Bya Ritah Kemigisa
Obukulembeze bwabasawo abazalisa bayite ba Nurse neba Midwive bakwowodde abasawo okudda ku mirimu.
Kino kyadiridde gavumenti okweyama okubawa ensako yekyemisana, gyebabanja eyobuwumbi 45.
Pulezidenti wekibiina ekigatta abasawo bano Justus Cherop agambye nti basisinkanye, minisita ku nsonga eno nebeyama okubasasula.
Bano okuyita mu kibiina kyabwe Uganda Nurses and Midwives Union wiiki ewedde bateeka wansi ebikol, nga babanja…
Bya Benjamin Jumbe,
Ebyokwerinda binywezedwa mu bitundu bya Kampala ne miriraano mu kwetegekera okulayira kwomukulembeze weggwanga olunaku olwokusatu.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kisaawe e Kololo awagenda okuba emikolo egyokulayira, omwogezi w’amaggye Brig Gen Flavia Byekwaso, agambye nti ebyokwerinda okunywezebwa kigenderedwamu okuwa obukuumi abakulembeze ba mawanga nabebitiibwa abalala abagenda okwetaba ku mikolo.
Ono mungeri yemu azzeemu okukiggumiza nti…
Bya Juliet Nalwooga,
Eggye lye ggwanga erya UPDF litangaziza ku bakuuma ddembe abayiriddwa mu maka geyavuganya ku bwa pulezidenti mu kulonda okuwedde Robert Kyagulanyi.
Bano bagamba bakikola kulwabulungi bwe.
Ngesigadde olunaku lumu lwokka okutuuka ku kulayira kwa pulezidenti Museveni wabadewo okwebuuza lwaki obukuumi buyiriddwa e Magere Bobiwine gyasula.
Okusinzira kwa myuka omwogezi weggye lye ggwanga erya UPDF, Col. Deo…
Bya Ruth Anderah
Abawagizi bekibiina kya NUP, abavunanibwa okubeera nebyokulwanyisa olwaleero tebalabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti yamagye e Makindye.
Bano okuili Ali Bukeni amanyiddwa nga Nubian Li ne Eddy Sebuufu amanyiddwa nga Eddi Mutwe nabalala babadde batekeddwa okulabikako mu kooti okufuna ennamula yaabwe, ku musango mwebasabira okweyimirirwa.
Wabula tewabadde kunyonyola lwaki tebazze, atenga omusango teguwereddwa lunaku lulala.
Oluda…
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi we’daala erisooka mu kooti ya Buganda Road Asuman Muhumuza ataddewo olunnaku olwanga 10 June 2021 okutandika okuwuliriza omusango oguvunanibwa ba kazanyirizi aba-Bizonto.
Bizonto bavunanibwa okutumbula nokuseera mu busosoze mu mawanga.
Abavunanwa kuliko Julius Serwanja owemyaka, Mbabali Maliseeri wa 35, Gold Ki-Matono wamyaka 45 ne Peter Ssabakaki owemyaka 35
Oludda oluwaabi lugamba nti bano omusango baaguzza…
Bya Juliet Nalwooga
Ekitongole kya poliisi kiyisizza ennambika yentambula yebidduka, egenda okugobererwa ku lunnaku lwokulayira kwomukulembeze we’gwanga.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru omuddumizi wa poliisi yebidduka mu Kampala nemirirwano Norman Musinga, agambye nti enguudo ezisinga ezolekera ku kisaawe kyemikolo e Kololo zakugalwa okujjako eri abao bokka abayitiddwa era abalina stika.
Ekitundu ku Acacia…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamazzi mu gwanga, National Water and Sewerage Corporation balangirirdde nti essundiro lyamazzi erya Mukono-Katosi lijiddwako engalo.
Mu kiwandiiko ekivudde mu kitongole, bagambye nti batandise omulimu gwokugezesa ogugenda okukulungula ennaku 15 nga batunuliira entambula yamaziz.
Omudumu bwaguuga ogugenda okutambuzza amazzi gyliko obuwanvu bwa KM 51 nga guysibuka katosi ku mwalow gwe Ssumbwe, okudda ku lusosozi…
Bya Ivan Ssenabulya
Banakyewa abatakabanira eddembe lyabakyala, Akina Mama wa Afrika bawakanyizza ebbago erya Sexual Offences Bill 2019, era bagala lizibweyo mu palamenti.
Bano bagasse ku banakyewa abalala abalwanirirra eddembe lyobuntu okulga okwemulugunya kwabwe.
Mu kiwandiiko aba Akina Mama wa Africa kyebafulumizza bagambye nti newankubadde mulimu obuwayiro bwebawagira okugeza ku kusobya ku bakazi, okwegadanga okwekinyumu, okukusa…
Bya Ivan Ssenabulya
Abasawo abakyayiga, wansi wekibiina ekibagatta Federation for Uganda Medical Interns balangirirdde akediimo kaabwe nga bagenda kuteeka wansi ebikola okutandika ne nnaku z’omwezi, 17 May 2021, nga babanja gavumenti okubongeza omusaala.
Bano ekybabagudde kwekuba nti gavumenti enyongeza yaabwe teyajitadde mu mabalirrra eyomwaka gwebyensimbi ogujja 2021/22.
Pulezidenti wekibiina kino Dr Nabushawo Faith ajjukizza gavumenti ku kwemulugunya kwebatwala…
Bya Ivan Ssenabulya
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga agenda kwogerako eri Obuganda, ngasubirwa okulaga obwakabaka w’eyimiridde mu mirimu egyenjawulo na biki ebiri mu ntekateeka mu biseera ebijja.
Kino kigenda kuberawo ng’ebula olunaku lumu okutuuka ku lunnaku lwanga 12 May, okuva Empologoma lweyasiima mu mwaka gwa 2013, namulonda nga Katikkiro wa Buganda okudda mu bigere byowekitiibwa Eng…