Bya Juliet Nalwoga
Poliisi Entebbe eriko omukazi gwekutte, nga ne baawe ayigibwa, ku misango gyokulagajjalira omwana omuwere, owemyezi 8 eyasangiddwa nga yafirirdde mu nnyumba.
Okusinziira ku mumyuka wmwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire bino byabadde ku Abayita Abibiri.
Omugezni ye Princess Nakiwala nga kigambibwa nti okufa bazadde be basoose kunywa mwenge nebatamiira nebamulagajjalira.
Bya Ritah Kemigisa
Bannamateeka wansi wekibiina ekibagatta, Uganda Law Society basabye nti wongera okutegekebwawo enkiiko nabeyokwerinda okukaanya, okusobola okumalawo ekikwata bananamteeka ekigenda mu maaso mu gwanga.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde ewomuwandiisi wa ULS Rita Namakika, bagenda kutuula eggulo lya leero, okuyita ku mutimbagano wakati we ssaawa 8 n’ekitundu ne 10.
Mu bimu ku biri ku mwanjo agambye nti…
Bya Prossy Kisakye,
Ssenkagale wa National Unity Platform, Robert Kyagulanyi aka Bobi wine, ategezeza nga bwagenda okudayo e Kalangala anonye akalulu
Kino kidiridde mu ssabiiti ewedde poliisi okutangira Kyagulanyi okwogerako na bawagizibe ku bizinga bye kalangala ne mutika ku nyonyi eyamuza mu makage e Magere, nábawagizi be abasoba mu 90 bagombwamu obwala
Mu kwogerako ne bannamawulire olunaku lwa…
Bya Benjamin Jumbe,
Abasumba mwe kelezia katolika balaze obwenyamivu ku bikolwa ebyobukambwe nokutiisatiisa ebyeyongera mu ggwanga
Bano okuvayo bwebati nga eggwanga ligenda mu kulonda kwa bonna mu ssabiiti ejja
Bwabadde awa obubaka bwa basumba obukwata ku kalulu akabindabinda, ssentebe wólukiiko lwa basumba Rt. Rev. Joseph Antony zziwa, era nga ye musumba we ssaza lya kiyinda-mityana, agambye nti ebigenda…
Bya Prossy Kisakye,
Abakulembeze ba bavubuka ba musaayi muto ba DP aba Uganda young Democrats 3 bagombedwamu obwala poliisi bwebabadde batwala ekiwandiiko eri sipiika wa Rebecca Kadaga, nga bemulugunya ku bukambwe obukolebwa ku besimbyewo nábawagizi baabwe wakati mu kuwenja akalulu
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala nga tebanayolekera palamenti, pulezidenti wa UYD, Ismael…
Bya Mbogo Sadat,
Abantu 19 bebakwatiddwa poliisi, mu district y'e Mpigi ku bigambibwa nti babadde bagenda bayuza ebipande bya munna-NRM Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni.
Abakwate kigambibwa nti babaddnga bayuza nebinene, oba billboard nga babikumako omuliro.
Bano bajjiddwa ku byalo Mbizzinya, Mitalamaria, Buwama, Nabusanke ne Kayabwe nga kigambibwa nti waliwo n'ebibaluwa bikiro kitwala omunaku byebazze bawandikira abawagizi ba NRM…
Bya Abubaker Kirunda,
Poliisi mu distulikiti ye Mayuge eriko omusajja gwegalidde, ku misango gyokubulankanya obukadde 9 abatuuze mu Mayuge Town council, zebabaddenga beterekera.
Omuddumizi wa poliisi e Mayuge, Bashir Siliba agambye nti ssente zino abatuuze ku kyalo Twisanakilala bebabaddenga bazitereka.
Ssente zino, ba memba ababadde batereka 23 baali basubira nti baakuzigabana ku nkomerero yomwaka oguwedde zibayambeko ku ssekukulu…
Bya Damali Mukhaye,
Akulembera ekibiina kya FDC era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Patrick Amuriat akwatiddwa poliisi, bwabadde ayolekera distulikiti ye Kasese.
Kasese yeemu ku distulikiti nebibuga, akakiiko kebyokulonda gyekayimiriza enkungaana zebyobufuzi, olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19.
Amuriat yabadde yalalise okugenda e Kasese, ngagamba balina obuwagizi bwamanyi nga FDC mu kitundu kino, songa olunnaku lwe ggulo yabadde…
Bya Benjamin Jumbe,
Ekibiina kya FDC kitadde akakiiko ke byokulonda kunninga kanyonyole byebesigamako okusazaamu kampeyini mu disitulikiti 13
Kino kidiridde akakiiko okuwera enkungana ze byobufuzi mu disitulikiti Kampala, Wakiso, Greater Mukono, Jinja City, Masaka and Kalungu nendala ku bigambibwa nti zirimu nyo ekirwadde kya ssenyiga omukambwe
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwe nsisinkano gye babaddemu nákakiiko ke byokulonda,…
Bya Magembe Ssabiiti,
Abekibiina Kya NRM mu district ye Kassanda batongozza kampeyini zokunonya akalulu akanyumba kunyumba n'okutongoza abakwatidde NRM bendera kumitendera egyenjawulo.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ye Kassanda Evarine Tinkamalirwe Amooti ng'ali wamu nakulira okunonya akalulu ka Museveni mu bitundu bino Abdul Bisaso be batongoza kampeyini zino n’omulanga eri bannakibiina okukolera awamu basobole okuwangula akalulu Kano.
Bisaso…
