Pulezidenti Museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku ky’ayita okukozesa obubi emikutu gya yintaneti.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akawungeezi ka leero, pulezidenti alayidde okufafaagana n’abo abakyatambuza obulimba naddala nga bakozesa omukutu gwa Whatsup.
Ono asonze ku bbaluwa ebadde etambulira ku mukutu gwa Whatsup ng’eraga nti ono aliko ebbaluwa gyeyawandiikira eyali omukulembeze w’eggwanga lya Libya Muammar Gaddaffi mu mwaka 2010 kyokka…
Waliwo enyonyi ya Malaysia efunye obuzibu kuyingini n’egwa w’etalina kugwa
Enyonyi eno ebadde eyolekera ekibuga kya Malaysia ekikulu Kuala Lumpur.
Abasaabaze bonna ebisatu abagibaddeko bavuddemu nga tebatuseeko buzibu
Waliwo abagambibwa okuba abatujju bataano abakwatiddwa
Bano bajjiddwaako emmundu 17 n’emotoka enzibe 8
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa omukago gw’abakulira poliisi mu mawanga ga east Africa nga gukolagana n’ogwo ogw’abatwaala poliisi mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Africa.
Atwala poliisi y’ensi yonna mu Uganda Asan Kasingye agambye nti mu kikwekweto kino mwebasoboledde okununula abantu 8 abaali bakukusibwa nga…
Eyali muk’omukulembeze w’eggwanga Idi Amin nga ye Sarah Amin afudde.
Ono afiiridde mu kibuga London ekya Bungereza ng'aweza emyaka 60.
Mutabani wa Amin Jaffer Amin agambye nti batandise enteekateeka ez’okuza omulambo.
Ono agambye nti kitaawe yali ayagala nnyo omukyala ono era nga tebawuukana okutuuka lweyafa
Abaaliwo bagamba nti omukyala ono eyali omuzanyi mu bandi y'amaggye Amin yamusiima bali mu…
Gavumenti eyongezezza emisolo ku bbiya, sigala, ebitamiiza nga wine n’enkagaali, ebikolebwa mu ngano n’ebikolebwa ba mu mbaawo.
Okufuna paasipoota kati omuntu yetaaga emitwalo 15 okuva ku mitwalo 12
Abagaala paasipoota eza mangu nga zifuluma mu ssaawa 24, omuntu wakusasula emitwalo 30
Mu kawefube w'okutaasa obutonde bw'ensi, emisolo ku motoka enkadde gyeyongedde ng’ezitunuuliddwa ennyo zeeziri mu myaka etaano ne…
Abasuubuzi ku kizimbe kya Majestic Plaza bali mu kwekalakaasa
Bano basazeewo okuggala amaduuka gaabwe nebatuula ebweru
Bawakanya ekya landi loodi waabwe Drake Lubega okulinyisa ez'obupangisa n'amasanyalaze
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano b'egamba nti babadde batandise okukola effujjo
Kati poliisi etegese olukiiko wakati wa nanyini kizimbe n'abasuubuzi okulaba nti olutalo luggwaawo
Akulembeddemu poliisi Micheal Musana asabye abasuubuzi okukkakkana nga byonna…
Omu ku basajja abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 mu mwaka 2010 amazeeko abantu ebyewungula bw'asobodde okwogera amannya g'abaatega bbomu n'ategeera n'ebifanyi byaabwe nga bimulagiddwa
Ono alagiddwa ebifananyi by'emitwe gy'abalumira mwoyo abeesibako bbomu era n'abategeera ng'agamba nti omu bakolagana butereevu naye
Idris Nsubuga agambye nti eyabalulira ku Rugby grounds e Lugogo yeeyali Muruzalu nga nzaalwa…
Bba w'omuyimbi Stecia Mayanja addiziddwaayo mu kkomera e Luzira
Kino kikoleddwa okuwa oludda oluvuganya obudde okwekebejja empappula z'abajulirwa abaleeteddwa Abbas Mubiru ng'asaba okweyimirirwa
Ku bano kuliko Victoria Bukenya omutunzi w'essimu , Andrew Kayonga omutunzi w'emmotoka, ne Godfrey Ssebaggala omusuubuzi ku Mutaasa Kafeero
Omulamuzi omukulu owa kkooti eya Buganda road Lilian Buchana kati omusango ogwongezezzaayo okutuuka lw'enkya lw'anasalawo oba ono amuyimbula…
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayisizza ekiragiro ekiyita omusawo omukugu mu nsonga z’abakyala Dr Tamale Ssali.
Kiddiridde ono okwepena akakiiko kano omulundi ogw’okubiri okunyonyola engeri gyeyafunamu ettaka erya Kitante pimary school.
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, akulira akakiiko akanonyereza Robert Migadde agambye nti ono alina okunyonyola engeri gyeyafunamu yiika ettaano ennamba ezaali ez’essomero.
Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye alabudde abalondedwa okukulembera emukago omugya ogwa Democratic Alliance ,nti government egenda kubwa akadde akazibu, era nga basaanye okubeera abulindaala.
kinajukirwa nti bano amakya ga leero bakedde kwekolamu mukago gwebatuumye Democratic alliance nga guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016, songa bakanyizza n’okutondawo akakiiko aketongodde kalonde omuntu omu agenda…