Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda bufulumiza enteekateeka entongole egenda okugobererwa olunaku olw’enkya mu kukuza amazalibwa g’omutanda mu Lubiri e Mengo ag’emyaka 66.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emikolo gya mazalibwa gano era nga ye minister w’ebyobulamu, ebyenjigiriza, office ya maama Nabagereka n’ekikula kya bantu, Owek Prosperous Nankindu Kavuma, agambye nti emikolo gya kutandika kusaawa 4 ez’okumakya era gyakubaako…
Bya Lukeman Mutesasira
Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana yegasse mu lwokaano, ku kifo kya Pulezidenti wa FUFA, ekibiina ekiddukany omuzannyo gwomupiira mu gwanga.
Ssewanyana akoze okulangirira kuno mu lukungana lwa banamawulire, lwatuzizza ku wofiisi ye e Makindye.
Bino webijidde nga nabadde mu kifo kino, Eng Moses Magogo yakajja alangirire, ngavuganya ku kisanja kyakusatu.
Ssewanyana mu mwaka gwa 2013,…
Bya Ivan Ssenabulya
Ab'ekitongole kya A-Z Professional Counselling and Support Center bakwataganye nebitongole ebiraala okuli, BRAC Uganda ne MasterCard Foundation okusomesa, ebyobwongo mu baana abaali mu nkambi zabanoonyi bobubudamu, oba Psychosocial Care.
Omusomo guno gutandise olwaleero nga nga gwakubumbujja, okutukira ddala nga 23 April 2021 ku ttendekero lya BBIRA vocational training institute.
Gugenda kwetabwamu abayizi okuva mu nkambi okuli…
Bya Damalie Mukhaye
Wabaddewo akajagalalo mu palamenti, omukazi Hajala Nakitto, bwazze okubanja obwenkanya olwa mutabani owe, owemyaka 15 Amos Ssegawa, eyakubwa maasasi mu Novemba wa 2020.
Kati ono alayidde, nti agenda kugumba ku palamenti okutuusa nga bafunye obwenkanya.
Ssegawa yafiira mu bwegugungo, obwali buwakanya okukwatibwa kwa Bobi Wine mu biseera bya kampeyini.
Kati omukyala ono agamba nti ayagala kulaba…
Bya Ritah Kemigisa
Akolanga akulira ebya Sharia ku kitebbe ky’obusiraamu, ku kasozi Kampala Mukadde, Sheikh Ramathan Ali Waiswa akawungeezi akayise akaksizza nti omwezi omutukuvu ogwa Ramathan N’okusiiba bitandika lunnaku lwankya.
Okusinziira ku Sheikh Waiswa, omwezi tegwalabise nga bwekyabadde kisubirwa.
Kati akubirizza abasiraamu okusiiba obulungi mu nnaku 30, atenga bagoberera amateeka nebiragiro ebyatekebwaow ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Kati agambye…
Bya Gertrude Mutyaba
Abaana 4 okuva mu nnyumba emu, bafudde oluvanyuma lwokunywa eddagala lyoku ttale eryabawereddwa jajja waabwe.
Abaana bano babadde babeera ne jajja, ku kyalo Kirangira mu gombolola ye Kasankala mu disitulikiti ye Rakai.
Abagenzi kuliko Jovan Kivumbi owemyaka 4, Shivan Mirembe owemyaka 3, Elijah Lubyayi wamyaka 3 ne Sarah Nabukenya owemyaka 2.
Omwana yekka eyasimattuse ye Alfa…
Bya Ritah Kemigisa
Lord Meeya wa Kampala Erias Lukwago wetwogerera ngawereda ekitwanda mu ddwaliro lya Nairobi hospital.
Kino kikaksiddwa, omumyuka we Doreen Nyanjura, ngayise ku tweeter.
Eno gyebamututte okufuna obujanjbai, oluvanyuma lwekimbe okumuddamu.
Okusinziira ku Nyanjura, Lukwago alumizibwa wansi mu lubuto nemiu kifuba.
Olumbe ono lwamuddamu, ku Easter Monday bwebaali mu kusabira omwoyo gwomugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga, abadde Ssabasumba…
Bya Magembe Sabiiti
Libadde ssanyu ng’ebenzikiriza ey’obumu oba Unity of Faith eyatandikibwawo Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka balangirira, omukulembeze waabwe omugya.
Akulira enzikiriza eno omuggya kati ye Omukwenda Akugizibwe Bisaka, ngomukolo gubadde mu Bukwenda bwe Kisozi mu Kampala.
Omukwenda Akugizibwe Bisaka mutabani w’omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka, ngawereddwa n’obuvunanyizibwa okukulembera abaana b’omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka n’okukuuma eby’obugagga bya kitaawe saako…
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ne munne owa Tanzania Samia Suluhu Hassan wamu nabalala abkwtaibwako ensonga, okubadde Total E&P ne CNOOC baliko endagaano za mirundi 3 zebataddeko emikono, kulwa polojekiti yokuzimba omudumu gwamafuta, eya East African Crude Oil Project.
Omukolo guno ogwebyafaayo, guvuddeko okukaanya, ku polojekiti eno egenda okuwemmenta obuwumbi bwa $ 3 nekitundu nga…
Bya Ritah Kemigisa ne Prosy Kisakye
Abayisiraamu basabiddwa okutunula enkaliriza, okulaba omwezi okukakasa obanga omwezi omutukuvu ogwa Ramathan nokusiiba bitandise.
Okusibziira kiu amyuka Mufti wa Uganda Sheikh Abdallah Semambo, ssinga omwezi gunalabika eggulo lino, olwo okusiiba kujja kutandika olunnaku lwenkya ku Bbalaza nga 12 April.
Wabula ssinga omwezi tegulabike, agambye nti awatali kubusabuusa ekisiibo kijja kutandika ku lunnaku…