Poliisi e Misiri egamba nti esobodde okulemesa bbomu ebadde etegeddwa mu bimu ku bifo by’obulambuzi mu ggwanga lino.
Abasajja basatu ababadde besibye bbomu babadde batuuse ku mulyango kyokka nebabazuula mangu
Poliisi bano egezezzaako okubasemberera era omu ku bbo n’akasuka ekisibi kya bbomu ky’abadde yesibye , ow’okubiri nebamukuba amasasi agamusse ate ow’okusatu asobodde okudduka n’ebiwundu
Abantu ba bulijjo babiri…
Eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti Nandala Mafabi asiimuddewo olugambo nti alina olutalo ku mukulembeze w’ekibiina mw’ava Maj Gen Mugisha Muntu
Mafaabi ayagala obwa ssabawandiisi w’ekibiina agamba nti okusuulawo emirimu gye kibiina tekaali kakodyo ka kulengezza bukulembeze bwa Muntu nga bangi bwebabyogera
Mafaabi agamba nti ayagala ekifo kino okusobola okunyweeza ekibiina kubanga alina obukugu mu kukunga abantu…
Ebibiina ebivuganya gavumenti byekozeemu omukago byegutuumye Democratic alliance nga guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016.
Bano era bakaanyizza okutondawo akakiiko akeetongodde kalonde omuntu omu agenda okuvuganya ku bwa pulezidenti mu mwaka 2016 ne ku mitendera gyonna
Okusinziira ku kiwandiiko kyebagenda bonna okusaako emikono, bano baakukola gavumenti ey’ekaseera egenda okukola emyaka 5 gyokka , n’oluvanyuma okulonda okw’amazima…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozeza ekijukiro ekirala eky’abazira mu gombolola ye Ddwaniro esangibwa mu disitulikiti ye Kiboga.
Museveni olumaliriza bino n’ayolekera ku somero lya Katwe primary school emikolo emikulu gyegiri.
Mu kaseera kano okugaba emidaali kugenda mu maaso era nga kukulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko akagaba emidaali Gen Elly Tumwine.
Mu bawereddwa emidaali mwemuli n’omubaka we…
Waliwo munnakibiina kya NRM okuva mu disitulikiti ye Lwengo eyesimbye mu yali omubaka wa Bukoto mu bukiikaddyo,Haji Muyanja Mbabali ng’ayagala agaanibwe okwesimbawo kubanga talina buyigirize bumala
Kinajjukirwa nti ne mu mwaka gwa 2011, Mbabali yagaanibwa okwesimbawo lwabutaba na bisanyizo byebimu.
Ng’ayita mu bannamateeka be aba Ssewankambo and Company advocates, Posiano Matovo agambye nti amaze okuwandikira abakulira yunivasite…
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lya Burundi kataddewo nga 15 omwezi ogujja okulonda omukulembeze w’eggwanga mu ggwanga lino.
Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga ga Africa bazze basaba okulonda kwongezebweyo wakiri okumala weeki 6, kyoka kino tekinasoboka.
Okulonda kuno kwalina okubeerawo nga 26 omwezi guno, kati kutereddwa nga 15 omwezi ogujja.
Bo banansi ba Burundi bakyagenda mu maaso n’okwekalakasa ngabawakanya ekya…
S
Eyali omubaka wa palamenti akiikirira ekitundu kye Kongasis ekisangibwa e Ssabinyi nga ye Bartile Jackson Toskin afudde
Ono yafiiridde mu kabenje e Iganga dereeva we bweyayingiridde ki tuleera
Mukyala we Mary Toskin naye yakoseddwa ng’awereddwa ekitanda e Mulago
Mutabani we Edward Toskin agambye nti dereeva eyavuddeko akabenje omwafiiridde kitaawe yasobodde okudduka.
Bbo babaka abakiikako naye bamwogeddeko ng’omusajja abadde ayagala…
Eby’okwerinda binywezeddwa ku kkooti ng’okuwozesa abagambibwa okutega bbomu ezatta bannayuganda abasoba mu nsanvu kugenda mu maaso.
Asoose mu kaguli ye Mahmood Mugisha eyakkiriza nti mu butuufu yayambanga aba Alshabaab okusendasenda abavubuka okubegattako era nga ne bbomu zenyini yazimanyaako nti zakutegebwa
Omusango guno gwaali gayimiriramu oluvanyuma lw’okuttibwa kw’amyuka ssabawaabi wa gavumeti Joan Kagezi.
Mu kulaga obumu , ssabawaabi yenyini…
Omubaka Betty Nambooze asumattuse akabenje enkya ya leero bw'abadde ava okutwala abaana be ku ssomero
Ono atwaliddwa ku ddwaliro lye Mukono abasawo gyebamwekebejjeredde n'oluvanyuma n'adda ewaka
Omuyambi we Robert Namugera atugambye nti ono tafunye biwundu bya maanyi kyokka ng’alumizibwa mu kifuba
Ono emotoka ye y'eremereddwa okusiba n'ayingira mu lusuku
Abakozi ba gavumenti abasoba mu 3000 tebanafuna musaala gyabwe ogw’omwezi oguwedde ate abo abakuzibwe tebanaba kuweebwa nsako yabwe.
Kino kibikuddwa akulira aby’abakozi mu kibiina kya Uganda National Teachers Union Filbert Baguma.
Baguma agambye nti waliwo abasomesa 2,000 abakola ne KCCA abatanasasulwa musaala, ate ng’abakozi 1000 tebanasasulwa okuva mu disitulikiti ye Nakasongola.
Baguma era anokoddeyo n’ebitundu ebirala omuli Hoima,…