Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Ba kansala baddukidde wa Kadaga ku bulamu bw’omutanda

Bya Prosy Kisakye Palamenti egenda kukwatagana nobwakabaka bwa Buganda ku nsonga zobulamu bwomutanda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebe II. Kino kyadiridde ba kansala abakalondebwa abekibiina kya NUP, okwekubira enduulu ewa sipiika Rebecca Kadaga nga bemulugunya ku mbeera embi, Ssabasajja gyealabikiramu bweyali ku mazalibwa ge, agemyaka 66 wiiki ewedde. Oluvanyuma Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yavuddeyo nategeeza nti…

Read More

Bannakyewa basanyukidde abakozi békitongole ekiramuzi okufuna Yunifoomu

Bya Benjamin Jumbe, Bannakyewa abalwanyisa obulyake mu ggwanga basanyikidde ekyekitongole ekiramuzi okuwa ekyambalo ekyenjawulo abakozi bakyo ngomu mu kawefube owokulwanyisa obuli bwenguzi mu kitongole kino. Kino kidiridde ekitongole ekiramuzi okuvayo ne kyambalo eri abakozi bakyo nga kigamba nti kyakubayamba mu kutangira obuli bwenguzi obubadde bufumbekedde mu bakungu bakyo. Omuwandiisi owenkalakalira owekitongole ekiramuzi Pius Birigimana,naye yavaayo nakakasa nga bwalina…

Read More

Gavt esabiddwa okwongera okusomesa abantu ku by’okubagema Covid

Bya Ndaye Moses, Ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga ki Uganda Medical Association kisabye gavt okuteeka essira ku kyokubunytisa amawulire agakwata kukugema ekirwadde kya covid-19 abantu basobole okugemwa awatali kwesika. Okusinzira ku pulezidenti we kibiina kino Dr.Richard Idro, singa abantu bagemwa kyakwanguyira gavt okutuuka kukigendererwa. Abasawo okuvaayo bwebati nga waliwo abakulembeze abatandise okutiisa abasawo mu bitundu ebyewala nti singa…

Read More

Eyafiirwa Omwana ayagala kuliyirirwa

Bya Ruth Anderah, Maama eyafiirwa omwana owemyaka 15 mu kwekalakaasa okwaliwo mu mwezi ogwa 11 omwaka oguwedde, abawagizi ba Senkagale wekibiina kya NUP bwebeyiwa kunguudo nga bawakanya okukwatibwa kwomuntu wabwe mu disitulikiti eye luuka gye yali agenze okunonya akalulu, adukidde mu kkooti nga ayagala kuliyirirwa. Hajara Nakitto agamba nti yafiirwa omwana Amos Ssegawa gweyali asuubira ebingi kuba…

Read More

Obumenyi bwamateeka bwakendedde mu 2020

Bya Juliet Nalwoga Alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwmateeka eya 2020 eraze nti, obumenyi bwamateeka bukenededde nebintu 8.9% bwogerageranya nobumenyi bwamateeka bwebafuna mu mwaka guli ogwayita 2019. Bwebabadde batongoza alipoota no ku kitebbe kya poliisi e Naguru, Ssabapoliisi we’gwanga Martins Okoth Ochola gambye nti obumenyi bwamateeka bwakendeera okuva ku misango emitwalo 21 mu 5,224 mu 2019…

Read More

Okukola oluguudo lwa Mityana-Mubende kugenda kutandika

Bya Barbra Nalweyiso Okukola oluguudo oluva e Mityana okudda e Mubende, okubadde kulindiriddwa okumala ebbanga, kugenda kutandika ngomwezi guno tegunagwako. Kino kikakasiddwa akolanga omwogezi wekitongole kyenguudo, ekya Uganda National Roads Authority Allan Sempebwa, ngagambye nti contract yawereddwa kmpuni ya Energoprojekt ng’omulimu gugenda kuwemmenta obuwumbi 395 n’obukadde 200. Oluguudo luno lwa KM 86 nga lugenda kulongosebwa, okulussa ku mutindo. Luno lwerugatta…

Read More

Abasawo b’ebisolo bagala minisitule bagyawule

Bya Ndaye Moses Abasawo b’ebisolo basabye gavumenti eddemu, okutereeza minisitule yebyobulimi okuzawula, zisobole okwetngererea nokukola obulungi emirimu. Mu mwaka gwa 1993 olukiiko lwaba minisita lwayisa ekiteeso okugatta minisitule yebyobulimi, ku yobulunzi nobuvubi, awamu. Wabula abadde pulezidenti wa Uganda Veterinary association Dr. Sylvia Baluka agambye nti basanze okusomozebwa kwamaanyi, olwa minisitule zino okubeera wamu. Asabye gavumenti kino eddemu okukyetegereza.

Read More

Abakulembeze babavubuka mu Buganda begaanye eby’okwekalakaasa

Bya Ivan Ssenabulya Olukiiko lwabavubuka mu Buganda, olwa Buganda Youth Council besamudde amaulire agegenze gasasana ku mitimbagano, nga bakunga abavunbuka okwekalakaasa. Okuyita ku mitimbagano, babade bakunga abavubuka okugumba ku kitebbe kyobwakabaka e Bulange Mmengo okuwakanya embeera yobulamu bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, embi. Mu kiwandiiko ssenebbe olukiiko lwabavubuka, Baker Ssejengo kyafulumizza agambye nti tebalina ntekateeka yonna eyokwekalakaasa. Agambye…

Read More

Omuzzukulu asse jajja we lwa ssente

Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Rukungiri ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 30, agambibwa okutta jajja we abadde atemera mu myaka 74. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi, Elly Maate agambye nti ono ye Jackson Kamwesigye nga mutuuze ku kyalo Kanyankyende mu gombolola ye Bugangari atenga omugenzi ye Bernard Barugaha nga naye abadde mutuuze ku…

Read More

Gavumenti eyimirizza UMEME ku byokusalako yaka

Bya Ritah Kemigisa Ekitongole ekibunyisa amasanyalaze mu gwanga, ekya UMEME kitegezezza nga bwebayimiriza okusala Yaka kuba kasitoma, nga bwebalagiddwa gavumenti. Ekitongole ekibatwala, Electricity Regulatory Authority (ERA) babalagidde kino basooke bakiyimirize nga batandise nokunonyereza. Bangi kuba kasitoma babadde bemulugunya ku uniti ezitawera ezibaweebwa, ng kino kibaddewo wakati womwezi gwokusatu nomwezi gwokuna. Kati omogezi wa UMEME, Peter Kauju agambye nti kino…

Read More