Bya Ivan Ssenabulya ne Prossy Kisakye,
Ssabasajja empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11, asiimiddwa olwemirimu emirungi gyakoze bukya atuula ku nnamulondo
Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokukuza amazaalibwa ga ssabasajja agomulundi 66, mu lubiri e Mengo, Kattikiro Charles Peter Mayiga agambye nti omutanda yakomyawo essuubi mu bantube.
Anyonyodde nti ku mulembe omutebi abaddu na bazaana ba ssabasajja bakola…
Bya Lukeman Mutesasira
Kapiteeni wa tiimu y'egwanga the Uganda Cranes Denis Onyango anyuse omupiira ku tiimu y'egwanga.
Onyango yawandikidde ekibiina ekitwala omuzanyo gw'okupiira mu gwanga ekya FUFA ngabategeeza ku kusalwo kwe.
Kino wekijidde nga waliwo okusika omuguwa wakati wa pulezidenti wa FUFA Moses Magogo n'abasambi oluvanyuma lwa Magogo okutegeeza ngabasambi ba Uganda abazanya mu mpaka za Chan bwebasamba…
Bya Ritah Kemigisa
Abayisiraamu olwaleero batandise omwezi omutukuvu ogwa Ramadan nekisiibo.
Akolanga akulira ebya Sharia eranga ye mumyuka wa Mufti wa Uganda, ku kitebbe kyobusiraamu ku kasozi Kampala mukadde Sheikh Muhammed Ali Waiswa agambye nti olwamateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe, tewaganda kuberawo ssalwa za Taraweeh okujjako ssinga, pulezidenti Museveni anavaayo nabaako enkyukakyuka zakola mu biragiro…
Bya Ivan Ssenabulya
Obwakabaka bwa Buganda ne Uganda awamu, olwaleero bagasse okukuza a,mazalibwa gempologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II.
Gano gemazalibwa ge agemyaka 66 egyobuto, wabula emikolo gigenda kukwatibwa mungeri yanajwulo, ngabantu batono abayitiddwa okugyetabako mu lubiri e Mengo, okusinziira ku Kattikiro Charles Peter Mayiga.
Emikolo gino nate gitambulidde wansi womulwamwa gwokulwanyisa…
Bya Prossy Kisakye,
Abasuubuzi bómu katale ka St Balikuddembe baweereddwa amagezi okusigala nga bakakamu ku kyokutekesa ekiragiro kya pulezidenti ekyokulonda obukulembeze obugya.
Omwaka oguwedde omuk weggwanga Museveni yalagira minisita wa Kampala Betty Amongi, okusatulula obukulembeze bwóbutale ne Lufula obukadde obupya bulondebwe
Ekiragiro kya Musevenkyadirira abasuubuzi okumulajanira nti basolozebwamu ensimbi mpitirivu ekibavirako okufiirizibwa
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire omubaka wa…
Bya Damali Mukhaye,
Akakiiko akalondoola ebyenjigiriza mu ggwanga aka Education Service Commission kakudamu okwetegereza olukalala okusasulibwa abasomesa ba gavt okugyako bonna abémpewo
kino kidiridde ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ake byenjigiriza okutegeeza nga gavt bwefiirizibwa obuwumbi bwensimbi 7 buli mwaka okuyita mu kusasula abasomesa abempewo
sentebe wa kakiiko aka Education Service Commission, prof Luboga Abimerech, agambye nti…
Bya Benjamin Jumbe,
Eggwanga lya Uganda ne Kenya bayingidde enteseganya ezekuuza ku byobusuubuzi
Enteseganye ziri wali ku kitebe kya minisitule evunanyizibwa kunsonga za mawanga amalala era nga zisuubirwa okumalawo obunkenke mu byensubuligana wakati wa mawanga gombi
Bwabadde ayogerera mu kugulawo enteseganya zino ssabawandiisi wa minisitule eyebyobusuubuzi Grace Adong alina esuubi nti obutakanya obubaddewo eri amawanga gombi bwakumulungulwa mu…
Bya Benjamin Jumbe,
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje dekabusa akagudewo ku luguudo lwa Arua.
Okusinzira kwakulira redcross mu bitundu bya lira Alice Akello ekimotoka ki lukululana kiremeredde omugoba wakyo ne kiyingirira endala ebadde eva e lira ebaddeko ababadde bava ku mukolo gwokwanjula.
Agamba abana bafiiriddewo ate abalala 17 ne basimatuka ne bisago.
Abalumizidwa baddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Bya Prossy Kisakye,
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde bannauganda okwewala engambo ezitalina mitwe na magulu ku ddagala lya AstraZeneca eligema ekirwadde ekya covid19.
Okwogera bino abadde Bulange Mengo mu kugemebwa ekirwadde kya covid-19 nagamba nti abantu bangi balina endowooza nti eddagala lino lyakolebwa kutta bafirica ekitali kituufu kuba nábazungu abalikola balyekuba
Akowodde obuganda okwetanira entekateeka…
Bya Ruth Anderah,
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Philip Odoki agaanye okusaba kwa Fred Nyanzi Ssentamu mwayagalira okuwa okwemulugunyakwe mu musango gwe byokulonda, omubaka wa Kampala central omulonde Muhammad Nsereko okuyita mu mpapula za mawulire.
Nyanzi agamba nti yalemererwa okuzuula Nsereko waali okusobola okumuwa kopi ku mpabaye nga kati ayagala kugiyisa mu mpapula za mawulire
Wabula omulamuzi…