Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Ebiffo 92 byebinokoddwayo okutekebwamu amagye

Bya Musasi waffe Abebitongole byokwerinda baliko ebifo 92 ebyomutawaana byeabeganda okutekamu amaanyi, omutera okubeera emivuyo nokulwagana mu kulonda. Maj. Emmy Katabazi, amyuka akulira Internal Security Organization agambye nti ebifo 92 binokoddwayo okusinziira ku mawulire amekusifu gebafunye. Maj Katabazi agambye nti okuva olwaleero, amagye gagenda kutekebwa mu bifo ebyo okutekawo obutebenkevu okwewala ebiyinza okudirirra. Kati ono era alabudde neku kusasanya…

Read More

Kampeyini zikomekerezebwa olwaleero

Bya Musasi waffe Okuwenja akalulu eri abavuganya ku bukulembeze bwe gwanga nababaka ba palamenti, kugenda kuggalwawo olwaleero, ngokulonda kwa bonna kubindabinda. Kampeyini zino zikulungudde ennaku 60 ngabesimbyewo naddala ku kifo kyomukulmbeze we gwanga batalaze ebitundu bye gwanga ebyenjawulo okumatiza amalonzi. Wabula obunkenke bubadde bwamaanyi, abebyokwerinda nga bezooba nabesimbyewo naddala aboludda oluvuganya gavumenti, ku nsonga zokutekesa mu nkola amateeka…

Read More

Abakyala babbaabwe abasibwa bekubidde enduulu

Bya Derick Wandera, Abakyala abalina babbaabwe abawagira ekibiina kya NUP abasibwa ne bagaanibwa okubalaba bekubidde enduulu mu Kkooti eyékinnamaggye ebakirize balabe abantu baabwe. Bano nga bakulembedwamu akulira ekiwayi kyábakyala mu NUP Flavia Nabagabe Kalule, abuulidde bannamawulire nti bukya bantu baabwe basibwa bakyala baabwe tebabakubangako kimunye ekintu ekikontana namateeka Ono agamba nti abasajja abali mu nkomyo abamu baleka bakyala…

Read More

Ogwábannamawulire ne media council gusalwa ku lwakuna

Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu etadewo ennaku zomwezi 14th January 2021 okuwa ensala yaayo mu musango ogwawabwa abasunsuzi bamawulire nga bawakanya ekya akakiiko akalondoola emirimu gya bannamawulire aka Media council okulagira bannamawulire bonna bewandiise baweebwe olukusa okusaka amawulire ku kulonda kuno ne ku mikolo gya gavt Omulamuzi Esta Nambayo,agambye nti okusalawo kwe agyakukuyisa ku mayilo, kino kidiridde…

Read More

Abakyala abatakabanira emirembe batongoza e bifo ebinayambako okumalawo obuvuyo

Bya Prossy Kisakye, Abakyala abatakabanira okulonda okutalimu mbeera ya buvuyo okuyita mu kibiina ki Women’s Situation Room (WSR),leero batadewo ebifo bina mu bitundu bye ggwanga ebyenjwulo we bagenda okwasaganyiza okwemulugunya nobuvuyo singa binaba bibaluseewo mu nnaku zokulonda Ebifo bino bitereddwa mu disitulikiti okuli Mbarara okukola ku bali mu bugwanjuba bweggwanga, Soroti, ya bali mu buvanjuba, Kampala abali…

Read More

Omutanda alabiseeko eri Obuganda

Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, alabiseeko eri Obuganda. Omutanda nate atusizza okusira kwe eri abantu abanfiriddwa abaabwe mu kabanga akayise. Ayogedde kungeri ekirwadde kya ssenyiga omukambwe gyekituzeemu abantu, naabo abafiira mu bwegugungo bwa 18-19 Novemba. Kabaka abadde aggulawo lukiiko lwa Buganda, olwomulundi ogwa 28. Mu lukiiko luno, abaami bamasaza neba minister abalondebwa beyanzizza obwami, nebawera nemu…

Read More

Abantu 5 bakubiddwa amasasi agabasse e Nansana

Bya Ivan Ssenabulya Minisitule yebyokwerinda ekakasizza nti abantu 5 bebafirirdde mu kuwanayisiganya amasasi okubadde e Ganda, Nansana mu distulikiti ye Wakiso omujaasi wa UPDF bwavudde mu mbeera nakuba banne nabantu babulijjo. Mu kiwandiiko omwogezi wa ministule kyafulumizza Deo Akiiki, agambye nti L/Cpl Omara Denis Awillo akubye banne aba  LDU 2, omuntu wabulijjo 1 nomusirikale wa poliisi. Akiki akakasizza…

Read More

Ssabalabirizi alangiridde okusabira egwanga

Bya Ivan Ssenabulya Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Steven Kaziimba Mugalu, akowodde bannaYuganda okugenda mu kusaba, ngegwanga ligenda mu kulonda. Bwabadde akulembeddemu okusaba mu maka ge, Ssabalabirizi alangirirdde okusaba nga kugenda kukulemberamu okulonda ne nnaku ezinagoberera okulonda. Okusaba kuno agambye nti kulubirirdde okwegayirirra Katonda, emirembe gibeere mu gwanga. Bino webijidde ngabe kkanisa ya Uganda tebetaba buterevu mu…

Read More

Museveni yemulugunya ku bulimba bwabamuvuganya

Bya Ritah Kemigisa Omukulembeze we gwanga, Yoweri K. Museveni nga yakutte bendera ya NRM ku bukulembeze bwe gwanga avumirirdde aboludda oluvuganya gavumentti, bagamba nti bagenda basasanya obulimba ku kulonda kwolwokuna, okubindabinda. Agambye nti amawulire gasasanye wonna nti okulonda Kyagulanyi owa NUP kwakuberawo nga 14 January 2021, ate okwa NRM kuberewo nga 5 January. Kati Museveni agambye nti obulimba…

Read More

Okulonda kwa 2021: Omusomo ku byuma ebyebinkumu

Bya Benjamin Jumbe Akakiiko kebyokulonda kalian essuubi mu byuma bi kalimagezi, ebikakasa ebinkumu oba Biometric Voter Verification machines nti bigenda kumalalwo emizze gyabantu okulonda emirundi egisoba mu gumu. Eno yeemu ku nkola eyogerwako eyitwamu okubba obululu, mu kulonda. Kati ssentebbe wakakiiko kebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama agambye nti kigenda kubayamba, okulaba nti abalonzi bokka era bebetaba mu kulonda. Okutendeka abalondesa…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play