Bya Juliet Nalwoga ne Abdul Nassar
Poliisi e Kawempe etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku mukubi webikonde e Bwaise Zebra Senyange.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesogyire agambye nti batuuse mu kifo, obutemu webwabadde era nebajjawo obujulizi bwonna bwebetaaga, okubadde nokwogera ku berabiddeko okunyonyola byebajjukira.
Omugenzi bamujje mu maka ge mu kiro ekikesezza olwaleero, nebamukubira…
Bya Abubaker Kirunda,
Entiisa ebutikidde abatuuze be Buwaga mugombolola yé Bulange mu disitulikiti eyé Namutumba abaana 2 bwebakiridde ewomutaka ssenkaaba ku bigambibwa nti baweereddwa obutwa okuyita mu mmere
Okusinzira ku muliranwa Farouk Bagaga atubuulidde nti abantu bataano nga banjo emu bebagudde ku kibambulira
Wabula omukyala ne bba nomwana waabwe asembayo obuto bbo mukama yabasiimatusiza embeera eno newankubadde nabo…
Bya GEORGE EMURON
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Patrick Amuriat Oboi, asobodde okukuba olukungana mu bitundu Bukedea newankubadde tabadde nateekateeka yaayo leero, oluvanyuma lwa poliisi okumukasukira akakebe ka tiyagaasi mu motokaye mu disitulikiti ye Bugiri gyeyabadde ku lugendo olumutuusa e Bukedea.
Amuriat newankubadde tiimu emunonyeza akalulu yabadde erangiridde nga bwatagenda kusobola kunonya kalulu…
Bya Prossy Kisakye,
Ekiwayi kyábavubuka bamusaayi muto mu kibiina kya DP aba Uganda Young Democrats (UYD)bawadde gavumenti ennaku 5 ngemazze okukwata era ekangavule abakuuma ddembe bonna abenyigidde mu bikolwa ebyókutyoboola eddembe lyóbuntu mu kunonya akalulu eri abesimbye okugenda mu maaso.
Kino kidiridde obukambwe bwa bakuuma ddembe obutasalako eri abawagizi ne bannamawulire abasaka amawulire ku bavuganya kuntebbe eyomukulembeze…
Bya Ritah Kemigisa
Gavumenti eriko ambulance zokumazzi ezomulembe zeyanjudde, ezireteddwa okwongera okulongoosa ebyobujanjabi ku mazzi.
Zino zigenda kutekebwa mu district zomu bizinga okuli Kalangala ne Buvuma.
Okusinziira ku muwandiisi owenkalakkalira Dr. Diana Atwine, ambulance zino zakuyamba ba nakabutuzi ababadde bakonkomalira mu bzinga e Kalangala ne Buvuma nebalemerrw nokutuuka mu malwaliro mu budde okusumulukuka.
Ambulance zino 2, zirimu ebyomu ebyomulembe…
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu distulikiti ye Bukomansimbi etandise okunonyereza kungeri abantu gyebatwalidde amateeka mu ngalo, bwebalumbye
amaka ga mutuuze munaabwe nebagatekera omuliro.
Bino bibadde ku kyalo Mizindalo mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi mu maka ga Abubakar Kaketo, nga basoose kwonoona bintu byonna oluvanyuma nebabitekera omuliro.
Ono babadde bamulumiririza nti alina kyamanyi ku nfa ya munaabwe John Malinzi.
Abatuuze…
Bya Damalie Mukhaye
Akutte bendera yekibiina kya NUP ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi amanyiddawa nga Bobi Wine alayidde nti waakugenda mu maaso ne kampeyini ze, mu bitundu okunoonya akalulu okwekungaana ezawamu gyekwaganiddwa.
Kuno kuliko ebibuga Kampala, Mbarara ne disitulikiti Wakiso Masaka, Mukono Tororo, Luwero nendala nga kyakoleddwa okutangira ssenyiga omukambwe COVID-19.
Bino abitegezezza bannamwulire ku kitebbe kyekibiina…
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi ya Uganda ategezezza nga bwetandise ku ntekateeka okuzikulayo omulambo gwomugenzi Francis Senteza abadde amanyiddwa nga Frank, omukuumi wa Robert Kyagulanyi eyafudde ku Sunday
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga mu kiwandiiko kyafulumizza, agambye nti bagala okunonyereza kwabwe kutuuke ku buli nsonga.
Abekibiina kya NUP balumirirzza amagye ge gwanga nti mmotoka yaabwe yeyatomedde Frank nemutta e…
Bya Monitor
Ekitundutundu ku disitulikiti kampeyini gyezayimiriziddw, kizuuse nga buli emu yakafuna abalwadde abali mu 400 mu bbanga eryemyezi 10 ejiyise.
Wabula distulikiti endala kampeyini gyezikyagenda mu maaso, ezimu zirina abalwadde abali mu 500 nokudda waggulu okua ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lwekyakaksibwa mu gwanga mu mwezi gwokusattu.
Ezimu ku zinokoddwayo Kazo mu Bugwanjuba bwe gwanga, Buvuma ne Kayunga…
Bya Ruth Anderah,
Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago addukidde mu kkooti enkulu nga ayagala eyimirize ekiragiro kyákakiiko ke byokulonda ekyókusazaamu kampeyini mu disitulikiti ezisingamu ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Lukwago ekiragiro kya kakiiko kino agamba nti kyaleetedwa mu mutima mubi ne kigendererwa ekyokwagala okulinyirira eddembe lya bannabyabufuzi okukungana naddala mu kaseera kano nga banonya akalulu
Lukwago agamba nti…
