Bya Ritah Kemigisa
Omukama wa Tooro, Oyo Nyimba Kabamba Iguru olwaleero ajaguza amazalibwa ge, ag’emyaka 29.
Omukama Oyo, yatuzibwa ku namulondo mu mwaka gwa 1995.
Olwamateeka agalangirirwa gavumenti nebiragiro, okutagira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, emikolo gigenda kukwatibwa mungeri yanjawulo ya sayantifiki.
Ezimu ku ntekateeka ezakulembeddemu, basimbye emiti obukadde 10 mu kawefube wokutaasa obutone bwensi mu kitundu kya Rwenzori.
Bya Prosy Kisakye
Minisita webyemizannyo, Denis Obua ategezezza nti abazannyi ba Uganda Hippos eyabali wansi wemyaka U20, abasubwa ebigezo bya S4 bwebaali bakiridde egwanga mu mpaka za AFCON mu gwanga lya Mauritania ne banaabwe mu tiimu yabalai wansi wemyaka 17 abakiika e Morocco, bakuddamu omwaka mulamba.
Abazadde nabayizi babadde basaba nti gavumenti bano ebawe ebigezoe byenjawulo.
Wabula minisita…
Bya Rita Kemigisa,
Omukulembeze weggwanga YK Museveni awadde ababaka ba NRM abapya obukodyo kungeri gye bayinza okubaamu abakulembeze abalungi abali somwako ne mu byafaayo.
Bino abyogedde aggulawo olusirika lwabwe e Kyankwanzi, Museveni agambye nti omukulembeze omulungi yooyo anogera eddaga ebizibu bya bantu mu kifo kyokulabikako ku mikolo ngokuziika ne mu makanisa.
Okusinzira ku Museveni, ebyobufuzi ebyokwekuutira akadingidi tebigyakola.
Era…
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole ekitereka ensimbi za bakozi ekya National Social Security Fund kyakuteeka obukadde bwa doola 10 mu bizinensi ezitandika
Bino byogedwa amyuka akulira ekitongole kino Patrick Ayota, nágamba nti bannauganda basanye okwegata ku kitongole kino baganyulwe
Ayota agambye nti bagala webanatukira mu mwaka 2025 nga abatereka ne kitongole batuuse ku bitundu 95%.
Bino abyogeredde mu lukungana olwomulundi…
Bya Ndaye Moses,
Gavumenti enyonyodde lwaki yagezaako okugyayo ebbago lye tteeka erikwata ku byóbulamu erya National health Insurance scheme bill mu lukiiko lwe ggwanga olukulu nga terinayisibwa.
Bino byogedwa minisita we byobulamu Dr. Jane Aceng nágamba nti bayagala ebbago obutayita nga bweryali kuba lyali lya kutiisa bamusiga nsimbi, n’abakozi
Gye buvudeko palamenti yayisa ebbago lye tteeka erya National…
Bya Abubaker Kirunda
Ab’obuyinza mu gombolola ye Bulongo, mu disitulikiti ye Luuka, baliko omusajja owemyaka 21 gwebakutte nga kigambibwa nti yabadde nomukono mu kufa kwa taata we.
Omukwate mutuuze ku kyalo Kamwirungu mu gombolola eno, nga kigambibw anti yasse oluvanyuma omulambo nagusuula mu ssamba lyebikajjo.
Ssentebbe we’kyalo Jafari Buyinza agambye nti mutuuze munaabwe yasoose kubula okuva wiiki ewedde, naye…
Bya Abubaker Kirunda
Omukazi nakampaate, akakanye ku baawe namutemako omutwe naleka abatuuze mu ntiisa.
Bino bibadde ku kyalo Bulangira mu disitulikiti ye Kamuli, southern Division eya munisipaali eno.
Ssentebbe we kyalo Ali Mitango, agambye nti omutwe gwomugenzi gusangiddwa ku mabbali gomulambo gwe, mu diiro munda mu nnymba.
Omugenzi ategeregese nga ye Binoga ngabadde musomesa mu kitundu
Abafumbo bano kitegezeddwa nti…
Bya Damalie Mukhaye
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde poliisi okunoonya bazuule musirikale ki eyakuba omwana owa S 2 amasasai namutta, mu bwegugungo obwabuna egwanga mu Novemba womwaka oguwedde nga buwakanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulnyi, mu biseera bya kampeyini.
Kadaga okuyisa ekiragiro kino abadde asisinkanye Hajara Nakitto, maama wa Amos Ssegawa omulenzi owemyaka 15, -efaiira mu bwegugungo…
Bya Lukeman Mutesasira
Omuwuwutanyi wa Cranes Mike Azira naye anyuse omupiira ku tiimu y'egwanga.
Azira awandikidde pulezidenti wa FUFA, Eng Moses Magogo ngamutegeeza ku kusalowo kwe.
Asiimye aba FUFA, ekibiina eiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga olwomukisa nobuwagizi bwebazze bamuwa.
Ono Kati afuuse omusambi owokusatu, mu bbanga lya sabiiti emu okunyuka omupiira gwa Cranes, abalala kuliko Hassan Wasswa ne kapiteeni…
Bya Damalie Mukhaye
Minisita webyensimbi Matia Kasaija asabye ababaka ba palamenti, okuwagira era bayise omusolo omuppya gavumenti gweyaleese.
Agambye nti omusolo guno gwagenderedde, okwongera ku ssente ezinavujirirra embalirira yomwaka gwebyensimbi ogujja 2021/22.
Bwabadde ayogerako naffe, awo ku palamenti Kasaija agembye nti era bagala kukendeeza ku kwewola, wbaula bongere ku makubo gensimbi okuva mu musolo.
Kasaija agambye nti ssinga omusolo…