Ab’ekibiina kya national alliance for change bagaala wasiibweewo gavumenti y’ekiseera enategeka okulonda okutaliimu kyekubiira
Nga bawaayo ebirowooozo byaabwe eri akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka , akulira ekibiina kino Sam Lubega Makaku agambye nti pulezidenti Museveni alina okuva mu ntebe okusobozesa okutegeka okulonda okubaawo nga temuli mukono gwe omuwanvu era nga kino kirina okubaawo emyezi esatu…
Ba dereeva ba taxi wansi w’ekibiina kya Uganda Drivers Cyclist and Allied workers balangiridde nga bwebagenda okussa wansi ebikola ku lunaku lwa bbalaza lwa poliisi gyebagamba nti esusse okubatulugunya
Ssentebe w’omukago gw’abakozi omuli ba dereeva bano Wilson Owere agamba nti okwekalakaasa kuno ba dereeva mwebagenda okuyita obutakwata ku motoka yonna okulaga obutali bumativu
Ba dereeva baludde nga…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agenda kutongoza ekijukiro ekirala, okujukira abantu abafiira mu lutalo lwe Luweero.
Kino kyakusimbibwa ku lunaku olw’okubiri nga uganda egyukira olunaku lw’abazira.
Bwabadde ayogera eri banamawulire omwogezi wa government Ofwono Opondo agambye nti ekijukiro kino kyakusimbibwa mu kitebe kye Gombolola ye Dwaniro .
Emikolo gy’olunaku lw’abazira kyakubeera ku somero lya Katwe primary mu district…
Pulezidenti Museveni asuubizza nga gavumenti bw’egenda okutandika okukozesa tekinologiya w’omulembe okulwanyisa obuzzi bw’emisango
Ng’ayogerako eri eggwanga, Pulezidenti agambye nti bagenda kussa kamera ku nguudo z’omu kibuga okwetoloola eggwanga lyonna okusobola okulondoola abazza emisango.
Ono era atenderezza aba poliisi olw’okukuuma emirembe ku mikolo gy’abajulizi egyakaggwa
Ku byenguudo, pulezidenti agambye nti musanyufu nti enguudo ezisinga zizze zikolebwa nga kati bazze…
Okuwulira omusango okuvunaanibwa omupoliisi eyakuba munnamawulire tekugenze mu maaso
Kiddiridde omusawo wa poliisi eyekebejja munnamwulire Andrew Lwanga obutalabikako mu kkooti nga tawadde na nsonga
Joram Mwesigye agambibwa kukuba munnamawulire Lwanga n’amumenya ekizi ng’agenda mu maaso n’okukola emirimu gye
Omulamuzi wa kkooti eya Buganda Road Ssanyu Mukasa kati omusango agwongezezzaayo okutuuka nga 25 omwezi guno.
Abasuubuzi neba kasitoma baabwe basigadde bakonkomalidde oluvanyuma lw’enkuba etonnya ku makya ga leero okutwaala emmali yaabwe
Emidaala egyakazimbibwa ku luguudo lwa kafumbe Mukasa giyiise wakati mu mataba agayiseewo butereevu okutuuka mu maduuka g’abasuubuzi
Bbo nno abasuubuzi omusango bagusalidde KCCA gyebagamba nti ekyalemereddwa okugogola emyaala
Mu balala abakoseddwa kubaddeko aba USAFI, ne Nakivubo.
Omusajja agambibwa okutta omusirikale mu kwekalakaasa okwaali mu kibuga emyaka esatu emabega asazeewo butanyega kagambo mu kkooti
Edson Wako ng’ayita mu munnamateeka we Ssali Ssenkeezi agambye nti asazeewo okusirika
Wako avunaanibwa kutta John Michael Ariong ng’ono yakubwa jjinja nga poliisi yezooba n’abantu abaali beekalakaasa mu biseera bya walk to work.
Bino byonna byaali ku miniprice mu mwaka gwa…
Poliisi ku kisaawe Entebbe ekutte amasanga agaweza kilo 740 nga gabadde gakukusibwa okutuuka mu ggwanga lya Singapore
Amasanga gano agabalirirwaano obuwumbi butaano nekitundu gawandiisibwa mu mannya ga munnayuganda akyayiggibwa
Atwala poliisi ku kisaawe Entebbe Lodovick Awita agambye nti amasanga gano gabadde malambe nga kiraga nti gabadde tegava mu yuganda nga bakugekebejja okuzuula eggwanga bwegabadde gava
Mu ngeri yeemu…
Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Col. Shaban Bantariza ng’omumyuka w’ekitebe ky’ebyamawulire ekya gavumenti ekya Media center
Kino kikakasiddwa omwogezi wa gavumenti era nga yoomu y’atwala ekitebe kino Ofwono Opondo
Bantariza yasooka okulondebwa mu mwaka gwa 2013 kyokka n’akwatibwa nga yakakolako emyezi ena era okuva olwo abadde atoba na misango gya kukozesa lukujjukujju okudibaga ensonga ku ssomero lya bannamaggye…
Abadde omulabirizi wa kkanisa mu kitundu kya West Buganda aziikiddwa ku lutikko e Kako mu disitulikiti ye Masaka
Ssabalabirizi w’ekitundu kye Masaka John Baptist Kaggwa yoomu kubatenderezza omugenzi ng’akoze ennyo ku lw’eddiini n’eggwanga lye
Ono era agambye nti omulabirizi Godfrey Makumbi akoze kyamaanyi okugatta abantu mu kitundu
Omulabirizi Makumbi yafa ku lunaku lwa Sunday oluvanyuma lw’okumala ebbanga ng’atawanyizibwa…