Bya Prossy Kisakye,
Ssenkaggale wa DP Norbert Mao asoomozza akakiiko k'ebyokulonda, okunyonyola amateeka gebayiseemu okuyiiriza kampeyini mu distulikiti ezimu nebibuga.
Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama yategezezza nga kino bwekyakoleddwa olwemiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe COVID-19 egigenze gyeyongera.
Kati mu bitundu ebyamenyeddwa, enkungaana zebyobufuzi zaganiddwa.
Kuno kuliko Kampala, Mbarara, Luweero, Kasese, Masaka, Wakiso, Kabarole, Jinja, Kalungu, Kazo, Kiruhura, Mukono…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi eriko abasajja 2 bekutte, nga kiteberezebwa nti bebakulembeze ababadde baddumira abanyaguluzi bokumazzi ababade batigomya abavubi ku Nnyanja Nalubaale mu distulikiti ye Buvuma.
Bano babadde bayambisa ebijambiya, nebalumba abavubi okubabbako yingini zamaato nebikozesebwa ebiralala mu buvubi.
Omubaka wa gavumenti e Buvuma nga yakulira ebyokwerinda Juma Kigongo agambye nti abasinze okukosebwa bebavubi mu bizinga bye Lubya,…
Bya Damalie Mukhaye
Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bwe gwanga Patrick Amuriat bamukubye mu maaso, ekigambibwa okubeera kamulali nebamuddusa mu ddwaliro.
Amuriat abadde agaba nti alina okubeera e Tororo ne Mbale okuwenja akalulu wabula, bateredde emisanvu e Muwayo, ku nsalo ya distulikiti ye Bugiri ne Busia.
Wano wabaddewo akanyolagano, Amuriat alyoke alumizibwe.
Kati oluvanyuma bamuvugidde mu kagaali okumutuusa…
Bya Barbra Nalweyiso
Gavumenti erabudde abadigize abeesunze okwoca ebipiira nokubinuka amasejjere, mu kwaniriza mu kumalako omwaka mokwaniriza omujja.
Minisita w'ebyamawulire, sayansi ne technologiya Judith Nabakooba asinzidde Mityana n'ategeeza nga gavumenti bweweze ebbinu eryo nokubwatula ebiriroliro, mu kiro kya 31.
Nabakooba agambye nti ekirwadde kya Covid-19 kitandise okuwanika amatanga, nga tebakyayagala yadde abantu okwetaba awamu, kubanga kiteeka obulamu bwabantu…
Bya Ivan Ssenabulya
African Centre for Media Excellency ekitongole ekirwanirirra eddembe lyabanamwulire kivumiridde obulumbaganyi obwakoleddwa ku bannamwulire olunnaku lwe ggulo mu distulikiti ye Masaka, mu kampeyini zokulonda kwa 2021.
Mu kanyolagano kano munnamwulire wa Gheto TV Ashraf Kasirye yalumiziddwa nabalala okwabadde owa Radio One, owa NTV Ali Mivule nowa NBS Daniel Lutaaya nga wetwogerera abali bakyali ku…
Bya Ritah Kemigisa
Akutte bendera ya NRM ku bvukulembeze bwe gwanga Yoweri Museveni ayimirirzza kampyini ze mu distulikiti ye Mukono olwaleero gyabadde asubirwa.
Kino agambye nti kikoleddwa, oluvanyuma lwakakiiko kebyokulonda okuyimiriza kampeyini mu disitulikiti ezimu, nga Mukono yeemu ku zzo.
Kati agambye nti agenda kwogerako eri egwanga okuyita ku TV ne Radio eggulo lya leero.
Kati omusasai waffe bwayiseeko…
Bya Ritah Kemigisa
Amagye ge gwanga aga UPDF, gawakanyizza byebabalumiriza nti mmotoka yaabwe yeyatomedde Francis Senteza Kalibala, abadde amanyiddwa nga Frank nemutta abadde omukuumi wa Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Omugenzi yoomu ku babadde bakola ku byobukuumi mu kibiina kya National Unity Platform ekya Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine.
Kyagulanyi yategezezza nti mmotoka ya military police yatomedde musajja we…
Bya Juliet Nalwooga,
Omulwanirizi weddembe, Nicholas Opiyo, asindikibwa mu kabula muliro oluvanyuma lwokugulwako emisango egyokutambuza ensimbi mu bumenyi bwamateeka nokulemererwa okuwaayo embalirira kunsasanya yensimbi ze eri ekitongole omwegatira ebibiina byobwannakyewa.
Bwalabiseeko mu kkooti e Nakawa Opio asindikibwa mu kkomera yebakeyo okutuusa nga 28th December
Ono avunanibwa ne banne abalala 4 okuli Herbert Dakasi, Esomu Obure, Anthony Odur and…
Bya Prossy Kisakye,
Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera mu kuvuganya kuntebbe eyobwa pulezidenti, Robert Kyagulanyi aka Bobi wine, asuubiziza okudamu okuyitimusa ebyóbulimi , abalimi basobole okuganyulwa mu ntuyo zaabwe
Bino abyogedde ayogerako eri abawagizibe mu disitulikiti gyazaalwa e Maddu, Gomba.
Kyagulanyi agambye nti ye kitaawe yamuwerera munsimbi za mwaanyi wabula nga kati kyenyamiza okulaba nti abalimi…
Bya Moses Ndaye,
Amyuka Ssentebe wekibiina kya NRM mu bitundu ebyóbuvanjuba bwe ggwanga Captain Mike Mukula awakanyiza ekiteeso ekyokwongezaaayo okulonda kwomwaka ogujja
Olunaku lweggulo sentebe wa kakiiko omwegatira abakiririza mu yesu aka Joint Christian council Dr.Cyprian Kizito Lwanga yasabye gavt eyongezeyo okulonda nga agamba nti embeera ye kirwadde ekya covid-19 esooke ekakane
Wabula Mukula agamba nti ekyokwongezayo okulonda…
