ByaProsy Kisakye
Omubaka wa Kawempe North omulonde, Muhammad Segirinya yesunga plamenti.
Ono alambise enaku 100 ezisooka, ngagambye nti zigenda kumuyamba okwekubamu toochi ngakirira abantu be.
Bwabadde ayogerako naffe Ssegirinya agambye nti amangu ddala nga yakalayira, waakudda mu bantu okwongera okuzuula ebizibu ebibadde biruma abantu.
Agambye nti agenda kukozesa ezimu ku ssente zebawa ababaka okugula mmotoka okuyamba abavubuka okubatonderawo emirimu,…
Bya Ritah Kemigisa
Gavumenti daaki etnadise okuzaako yintaneti, gyebajjako wiiki ewedde mu biseera byokulonda.
Kino gavumenti egamba nti kyakolebwa, okwewala amawulire agobulimba nokukuma omuliro mu bantu ebyali bisubirwa mu biseera byokulonda.
Wabula kino kikozesezza abantu bangi nokusanyalaza emirimu gyebitongole ebitali bimu.
Ssaawa nga 2 emabega, banna-Uganda bazeemu okugenda ku yintaneti wabulanga gyo emikutu muyunga bantu, gikyali miggale.
Kati ebimu omuntu…
Bya Benjamin Jumbe ne Rita Kemigisa
AKakiiko ke byokulonda kakakasiza nga ebikozesebwa byonna mu kulonda kwólunaku lwenkya bwebimaze okutuuka ku zi disitulikiti
Bino byogeddwa sentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama bwabadde ayogerako ne bannamawulire eku kisaawe e kyambogo awagenda okugatirwa ebivudde mu kulonda
Byabakama agambye nti basazewo okwanguya ebintu bino okwewala okuletawo okutataganyizibwa ebikozeseba mu kutuuka awalonderwa
Ono…
Bya Prossy Kisakye,
Nga bannauganda bategekera okulonda okunabaawo olunaku olwenkya, ekibiina ekitaba enzikkiriza ekya Interreligious Council of Uganda, kikubiriza bannansi okwetaba mu kulonda kunomu bungi basobole okulonda abakulembeze be bagala
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje, akuutidde abalonzi okwewala embeera yonna eyakavuyo kuba evaako abantu okufiirwa…
Bya Prossy Kisakye,
Minisita avunanyizibwa ku byókwerinda Gen Elly Tumwine azeemu okukakasa bannauganda nga abebyokwerinda bwebamaliridde okubakuuma ne bintu byabwe okuyita mu nnaku zokulonda
Tumwine agamba nti yadde waliwo okutya nokwekengera ku biyinza okudirira, abakuuma ddembe bali bulindaala era basindikibwa dda mu bifo ebye njawulo okukakas nti tewabaawo aleeta kavuyo
Mungeri yemu asabye bannauganda obutakkiriza kutiisibwatiisibwa bagende balonde…
Bya Malikh Fahad
Abawagizi ba Sodo Aine Kaguta muganda womukulembeze we gwanga abadde avuganya ku kifo kyomubaka wa Mawogola North e Ssembabule, bazikubyemu makikakiika okwaka nebawakanya ekyomuntu waabwe okuva mu lwokaano.
Bano nga bakulembeddwamu Vincent Kimbugwe, bagambye nti okuva mu lwokaano awatabadde kubebuzaako kubadde kubalyamu lukwe.
Aine yavudde mu lwokaano okulekera muwala wa minister wensonga ze bweru we…
Bya Musasi waffe
Ekitebbe kya America mu Uganda basazizaamu entekateeka gyebabadde nayo, okulondola okulonda kwa Uganda okwolunnaku lwenkya.
Bagambye nti kivudde ku kakiiko kebyokulonda, okugaana okuwa abanatu baabwe kyenkana 75% olukusa okwekennenaya okulonda kuono.
Omubaka wa America mu Uganda Natalie Brown agambye nti abantu 15 bokka bebakiriziddwa okulondooola okulonda kalenga tebajja kusobola kukolera mu mbeera eno.
Ono agambye nti…
Bya Ivan Ssenabulya
Abesimbyewo ku bukulembeze bwe gwanga 3, bongedde okweyama okukolera wamu.
Kuno kuliko Robert Kyagulanyi owa NUP, Mugisha Muntu owa ANT ne Patrick Amuriat owa FDC.
Eyali pulezidenti wa FDC Dr. Besigye yabatabaganyizza, era basoose mu kafubo oluvanyuma nebogerako ne bananwmulire.
Obubaka bwabwe, awatali kwesalamu, basabye abalonzi okukuuma akalulu kaabwe.
Kati Kyagulanyi atadde ku nninga akakiiko kebyokulonda, nti…
Bya Benjamin Jumbe
Alipoota efulumiziddwa aba afro barometer etadde pulezidenti Museveni waggulu, ku banne abamuvuganya.
Bino webijidde ngebula olunnaku lumu okutuuka ku kulonda kwa bonna.
Bwabadde afulumya alipoota eyavudde mu kunonyereza kwabwe ku kulonda kwa 2020/21, Francis Kibirige omunonyereza omukulu agambye nti ku bantu bebabuuza 84%, ebitundu 53% bagamba nti bajja kulonda Museveni owa NRM.
Owa NUP Robert Kyagulanyi…
Bya Barbra Nalweyiso
Okulonda kwabakansala mu distulikiti ye Mityana kwatambudde bulungi wakati mu bukuumi obwamaanyi.
Wabula kwagenze okukomekerezebwa ngabavuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform bakukumbye, era nebawangula ebifo ebisnga naddala mu munispaali ye Mityana.
NUP ewagunde ebifo byonna muba kansala abakyala mu Mityana munisipalite omuli Busimbi division, Tamu division ne Central division ngekibiina kya NRM kyasobodde…
