Bya Benjamin Jumbe
Ssabalabirizi we kkaanisa ya Uganda, Kitaffe mu Katonda Dr Samuel Kaziimba Mugalu, alonze Rt Rev John Charles Odurkami ngomulabirizi owekiseera owobulabirizi bwe Kumi.
Mu bbaluwa gyeyawandiise nga 8 January 2021, Ssabalabirizi yasabye Rev Odurkami okujira ngabeera mu mitambo gya Diocese eno okutuusa Omulabirizi lwanalangirirwa.
Kino kydairirdde abadd omulabairizi we Kumi, Rt Rev Thomas Edison Irigei…
Bya Ruth Anderah
Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3 banywezezza ebibonerezo okuli ekyemyaka 30 nemyaka 42 ebyaweebwa aboluganda abakira omukozi waabwe munnansi wa Rwanda nebamutta mu 2012.
Richard Bulega ne Lasto Tomusange wetwogerera nga bakola biboerezo ebyobusibe ebyabaweebwa.
Abalamuzi bagambye nti obujulizi obwaleteddwa bulaga nti bano ddala batta omugenzi.
Oludda oluwaabi lugamba nti Bulega yagenda e Mubende najjayo omugenzi eyaterekekako…
Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bukunda mu gombolola ye Kyanamukaka, mu distulikiti ye Masaka bwebagudde ku mulambo gwa mutuuze munaabwe.
Omugenzi ye Lawrence Bbaale Terera owemyaka 42, ngabadde mutemi wa nnyama ku kyalo Bukunda.
Okusinziira ku poliisi, omugenzi abatamanya ngamba bamuteeze nebamutta omulambo nebagusuula mu nnimiro yomutuuze omulala.
Omwogezi wa poliisi mu ttunduttundu eryobwagagavu bwe Masaka…
Bya Benjamin Jumbe
Minisita owensonga zomunda mu gwanga Gen Jeje Odong alabudde banabybufuzi, nabesimbyewo bonna okwewala effujjo eryengeri lyonna mu kulonda kwomukulembeze w egwanga nababaka ba palamenti wiiki ejja.
Bino webijidde ngebula ennaku 5 okutuuka ku lunnaku lwokulonda.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire Gen Odong agambye nti abakuuma ddembe betegese ekimala, okukuuma obutebenkevu ku lunnaku lwokulonda.
Alabudde nti tewali muntu…
Bya Rita Kemigisa,
Gavt enenyeza senkagale we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi okulimba eggwanga ku bikwata ku bukuumi bwa famileye
Kino kidiridde Kyagulanyi okudusa abanabe mu ggwanga nga agamba nti yali atebuse olukwe olwokwagala okubawamba nokwagala okumutuusako obulabe ne mukyalawe
Wabula omwogezi wa gavt Ofwono Opondo ategezeza nti Bobi Wine yeyogeza bweyogeza ebitaliimu nsa
Opondo agambye nti gavt terina…
Bya Ritah Kemigisa
Akulembera ekibiina kya NUP, era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine avuddeyo okwanukula abamukolokota, ku kyeyakoze okutwala abaana be ebweru we gwanga.
Ebifanayi bikedde kusasanira ku mikutu muyunga bantu, ngabaan ba Kyagulanyi bafuluma egwanga, nga kigambibwa nti bagenze mu gwanga lya America.
Bino webijidde ngokulonda kwa bonna kukubye koodi…
File Photo: Abayizi mu kibiina
Bya Damali Mukhaye,
Alipoota efulumiziddwa eyolese nti abayizi 56% abaafuna ebisomesebwa ebyagabwa gavumenti mu kiseera kyomuggalo tebabitegeera
Bwabadde ayanja ebyavudde mu kunonyereza kuno, Dr Paul Kitooke, omunonyereza okuva ku ttendekero e Kyambogo, agambye nti abayizi 44% bebokka abategeera waaka eyabaweebwa okwesomesa nga bali eka.
Ono anyonyodde nti olulimi lwe bakozesa okuwandiika waaka ono lwali…
Bya Ivan Ssenabulya,
Eyesimbyewo okuvuganya kubwa pulezidenti, omusumba Joseph Kabuleta kampeyini zimusinye lwa nsimbi empitirivu zolina okuba nazo okunonya akalulu
Ono agamba nti engeri gye kiri nti okusinga balina kunonya kalulu mu nkola eya sayansi, abesimbyewo betaaga ensimbi mpitirivu okusasulira emikutu gya mawulire nókuyimirizawo tiimu gyebakola nayo
Akakiiko ke byokulonda kasalawo okulonda kwomulundi guno okubeera okwa sayansi oluvanyuma…
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko ké byókulonda kawadde abesimbyewo amagezi abatekateeka okutekawo ebifo mwe bagenda okubalira obululu bwabwe okugoberera amateeka
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu musomo ogutegekedwa ekibiina kya LAPSNET, okubabangula ku byókulonda mu kampala, akulira bannamateeka ba kakiiko ke, Abubaker Kayondo, akikatiriza nti akakiiko kokka ke kalian olukusa okulangirira ebyenkomeredde mu kalulu
Wabula nagamba nti abesimbyewo basobola okugatta…
Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko ke byókulonda kaweze kamera okutuuka mu bifo awalonderwa
Bino byogeddwa sentebe wa kakiiko omulamuzi Byabakama,bwabadde asimbula ebikozesebwa mu kulonda okugenda mu disitulikiti ezenjawulo wali kutterekero lyabwe e Banda
Ekyokuwera kamera awalonderwa byabakama agambye nti kigenderedde kukuuma kalulu okusigala nga kakyama
Mungeri ye byokwekuba selefi mu kifo awalondererwa biwereddwa
Wabula Byabakama akkiriza bannamawulire okukozesa amasimu gaabwe ne…
