Kasule ne Faith Mwondha beebakulembeddemu ensalawo eno.
Wabula omulamuzi Egonda Ntende awakanyizza balamuzi banne ng’agamba nti ekibonerezo…
Abasomesa basatu e Mubende bakwatiddwa poliisi lwa kusobya ku bayizi bataano ne babafunisa embuto ku ssomero lya gavument erya Kitenga Secondary School.
Abakwatiddwa kuliko Joseph Twinomasiko ne Bright Junior ate omulala ategerekeseko erya John nga bano babadde basomesa ku somero lya Kitenga Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Mubende .
Bano okukwatibwa kiddiridde…
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kaihura atandise okusisinkana abantu abetoolodde Namugongo mu kwetegekera olunaku lw’abajulizi.
Atandikidde Mukono gy'asisinkanidde abatuuze ku ssomero lya Mukono High School.
Eno agugumbudde abaserikale be okuba abanafu lubojje nebebaka mu kiro nga n'awamu poliisi ziggalwa
Agambye nti bangi bakwatiddwa naddala mu kibuga Kampala n’asaba abaziyiza emisango bongere okuyambako mu kulondoola emisango osanga kinakendeeza ku fayilo ezibulira mu…
Olukiiko lwabaminisita ba gavumenti bataddewo akakiiko akagenda okwekenenya ekizibu kya zaala , okukozesa ebiragalalagala wamu n’ebikolwa eby’obwenzi ebiwanise amatanga mu ggwanga.
Akakiiko kano ak’abantu 8 kaakukulemberwamu minisita w’empisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo nga era kasuubirwa okuleeta ebiteeso ku mateeka agasaana okulwanyisa obwononefu wamu n’okulaba nga abavubuka betaba mu mirimu egibagasa bave mu byongera okubaziika.
Minisita w’ebyamawulire…
Ab’ekibiina kya kya UPC bongezzaayo ttabamiruka w’ekibiina kyabwe okutuusa omwezi gw’omusanvu lwabbula lyansimbi.
Ttabamiruka abadde owokutuula nga 12 June kati wakutuula nga 10 July .
Kino kibikuddwa ssenkagale w’ekibiina kino Dr Olara Otunnu bw’abadde ayogerako eri bannakibiina mu bitundu bya West Nile ku Republican Hotel .
Dr. Otunnu agamba ekibiina mu kiseera kino kiri mu katuubagiro kabyansimbi nga…
Omubaka wa palamenti ow’abavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga asaanye okwongera okukola enyo oluvanyuma lw’omusango gweyawaaba nga awakanya eky’okulondebwa kwa Steven Kavuma ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga okumumegga.
Kkooti enkulu eragidde Karuhanga asasule ensimbi zonna ezisasanyiziddwa Kavuma nga amutwala mu kkooti ku nsonga ezitaliimu.
Omulamuzi Steven Musota agobye okusaba kwa Karuhanga kweyayisa mu munnamateekawe Eron Kiiza nga…
Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti batongozza kawefube omujja ow’okubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Kawefube omujja atuumiddwa komya omuzanyi okubeera diifiri era kapiteni nga agendereddwamu kumanyisa bannayuganda nti omukulembeze w’eggwanga nga naye agenda kwesimbawo ku bwapuklezidenti neera ate y’alonda abakulira akakiiko k’ebyokulonda.
Kawefube ono akulembeddwamu loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago nga era abali mu kino bagamba baagala kusisismula…
Ab’ekibiina kya NRM baagala ababaka ba palamenti abatalina bibiina bawerebwe.
Ekiteeso kino bakiwaddeyo eri akakiiko ka palamenti akakola ku bbago ly’etteeka mu nonngosereza za ssemateeka w’eggwanga.
Nga bakulembeddwamu amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong, bategezezza nga abatalina bibiina bwebanafuya enkola y’ebyobufuzi ey’ebibiina ebingi.
Bano era baagala Kati buli asala okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala nabo bafiirwe…
Akakiiko k’ebyokulonda kafunye obuwumbi 50 okuyamba okuziba eddibu lya ssente eribaddewo mu kuddukanya emirimu mu kwetegekera okulonda kwa 2016.
Omuwandiisi w’akakiiko kano Sam Rwakojo ategezezza nga bweabafunye ssente zino oluvanyuma lw’ensisinkano n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyensimbi.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda gyebuvuddeko y’ategeeza ababaka ba palamenti nga akakiiko bwekaali ketaaga obuwumbi obusoba mu 70 okusobozesa emirimu okutambula obulungi.