Bya RiTah Kemigisa
Ab-Batwa, abawangaliira mu disitulikiti ye Kisoro basbye gavumenti okubasengula babazeeyo mu bibira.
Bano bemulugunya eri gavumenti nti yabalagajjalira, songa bebasengula okubajja gyebaali ku ttak lyaba jjajja baabwe nga babsubiza obulamu obugya.
Abalwanirizi be’ddembe lyobuntu mu kitundu kino bagamba, nti aba-Batwa baigala nga bamulekwa ne ttaka tebalina.
Akulira ekitongole kya Kisoro Lay Adventist Development Association, David Bakunzi…
Bya Benjamin Jumbe
Uganda eyanukudde gavumenti ya America, abayogedde ku kulonda kwa bonna okuwedde, nti tekwali kwamazima na bwenkanya.
America era eriko ekkoligo lya Visa lyeyatadde ku bakungu mu gavumenti bebalumiriza nti bebali emabega wemivuyo egyetobeka mu kulonda.
Sabawandiisi wa America, ku nkolagana namawanga amaala, Antony Blinken agambye nti abalondoozi bebyokulonda bangi babalemesebwa okulondoola okulonda kuno, era nebasaba…
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga asomozeza abayisiramu mu ggwanga obuteyambisa mwezi omutukuvu ogwa Ramathan okuteeka mu bulabe abagoberezi babwe mu kufuna ekirwadde kya covid 19.
Abasiraamu baali basaba gavt okwongezaayo kafyu kibasobozese oobutamenya kitagiro kya kafyu nga bava okusaala taraweah mu mwezi guno ogwokusiiba.
Wabula mu kwogerako eri eggwanga akawungeezi akayise Museveni yategeeza nti tasobola kukyusa budde bwa…
Bya Prossy Kisakye,
Amyuka sentebe wa kakiiko ka palamenti akalondoola esasanya ye nsimbi zomuwi womusolo, Okin Ojara ayagala palamenti etandike okunonyereza ku bakungu banka abagambibwa okwekobaana na bayaaye ne bagya ensimbi ku akawunti za bakasitoma nga tebategezebwako
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku palamenti, Okin agambye nti akakiiko ke kafunye okwemulugunya okuva eri Kenneth Oyik ne generali okuva…
Bya Prossy Kisakye,
Ssaabajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Il ne Nnabagereka Sylvia Nagginda bagasse ku bakulembeze abalala ne bagemwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Kabaka agemeddwa mu lubiri lwe e Banda, abasawo bakulembedwamu Dr Simon Luzige okuva ku ddwaliro e Nakasero.
Mu bubakabwe obumusomeddwa maama Nnabagereka, Kabaka akubiriza obuganda okwetanira entekateeka eno bagende bagemwe basobole okubeera abalamu okuva eri…
Bya Rita Kemigisa,
Omukama wé Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru asazizaamu ebikujjuko eby’okujaguza amazaalibwa g’e emyaka 29
Okusinzira ku minisita wobwakabaka avunanyizibwa ku bya mawulire Charles Mwanguhya, kino bakikoze okugondera ebiragiro mu kulwanyisa ekirwadde kya covid19
Atuusiza nobubaka bwomukama nagamba nti awadde amagezi bannauganda okwerinda ekirwadde kya ssenyiga omukambwe nga bagoberera ebiragiro ebyatekebwawo
Mungeri yemu omukama ajjukiza abantube okwekuuma…
Bya Ivan Ssenabulya
Obwakabaka bwa Buganda busambaze engambo ezibadde ziyitingana ku mikutu egyómutimbagano nti ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 yaweebwa obutwa bwe bumutawanya.
Embeera Kabaka gyali yamenya emitima gya baddu na bazaanabe bweyalabikako ku mazaalibwage nga munafu nyo
Mu kwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awakanyiza engambo ezogerwa ku mutanda
Mayiga…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamazzi ne kazambi, okulwawo okutongoza polojekiti yamazzi eya Mukono-Katosi bakitadde, ku migozobano gyebasanze mu kugula bikozesebwa.
Okutongoza polojekiti eno, baaali basubizza nti kwakuberawo mu February womwaka guno, wbaula bazze bayongezaayo.
Mukono-Katosi yakusunsula n’okusunda amazzi, obukadde liita 24 buli lunnaku, okugabunyisa mu disitulikiti za Kampala nemirirwano.
Ssenkulu wekitongole kyamazzi Eng Dr. Silver Mugisha agambye nti babadde…
Bya Juliet Nalwoga
Poliisi ye Nagalama mu disitulikiti ye Mukono, etandise okunonyereza ku bubbi obwakoleddwa mu maka geyali, Ssabasumba we’ssaza ekkulu erye Kampala Omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga mu kiro ekyekesezza olwaleero.
Obubbi buno bwabadde ku kyalo Kyabakadde mu gombolola ye Kyampisi mu disitulikiti ye Mukono, obutaka bwa Ssabasumba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni alonze obukulembeze obugya, obwkakaiiko akakola ku bwenkanya mu gwanga aka Equal Opportunities Commission.
Mu bbaluwa gyeyawandiika eri omukubiriza wa palamenti, nga 23 March 2021, pulezidenti Museveni yalonze omubaka Safia Nalule Juuko nga ssentebbe wakakiiko ngagenda kumyukibwa Joel Ojok.
Abalala abalondeddwa, abagenda okutuula ku kakiiko kano kuliko, Denise Tumusiime, Zaidi Ibrahim…