Ab’ekitongole ky’amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation batongozezza ekikwekweto okukwata abo bonna ababba amazzi.
Ekikweketo ekisooka kikoleddwa mu bitundu bye kiwaatule era nga kikutte akulira omuzikiti gwe Kiwaatule ategerekese nga Abubakar Lugobe.
Abalwanyisa omuze guno abakulembeddwaamu Eng. Baker Kansiime bagambye nti omuzikiti guno gubadde gwakabba amazzi ga bukadde 10 emyaka kkumi emabega ng’ono kati wakusasula obukadde…
Omusajja afunye obutakkaanya ne mukyala nga buva ku ssimu asazeewo kumwokya
Abbo Isonjo enzalwa ye Congo yakkakanye ku mukyala we Easter Namutebi n’amuyiwako amafuta n’amwokya yenna lwakumusanga na bubaka bw’omukwano ku ssimu ate nga tebuva wuwe.
Bano bamaze mu bufumbo bwaabwe emyaka 4 nga amulinamu omwana omu.
Twogeddeko ne Namutebi ku ddwaliro e Mulago wabula ng’embeera ye yeeralikiriza.
Omwana eyagwa mu ntamu y’amata nga nyina ng’ataasa banne obutatwalibwa mataba asaba buyambi.
Gertrude Nambalira ow’emyaka 28 nga mutuuze we Namungona agamba alina abaana basatu kyokka nga kitaabwe yalwalwa natwalibwa mu kyalo.
Mu kiseera kino tebalina buyambi oluvanyuma lw’enkuba eyatonya ku ssande okutwala ebintu byabwe.
Nambalirwa kati agumbye ku ddwaliro e Mulago n’abaana be bonna kyokka ng’omuto ow’emyezi…
Ab’obuyinza mu gombolola ye Kasambya e Mubende basazeewo okuggala essomero lya gavumenti erya Nakawala Primary School okumala Ssabbiiti namba olw’ebigambibwa okuba ebyokola okuzingako abayizi ne bibasula eddalu nga n’abamu bafiiriddwa obulamu.
Omukulu w'esomero lino Amiisi Kitunzi ategezezza nga bwebaawaliriziddwa okugalawo esomero lino okusobola okutaasa obulamu bwa bayizi.
Kino kimaze emyezi mukaaga era ng’embeera eno eviiriddeko abayizi okudduuka…
Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo akalabba eri omusajja eyatta bakyala be babiri.
Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno okuli Remmy Kasule, Faith Mwondha ne Richard Buteera bakkiriziganyizza n’okusalawo kw’omulamuzi wa kkooti ye Masaka Vincent Kibuuka Musoke nti omusajja ono asana kuttibwa
Abalamuzi bakakasizza nti omwana omuto ow’emyaka 15 eyalaba kitaawe ng’atta bakazi ne tasobola kuba nga yalimba
Omwana ono eyaleetebwa…
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagenze mu luwummula oluvanyuma lw’okuyisa embalirira y’eggwanga
Bano okudda nga betegekera kwogera kwa mukulembeze w’eggwanga okugenda okubaawo ku lw’okuna
Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Olanya agambye nti ababaka babawaddemu obudde okuwummula bakomewo ku kwogera kwa pulezidenti nga bali kalaso
Ono wabula agambye nti okwogera kuno okugenda okubeera ku Conference center kwakubaawo mu…
Ssabaminista w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda atenderezza eyali omukulembeze w’eggwang lya Tanzania Julius Nyerere gw’ayogeddeko ng’omusajja enjasa biggu ate omukkakkamu
Ng’ayogerera mu missa y’okusabira Nyerere, Dr Rugunda agambye nti Nyerere yakolera nnyo emirembe ate nga yabudamyanga nebannayuganda bangi abayiggibwanga Idi Amin Dada
Nyerere yalangirirwa mu lubu lw’abesiimi mu mwaka gwa 2009 era ng’olwaleero namwandu we Maria Nyerere abadde…
Waliwo abafumbo abalala abakubye eddwaliro lye Mulago mu mbuga z’amateeka lwakukyusakyusa mwana waabwe nebabawaamu omulambo gw’omwana omuwala
Saudah Nabakiibi ne Farouk Bukenya bagamba nti bazaala omwana waabwe nga 13 July 2006 era ng’eyabazaazisa ye Dr. Asinja Kapuru.
Omukyala ono agamba nti omwana we gweyazaalira ku kiso bamutegeeza nti yali afudde nebamuwa omulambo gw’omuwala era nebamuziika
Ono wabula agamba…
Alipoota efulumiziddwa eraga nti Uganda yeemu ku mawanga agatassa kitiibwa mu mateeka
Alipoota eno efulumiziddwa ekibiina kya World Justice Project era nti Uganda ekwata kya 95 ku mawanga 102 agatassa kitiibwa mu mateeka
Uganda era ekwata kya 15 ku mawanga 18 agali wansi w’eddungu Sahara agatassa kitiibwa mu maka era ekwata kya 12 ku mawanga agalimu bamufuna…
Poliisi mu disitulikiti ye Mpigi eriko abakungu b’ekitongole ky’ebyebira 4 bekutte lwakumala gawandagaza masasi nebalumya omutuuze omu.
Okusinziira ku kunonyereza kwa poliisi okwasoose, abakwata bano baayimirizza biloole 2 byababadde batebereza okwetikka ebikondo n’enku okuva mu bibira ebyaganibwa okutemwamu emiti.
Wabula biloole bino byagaanye okuyimirira olwo abakuumi bano okabadde abajaasi 2 n’omuserikale wa poliisi nebawandagaza amasasi agaakwatiddemu n’omu…