Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kyekibiina kyamawanga amagatte, ekirabirirra abaana, United Nations Children's Fund kitegezezza nti basubira abaana 3,636 okuzalibwa mu Uganda olwaleero ku lunnaku olusooka mu mwaka.
Kino kitegeeza nti wabaddewo okudirirra, mu miwendo gyabaana abazalibwa ne 7.3% bwogerageranya nabaana 3,900 abazalibwa ku lusooka mu 2020.
Kati omugatte abaana abazalibwa mu nsi yonna, ekitundu ku bbo abasing bava…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni akakasizza nti abakuuma ddembe, ddala bebatta omukubi webikonde Zebra Ssenyange.
Bino bijidde mu bubaka bwe, obumalako omwaka bwabadde ayogerako eri egwanga akawungeezi ke ggulo.
Museveni yetonze, era nagamba nti omugenzi Ssenyange yali abkolera omulimu gwa ttendo okukunga obuwagizi eri ekibiina kya NRM mu bitundu bye Kawempe.
Wabula agambye nti yafunye…
Bya Prosy Kisakye
Ekkanisa ya Uganda etegese okuasaba okwokuyingira omwaka, okwenjawulo era okutali kwabulijjo.
Okuva edda, ngennaku zomwezi 31 Decemba amasinzizo gabaddenga gategeka okusaba okwokuyita mu kiro okwekulina omwaka nokwaniriza omwaka omujja, wabula olwaleero tekigenda kusoboka eri abamu.
Kino kivudde ku mateeka agakugira abantu okukungaana mu bungi.
Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kyobulabirizi e Namirembe, Ssabalabirizi we kkanisa…
Bya ABDUL-NASSER SSEMUGABI
Omukubi webikonde omulala atiddwa, mu mbeera etanaba kutegerekaka.
Omugenzi ye Robert Mukasa, abadde amanyiddwa nga Soldier Man, kigambibwa nti yawambibwa abantu bebamu abagambibwa okutta Isaac Zebra Ssenyange.
Wabula ono olwaleero bamusanze mufu, ku nkambi yamagye e Bombo.
Kati mu kukungubaga olunnaku lwe ggulo, wabaddewo okwebuuza Mukasa waali kubanga Zebra Ssenyange yabadde amutendeka atega tamuva ku lusegere.
Omumyuka…
Bya Damali Mukhaye,
Akulembera ekibiina kya National Unity platform era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi ayogedde ku kukwatibwa kwe mu distulikiti ye Kalagangala olunnaku lwe ggulo.
Kyagulanyi bwabadde tanayolekera mu distulikiti ye Mpigi, gyagenze okukuba kampeyini olwaleero, asinzidde mu maka ge e Mgere, nakukulumira abakuuma ddembe ne gavumenti olwokulemesa kampeyini ze.
Agambye nti Kalangala, waddenga ssi…
Bya Damali Mukhaye,
Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Makerere Prof Barnabas Nawangwe ategezezza nti okulwawo kwa alipooota ya poliisi,ku muliro ogwakwata ekizimbe kya Ivory Tower, kyekirwisizaawo emirimu gyokuzimba okuzaawo ekizmbe kino.
Nabbambula womuliro yakwata ekizimbe kino ekisnga obukadde ku ttendekero, mu mwezi gwe 10, era gwasanyawo ebintu ebiwerako.
Wabula nokutuuka olwaleero alipoota tefulumanga.
Okusinziira ku Prof Nawangwe, nokusonda…
Bya Derrick Wandera,
Senkagale wa NUP Robert Kyagulanyi akwatiddwa e kalangala gyabadde yagenze okuwenja akalulu natekebwa kunyonyi emuze e kampala
Bobi Wine okusinzira mu ntekateeka ya kakiiko ke byokulonda abadde alina okuwenja akalulu mu disitulikiti ye kalangala ku bizinga bye Namisoke, Kachanga ne Kacunga
Wabula olubadde okutuuka poliisi námaggye ababadde bategese ne nnyonyi na munkanga bamukute na bakuumibe…
Bya Ruth Anderah
Munnamateeka omulwanirizi we ddembe lyobuntu, ssenkulu wekitongole kya Chapter Four Uganda Nicholas Opiyo awereddwa okweyimirirwa.
Omulamuzi wa kooti enkulu ewozesa ablyake nabakenuzi, Jane Kajuga Okuo yamuwadde okweyimirirwa kwa bukadde 25 mu mpeke nabemweyimirirdde obukadde 100 ezitabadde mu buliwo.
Omulamuzi Opiyo atekeyo passporta ye mu kooti ne laptop, atenga era atekeddwa okweyanjula eri omuwandiisi wa kooti…
Bya Ivan Ssenabulya
Abekibiina kya National Unity Platform bawakanyizza ebigambibwa nti bagenda kujumera akakiiko kebyokulonda bakube kampeyini ezawamu mu bibuga ne district gyebaganiddwa.
Akulembera ekibiina kino Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine amwulire gawandiise, okuva mu lukungaana lwabanamwulire lweyatuzizza olunnaku lwe ggulo ngawera nti waakugenda mu bitundu ebyo.
Kati ssabawandiisi wekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya abiwakanyizza nagamba…
Bya Gertrude Mutyaba
Abantu be Kyotera, baaguddemu ekyobero, bba w'omugenzi Robina Ssentongo Joseph Ssentongo naye bweyafudde.
Omugenzi Ssentongo abadde mugonvu okumala akaseera nga teyasobola nakuziika ku mukyala we, eyali omubaka omukyala owe Kyotera.
Okusinziira ku Steven Zziwa, eyali omuyambi w'omugenzi Robina, Omugenzi Ssentongo yali mulwadde nga mukyala we tanafa kyokka okufa kwa mukyala we kwayongera okimugondeza ddala ngabadde…
