Bya Ivan Ssenabulya
Minisita webyokwerinda bye gwanga bunnambiro avuddeyo okuwakanya amawulire agasasanye nga gamubika.
Amwulire gokufa kwa Gen Elly Tumwine gabadde gasasanidde ku mikutu muyunga bantu egyenjawulo, okuva mu budde bwokumakya.
Wabula Tumwine ayise ku twitter, nabikanya.
Mu bubaka bwe agambye nti banna-Uganda,
Kansubire muli bulungi, mbasaba temukiriza mu mawulire agobulimba agalaga nti nafudde.
Akakasizza nti mulamu, ssi mulwadde ate tai…
Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Patrick Amuriat agombedwamu obwala akawungeei ka leero mu disitulikiti yé Nakasongola.
Amuriat abadde agenze kunonya kalulu wabula poliisi ne mu kugira okuyingira ekibuga kyé Nakasongola.
Ono asazeewo kuva mu motokaye natambuza ebigere okuyingira e kibuga kino wabula poliisi ne munyweza
Amuriat gye buvudeko yavumirira…
Bya Caleb Opio,
Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga okubeera abóbuvunanyizibwa beekuume bulungi mu mwaka omuppya
Kadaga alabudde nti yadde mu mwaka omupya mubaamu essuubi empya, bannauganda tebasanye kwerabira kusomozebwa okuliwo okukuyigirako
Era asabye abantu okwenyigira mu nsonga zonna ezileeta obukulembeze obulungi nokukyusa embeera zaabwe
Kadaga yeyamye okuwagira gavt eze bitundu nga zifuna ensimbi ezimala zisobole okutuusa empereza…
Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko ke byokulonda kakutandika okugaba obupapula obulaga omuntu walina okulondera
Obupapula buno bwakutandika okugabwa ngennaku zomwezi 3rd Jan 2021 okwetoloola eggwanga
Kino kigendererdwamu balonzi okwanguyirwa okumanya wa we balina okulaga nga okulonda kutuuse basobol okusuula akalulu ka kaabwe
Akapapula kano kaliko erinnya lyomulonzi, ennaku kweyazaalibwa, ne gyabeera ne linnya lye kifo gyalina okulondera
Okusinzira ku sentebe…
Bya Prossy Kisakye,
Abawagizi bakwatidde ekibiina kya National Unity Platform bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Robert Kyagulanyi, abakwatibwa e Kalangala nakati bakyali mu nkomyo oluvanyuma lwokumibwa omukisa okwofuna bannamateeka
Ku lwokusatu lwa ssabiiti eno abantu 90 bebagombwamu obwala bwebakungana okuwuliriza Kyagulanyi eyali agenze e Kalangala okuwenja akalulu
Era omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga yakakasa okukwatibwa kwábantu…
Bya Prossy Kisakye,
Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago atadde gavumenti kunninga okuvaayo ne alipoota ekwata ku bwegugungo obwali mu ggwanga mu mwezi gwe 11 Bobi wine bweyali atereddwa mu nkomyo.
Obwegugungo obwaliwo ngennaku zomwezi November 18th ne 19th oluvanyuma lwókukwatibwa kwa senkagale wékibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi, bweyali agenze mu disitulikiti eyé Luuka okuwenja…
Bya Prossy Kisakye,
Sentebe wá kakiiko akataba ebakkiririza mu yesu kristu aka Uganda Joint Christian Council (UJCC), era nga ye ssabasumba we ssaza ekkulu erya kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga, awolereza okusaba kwabwe eri gavumenti okwongezaayo okulonda
Akakiiko kano omwegatira enzikkiriza satu okuli aba katoliki, abaseventh day nábapolotesitanti, okuyita mu lukungana lwa bannamawulire ssabiiti ewedde basaba gavumenti…
Bya Ssabiiti Magembe,
Bannadiini mu district ye Mubende bakubiriza abantu bona abaweza emyaka egironda okwenyigira mukulonda abakulembeze bebagala nga essira baliteeka kwabo bokka abatya Katonda era nga bassa ekitibwa mu ddembe ly’obuntu saako okuba nga tebenyigira mu bikolwa eby’obuli bwenguzi nga kino kyakuyamba okufuna abakulembeze abalungi.
Faaza Muwonge Anthony nga yakulembedemu missa yokwaniriza omwaka omuggya ku kigo…
Bya Benjamin Jumbe,
Abalwanirizi be ddembe bekokodde embera eyokwagala okubatulugunya eyalabibwako omwaka oguwedde
Bano okuvaayo bwebati nga ne gavt gye buvudeko yateeka envubo ku akawunti ze bibiina byobwannakyewa ku bigambibwa nti baali bawagira ebikolwa ebyobutujju
Akulira ekibiina kya Foundation for Human rights Initiative Dr Livingstone Ssewanyana,asabye mu mwaka omuppya guno wabeewo okukwatagana nokuwangana ekitiibwa wakati waabwe ne gavt
Era…
Bya Prosy Kisakye
Uganda Joint Christian Council ekibiina ekitaba enzikiriza zabakulisitaayo, balangirirdde okusaba nokusiiba kwa nnaku 3 mu gwanga lyonna, ngokulonda kwa bonna nga 14 January bakuteeka mu mikono gya Katonda.
Kino kiranagirirddwa Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga, ngasinzidde mu kusaba okubadde ku lutikko e Rubaga.
Okusba kugenda kutandika ku Bbalaza nga 4…
