Ab’ekibiina kya DP balangiridde olunaku lw’okutegekerako ttabamiruka omugenda okulondebwa abakulembeze abapya.
Ttabamiruka ono wakuva nga 23 okutuusa nga 26 omwezi ogujja nga era baakulonda ssenkagale w’ekibiina omuggya omumyukawe, ssentebe w’ekibiina mu ggwanga nebassentebe b’ebitundu ebyenjawulo.
Omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande agamba abakungu b’ekibiina kino abasoba mu 1500 bebasuubirwa okwetaba mu ttabamiruka ono okuva mu bitundu by’eggwanga…
Abantu 3 bakwatiddwa ku byekuusa ku kutimba ebipande okuli ebifananyi bw’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi .
2 bakwatiddwa wano mu Kampala sso nga omulala ategerekese nga Robert Kabagambe ’akwatiddwa e Kabale.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga era ategezezza nga bwebaliko emmotoka gyebakutte nga ekubyeko ebipande bya Mbabazi.
Enanga agamba baasindise dda basajja baabwe okutimbululayo…
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’alina okusoka okwewandiisa nga tannetaba mu kamyufu ka kibiina.
Nga ayogerera ku NTV amakya galeero, Kasule ategezezza nga Mbabazi bw’ali ow’eddembe okuvuganya ku kifo kyonna mu kibiina kasita asooka okwewandiisa nga munnakibiina.
Lumumba agamba ekibiina kibadde kilongoosa enkalala zaakyo kale nga era enkalala zino zezijja okugobererwa singa…
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ayanirizza Mbabazi mu lwokaano lw’okwesimbawo ku bwa pulezidenti.
Besigye ategezezza nga buli Muntu yenna avaayo ng’ayagala enkyukakyuka bw’asaana okuwagirwa.
Ono ajjukizza abantu ebiwandiike mu baibuli, abamu ku basinga okusooka okulumba yesu ate bwebakyuuka nebatandika okubuulira enjiri kale nga Besigye agamba nti ne Mbabazi agambye nti asobola okukyuuka
Azzeemu okujjukiza abantu…
Kyaddaaki kkooti ekkirizza Robert Shaka okweyimirirwa oluvanyuma lw’ebbanga ku alimanda e Luzira ku musango gy’okuwandiika ebivvoola omukulembeze w’eggwanga ku mutimbagano gwa yintaneti.
Shaka alagiddwa asasule obukadde 2 ezabuliwo sso nga abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 5 ezitali zabuliwo.
Wakudda mu kkooti nga 30th June okutandika okuwulira omusango gwe.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti wakati wa 2011 ne 2015,…
Abayisiraamu basabiddwa okutunula enkaliriza ku mwezi ogusuubirwa okuboneka wiiki eno nga akabonero k’entandikwa y’ekisiibo ky’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan.
Akulira amateeka ga sharia ku kitebe ky’obuyisiramu ekya Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu agamba okusinga abakkiriza basaanye kutunula nyo nkaliriza mu kiro ky’olunaku olwokubiri.
Singa omwezi tegulabika ku lwokubiri okusiiba olwo kwakutandika ku lunaku lwokuna.
Abakulembeze b’ekibiina kya FDC abajja basuubirwa okulayizibwa olwaleero ku kitebe ky’ekibiina wali e Najjanankumbi.
Bano baalondeddwa wiiki ewedde ku bifo ebyenjawulo.
Nandala Mafabi ye ssabwandiisi w’ekibiina omuggya, Ambasada Wasswa Biriggwa ye ssentebe mu ggwanga lyonna , Ingrid Turinawe wakukunga bannakibiina, Ibrahim semujju Nganda ye mwogezi , Alice Alaso y’amyuka ssentebe w’ekibiina mu buvanjuba bw’eggwanga n’abalala.
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Amama Mbabazi alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku bwapulezidenti avuganye n’eyali mukamawe pulezidenti Museveni omwaka ogujja.
Mu bubaka ku mukutu gwA youtube, Mbabazi asabye bannayuganda bonna okuli n’abekibiina kya NRM okumuwagira asiggukulule Museveni.
Mbabazi anokoddeyo ebintun 8 by’agenda okuteeka enyo essira okuli okutumbla enkulakulana eyomuggundu, okutonderawo bannayuganda emirimu okulwanyisa obuli bw’enguzi n’ebirala.
Agamba…
Omubaka wa Budaadiri mu bugwanjuba Nathan Nandala Mafabi kati ye Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC omuggya.
Mafaabi yalondeddwa mu kiro ekikeezesa olunaku lwalero era ng'afunye obululu 809 ate Kasiano Wandri n'afuna obululu 161 olwo Nabilah Nagayi Ssempala eyawanduse mu lwokaano n'afunye obululu 9.
Wasswa Biriggwa kati ye Ssentebe w’ekibiina kya FDC oluvanyuma lw’okufuna obululu 434 ate ye Bwanika Bbaale…
Ekelezia Katolika mu ggwanga egambye nti tenafuna kiwandiiko kitongole okuva e Vatican newankubadde ng’emukutu gy’amawulire egyenjawulo gikakasiza okukyala kwa Paapa mu Uganda ne Central African Republic.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga agambye nti newankubadde amawulire ga ssanyu naye ekelezia teyinza kumala gagafulumya nga tenafuna lukusa okuva e Vatican.
Lwanga agambye nti bwebanafuna ekiwandiiko…