Bya Musasai waffe
Omukulembeze we’gwanga, nga ye seentebbe wekibiina kya NRM, Yoweri K. Museveni olwaleero asubirwa okuggulawo olusirika lwababaka bekibiina, olutudde ku bbanguliro lyebyobufuzi mu disitulikiti ye Kyankwanzi.
Okusinziira ku akulira ebyamwulire ku gwandisizo lyekibiina, Emmanuel Dombo ababaaka ng’okusinga bebappya abakalondebwa bagenda nabo ketaba mu lukiiko lwa CEC, olwa Central Executive Committee.
Abalala abegnda okulwetabamu bebakiise mu palamenti…
Bya Benjamin Jumbe,
Ababaka ba palamenti basiimye emirimu gyomugenzi abadde ssabasumba wessaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga.
Ekiteeso ekisiima emirimu gye kileetedwa ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda ne kiwagirwa akulira oludda oluvuganya mu palamenti
Betty Aol Ocan ne minisita Florence Nakiwala Kiyingi ayogedde ku mugenzi ngeyakolera obukatoliki awatali kwe balirira nabeera eddoboozi eryabo abanyigirizibwa.
Dr Lwanga yasangibwa afiiridde…
Bya Ruth Anderah
Abantu 2 abavunanibwa okutta empologoma 6 mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park befukuludde nebegaana emisango, ate gyebaali bakirizza mu kusooka.
Bano balabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Miriam Okello Ayo awozesa emisango gyebyempulizganya nobutonde bwomu ttale.
Abavunaanwa babadde bazze mu koooti olwaleero okubawa ekibonerezo, oluanyuma lwokukiriza emisango gyebuvuddeko.
Zaali ennaku zomwezi…
Bya Ruth Anderah
Abalamuzi nabakozi be’ssiga eddamuzi bonna bawereddwa, yunifoomu okuli amannya gaagwe, nga kino abakulu bagamba nti kigendereddwamu okulwanyisa ebikolwa byenguzi.
Ku mukolo ogwokutongoza ekyambalo kyabalamzi nabakozi, omuwandiisi owenkalakkalira owe’siga eddamuzi Pius Bigirimana, agambye nti babadde bafunye okwemulugunya okuwerako, ku bakozi abajja ssente ku bantu.
Kati Bigirimana asabye abantu babulijjo okuloopa abakozi bonna ababasaba ssente, nokweyingira mu…
Bya Sadat Mbogo
Akabenje kagudde mu disitulikiti ye Mpigi, nekatga omuntu omu nga nabalala babuuse nebisago ebyamaanyi.
Akabenje kano kagudde mu Kabuga ke Wamatovu-Nakirebe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Katonga, Lydia Tumushabe agambye nti akabenje kano kabaddemu emmotoka ya buyonjo corolla namba UAJ 347/J ngomugoba waayo ayingirirdde ekimotoka kyomusenyu bwabadde…
Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti etadde ku bbali obuwumbi 50 mu mbalairirra yomwaka gwebyensimbi 2021/22 okuliyrirra abantu abafiirwa ente zaabwe, mu bitundu bye lango, Acholi ne Teso.
Bweyali anoonya akalulu mu bitundu bino, Museveni yasubiza okuliwa eri abantu bano obuwumbi 150 olwente zaabwe ezabbibwa abayekera.
Wabula minisitule yebyensimbi yategezezza nga bwebetaaga obvuwumbi 200, okuosbola okuliyirira abalunzi abakosebwa.
Bweyabadde alabiseeko eri…
Bya Prosy Kisakye
Ekitongole ekitwala ekibuga ekikulu, ekya Kampala Capital City Authority bawakanyizza ebigambibwa nti balina entekateeka okutunda essomero lya Nakivubo Blue ne Nakivubo Settlement Primary School.
Okwemulugunya kuno kwaleteddwa, omubaka wa Kalungu West Joseph Sewungu abakungu okuva mu KCCA bebabadde beyanjudde eri akakiiko ka palamenti ek’ebyenjigiriza, akakubirizibwa omubaka we Pallisa Jacob Opolot.
Wabula Juliet Namuddu, akulira…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni ategezezza nga Uganda ne balirwana aba Kenya, bwekanayizza okulongoosa enkolgana mu byobusubuzi.
Kino kyadiridde ekibinja kyabakungu okuva mu Kenya ababadde bakulembeddwamu minisita waabwe owebyobusubuzi namakomero okugeyiwalako kuno.
Kati Museveni agambye nti ku bugenyi buno baliko bingi byebakanyizaako, naddala mu byendsubulagana.
Agambye nti ekignederewa ekisooka ekyobwegassi nomukago gwa East African Community kwekutunda…
Bya Prossy Kisakye
Ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda ayagaanye okusaba kwa bannauganda okwongerayo ebiseera bya kafyu okuva ku ssaawa 3-4.
Abayisiramu babadde basabye gavt okwongerayo obudde buno kibasobozese okutambula nga tebapapirira mu kuva okusaala mu budde buno obwekisiibo.
Omubaka wa kawempe north Latiff Ssebaggala ategezeza palamenti nti eswala eza Taraweeh ezisaalibwa oluvanyuma lwokusibulukuka ziba za kiro.
Wabula ssabaminisita agambye nti…
Bya Benjamin Jumbe,
Minisita avunanyizibwa ku byobugagga ebyómutaka, Dr. Mary Goretti Kitutu asomozeza bannauganda okweyambisa emikisa egiri mu kyobugagga ekya mafuta.
Kino kigidde mu kaseera nga gavt yakateeka omukono ku ndagano ezenjawulo wakati wa Uganda ne Tanzania ne kampuni za mafuta.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, Kitutu agambye nti emirimu egiwera ebitundu 57% mu bya mafuta gyakuweebwa…