Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Banadiini bagala okulonda kwongezebweyo emyaka 3 Museveni ajira afuga

Bya Ndaye Moses Uganda Joint Christian Council, ekibiina ekigatta banadiini abakulisitaayo basabye gavumenti eyongezeeyo okulonda okubindabinda, omwezi ogujja. Bano nga bakulembeddwamu ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga bagambye nti kyetaaga okulonda kuyimirire oluvanyuma kuberwo mu myaka 3, nge besigambye kungeri ekirwadde kya COVID-19 gyekyewanise amatanga. Bagala ssemateka akolebwemu ennongosereza, okwongera omukulembeze we gwanga ekisanja. Dr…

Read More

Uganda tenazindibwa corona omupya

  Bya Juliet Nalwooga, Ministule evunanyizibwa ku byóbulamu mu ggwanga egamba nti Uganda tenafuna kika kya kirwadde kya ssenyiga omukambwe ekippya ekimanyiddwa nga SARS-COVID-2 Virus. Okusinzira ku kibiina kye byobulamu ekyénsi yonna ekika kya covid kino kyatuuka dda mu mawanga okuli South Africa, Nigeria,ne bitundu ebimu mu bulaaya ne Bungereza Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu kampala, minisita omubeezi owebyobulamu…

Read More

Aba media council bongezaayo okuwandiisa abamawulire

Sejusa nebannamawulire Bya Rita Kemigisa, Ekitongole kya Uganda Media council, kivunayizibwa ku kulungamya emirimu gyamwulire kyongezaayo ssalessale, wokuwandiisa eri bannamawulire abagenda okusaka amawulire gókulonda kwomwaka ogujja Kino kidiridde bannamawulire okwekubira enduulu nti ennaku ezabaweebwa okwewandisizaamu ntono nyo nga bamu tebaliwo bagenda mu bitundu ebyewala okusaka amawulire mu bavuganya kubwa pulezidenti Akakiiko kaali katekawo ennaku zomwezi 21 omwezi guno nga…

Read More

Mao ayagala aba IPOD basindike bakalondoozi mu kulonda okujja

Bya Prossy Kisakye Ssenkaggale wa DP Norbert Mao asabye ssentebbe omugya owomukago omwegatira ebibiina ebirina abakiise mu palamenti ogwa Interparty Organization for Dialogue, nti mu bwangu balonde ekibinja kyabalondoozi bokulonda kwa 2021. Bino webijidde nga ssentebbe womukago guno, Asuman Basalirwa owa JEEMA ngagenda kuwaayo obuyinza eri Yoweri Museveni owa NRM. Omukolo guno gusuubirwa okubaawo akawungeezi ka leero, oluvanyuma…

Read More

Ennyonyi ya Uganda kika kya Airbus A330 Neo etuuse

Bya Ritah kemigisa Ennyonyi kika kya Airbus A330 neo esoose, eyaguliddwa Uganda, etonnye kulya Buganda. Ennyonyi eno etuuse ku ssaawa 5 ne dakiika ezigwamu, ngakulira abagoba be nnyonyi za Uganda Airline Cpt Michael Etiang yabadde ajibonga okujituusa wano okuva mu France. Kati abagenyi batono abayitiddwa okwetaba mu mukolo ogwokujaniriza, ngomukulembeze we gwanga ye mugenyi omukulu. cMichael Etiang mu kusooka…

Read More

Bannamawulire be bweru balabuddwa ku kulonda kwa Uganda

Bya Juliet Nalwoga Banammawulire okuva e bweru we gwanga, abagenda okusaka amamwulire agakwata ku kulonda kwa Uganda okwa 2021 balabuddwa nti bagoberere amateeka, okukakasa nti bali mu gwanga mu mateeka. Omulanga gukubiddwa Jacob Simunyu, omwogezi wa ministule yensonga zomunda mu gwanga, ngagambye nti batekeddwa okukkasa nti visa zaabwe ntuufu nga zogera ku kuberawo kwabwe mu gwanga, kubanga…

Read More

Uganda egenda kutuusa ennyonyi kika kya Airbus A330

File Photo:Ekisaawe kyenyonyi eky'Entebbe Bya Ritah Kemigisa Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni amakya ga eero agenda kukwasibwa ennyonyi ye gwanga endala kika kya Airbus A330 nga yakatonnya ku kisaawe kye gwanga Entebbe ku ssaawa 5. Okusinziira ku akulira ebyensimbi mu kampuni ye gwanga eya Uganda Airlines Roger Wamara, abantu batono abayitiddwa okuberawo ku mukolo guno ngemu kungeri…

Read More

Aba NUP e Mubende balagyanye kubayuza ebipande byabwe

  Bya Magembe Ssabiiti, Ab’ekibiina kya National Unity Platform mu disitulikiti y’e Mubende basabye abakulira eby’okulonda e Mubende baveeyo babataase ku bayuza ebifaananyi byabwe n’okukuba abawagizi babwe. Leero webukeeredde nga ebifaananyi by’omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanye Ssentamu nabakwatidde ekibiina bendera biyuziddwa ku nguudo ezimu mu kibuga Mubende ekiresewo okutya eli abakulembeze nabawagizi bekibiina kino. Avuganya…

Read More

Abalwanirizi bé ddembe basabye abasibe baweebwe bannamateeka ku bwerere

Bya Moses Ndaye, Abalwanirizi be ddembe lyobuntu basabye palamenti okubaga etteeka erikaka gavt okuba buli abateberezebwa okuba abazzi be misango munnateeka anabawolereza ku bwerere mu kkooti awatali kutunulira musango gumuvunanwa Etteeka eririwo mu kaseera kano liragira abantu bokka abali ku misango eminene omuli obuttemu nóbuliisa maanyi okuweebwa bannamateeka Bwabadde atongoza alipoota etumiddwa leka abantu bange bagende, senkulu…

Read More

Katumba asuubiziza abavubuka bé Rubaga emirimu

Bya Prossy Kisakye Eyesimbyewo ku bwannamunigina mu kuvuganya kuntebbe ey'omukulembeze w'eggwanga omwaka ogujja John Katumba, asuubiziza abavuzi ba bodaboda mu gombolola yé Rubaga okubafunira emirimu egitegerekeka singa anafuuka pulezidenti wa Uganda omwaka ogujja. Bino abyogedde ayogerako nábawagizibe emisana ga leero mu katawuni ké Lugala ekisangibwa mu Rubaga division, Kampala district. Katumba agambye nti Uganda obusobozi obusobozesa buli munnauganda…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play