Bya Ivan Ssenabulya,
Ekibiina omwegatira abayimbi mu ggwanga ki Uganda Musicians Association kisabye kinakyo ekya Uganda Performing Rights Society, okudukirira ku bayimbi abali obubi mu kaseera kano akomuggalo
Kino kidiridde abayimbi okubeera mu muggalo ogwe myezi 9 bukya pulezidenti ya bagala mu mwezi ogwokusatu oluvanyuma lwokubalukawo kwe kirwadde kya covid-19
Ssabawandiisi wékibiina kino Phina Mugerwa aka Masanyalaze, agamba…
Bya Gertrude Mutyaba,
Omusumba w’essaza lye Masaka Serverus Jjumba asabye abakkiriza okuba abasaale mu kuleetawo emirembe nobutebenkevu mu ggwanga
Bino abyogedde awa obubakabwe obwamazaalibwa ga yesu kristu nga asinzidde mu maka ge e Kitovu naagamba nti enkuza y’amazaalibwa g’omwaka guno yaakusoomooza kyokka naasaba abantu okudda eri Katonda okulaba nga ekibi kya Adam ne Eva kiggwawo.
Omusumba akubiriza abakkiriza…
Bya Gertrude Mutyaba
Rose Fortunate Nantongo, muwala w'omugenzi Robinah
Ssentongo eyali omubaka omukyala owa distulikiti ye Kyotera asusnsuddwa okuvuganya ku kifo nnyina kyeyalimu, ngajidde ku kaada ya DP.
Nantongo asunsuddwa akulira eby'okulonda e Kyotera Coleb Nahamya e Kasaali, ku kitebe kya district ngabadde awerekeddwako abakulembeze ba DP ne banna NRM.
Nantongo bwabadde ayogerako ne bannamawulire oluvannyuma
lw'okusunsulwa, ategeezezza nga bwagenda…
Bya Juliet Nalwooga
Minisita omubeezi owebyamawulire, techonologiya nokulungamya egwanga Peter Ogwang, asabye bann-Uganda okweyambisa technologiya okuwuliziganya nabagalwa baabwe, mu mu nnaku zino enkulu okwewala ssenyiga omukambwe Covid-19.
Bino abitadde mu bubaka bwe obwa ssekukulu, ngagambye nti waddenga wabaddewo enkola eyabulijjo okusisinkana abagalwa, okuliirako awamu, kuluno betaaga bakyewale, kubanga kyakuteeka obulamu bwabwe kabi okulwala.
Ogwang agambye nti kisobokera ddala,…
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi etegezezza nti wabaddewo okukendeera kwobumenyi bwamateeka omwaka guno.
Mu bubaka bwa ssekukulu, obuvudde ewa ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola agambye nti era basubira webanafundikririra omwaka ngobumenyi bwamateeka bukendedde nebitundu 5.4%.
Kino akitadde ku maanyi agatereddwamu, awamu ngabakuuma ddembe.
Agambye nti obumenyi bwamateeka obwetobekamu emmundu bwakendedde, nga kivudde ku ntekateeka yebinkumu eri abakozesa emmundu gyebaleeta.
Ebiralala…
Relatives and friends mourn
Bya Musasi waffe
Emirambo 8 okuli negyabaana 2 gyejinyuluddwa mu nnyanja, song abanatu abalala 16 tebakubikako kimunye.
Kino kyadirirdde eryato kwebabadde batambulira, ku nnyanja Muttanzige okugwamu, mu distulikiti ye Buliisa.
Abantu 21 bebatasibwa oluvanyuma lwakabenje kano.
Special police constable Rogers Businge , nga yakolanga akulembera ekyalo Kitahura awaali…
Bya Benjamin Jumbe,
Omulwanirizi wéddembe Nicholas Opiyo kyadaaki akkiriziddwa okulaba bannamateekabe naba famile ye
Opiyo ne banne abalala 3 bagombedwamu obwala abakuuma ddembe olunaku lweggulo ku restaurant e Kamwokya ne batwalibwa e Kireka ku Special Investigation Unit era nebamibwa omukisa okulaba bannamateeka, abasawo naboluganda lwabwe
Mu kwogerako ne bannamawulire munnamateeka wa Opio David Mpanga agambye nti bamaze ne…
Bya Prossy Kisakye,
Ekelezia katolika mu ggwanga esabye abakwatibwako ensonga zebyokulonda bonna okwetanira e mirembe mu kulonda okujja
Bwabadde awa obubaka bwa mazaalibwa ga mukama waffe yesu kristu kugwandisizo lya bakatoliki e Nsambya, Ssentebe wólukiiko lwa basumba era nga ye Musumba wéssaza lya Kiyinda Mityana, Rt Rev Anthoy Zziwa,alaze obwenyamivvu ku bannauganda abafiirirwa obulamu mu kwekalakaasa okwaliwo…
Bya Benjamin Jumbe
Ebitongole byobwanakyewa, ebirwanirirra eddembe lyobuntu bisabye amagye ge gwanga gayimbule mbagirawo bayimbule munnamateeka Nicholas Opiyo okudda mu mikono gya poliisi.
Omulanga guno bagukubidde wali ku kitebbe kya SIU e Kireka, gyebagenze okumanya ebikwata ku Opiyo ne bannamateeka abalala 2 bwebakwatiddwa.
Mu kiwandiiko ekyawamu kyebanjudde, Job Kiija agambye nti okutuntuza bnakyewa, kirina engeri gyekigenda okukosaamu ebye…
File Photo: Kutesa nga yogeera
Bya Ritah Kemigisa
Minister owensonga ze bweru we gwanga Sam Kutesa ayanukudde omubaka mu lukiiko lwa America olwa congress Elliot Engel, era ssentebbe wakakiiko akensonga ze bweru we gwanga eyasaba nti abanenene mu bitongole byebyokwerinda mu Uganda abatekebweko envumbo olwokwetaba mu kulinyirirra eddembe lyobuntu, okweyongedde.
Kati mu bbaluwa gyeyawandiise nga 21 Decemba, Kuteesa…
