Bya Malikh Fahad
Abatuuze ku byalo ebiri mu gombolola ye Lwebitakuli ne Nakasenyi mu district ye Ssembabule, bali mu kutya oluvanyuma lwokulumbibwa ensolo etanategerekeka.
Ebyalo ebisnze okukosebwa kuliko Kabale, Nakasenyi, Lwebitakuli nebiralala ebyetoloddewo.
Okusinziira ku ssentebbe we kyalo Kabale Elias Mawanda ekisolo kino kyabatanategeera buungi kyavudde mu ttale okubaliumba, nga kati kitta embuzi, endiga nebisolo byabwe biralala.
Agambye nti…
Bya Magembe Sabiiti
Abagoba ba bodaboda mu gombolola ye Kibalinga e Mubende baliko omuvubuka gwebakubye emiggo egimusse, nga bamutebereza okubera omubbi wa bodaboda.
Ssentebe we gombolola ye Kibalinga, Mbonye Vanansiyo ategezezza nga obuttemu buno webubadde mu katawuni ke Lusalira ng’atiddwa tategerekese manya.
Akola nga omuddumizi wa poliisi e Mubende Ssekalema Hassana avumiridde ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo.
Kati poliisi…
Bya Abubaker KirundaOmusajja owemyaka 27 asibiddwa emyaka 14 mu kkomera, olwokugezaako okutunda omwana we owemyaka 8.
Ayoub Ssalongo omutuuze ku kyalo Kigobero mu district ye Bugiri, yasingisddwa omusango guno gweyaza nga 17 mu January wa 2014, okusinziira ku ludda oluwaabi.
Omulamuzi wa kooti enkulu e Jinja Eva Luswata yamuwadde ekibonerzo kino, era nalagira bamusibire mu kkomera lye…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ye Bbuto e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kiira eriko omuwala gweronze, okuva mu kiwonvu mu kasiko nga kigwmabibwa nti waliwo abaamukubye kalifoomu.
Ono ye Joan Nagujja owemyaka 32, nga mutuuze w'e Kasangati mu Buyinja zooni, era mu kiseera kino akumibwa ku poliisi e Bbuto ng'okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Wabula olwazze engulu ng’ali ku poliisi…
Bya Ruth Anderah
Omusajja agambibwa okusobya ku mwana ow’emyaka 16 ng’akimanyi bulungi nti alina akawuka ka ssirimu azeemu nasimbibwa mu kkooti enkulu mu Kampala.
Edeu Moses nate asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo, omwana eyosobezebwako namuwaako obujuliz.
Omwana agambye nti omusajja ono yasooka kumwesibako ngamukwenyakwenya wabulanamugaana, ekyavaamu namukwata namusiiga nakawuka ka mukenya.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuvuannwa ng’awoza…
Bya Juliet Nalwoga, Poliisi eriiko e namba z’esimu z’efulumiza okuwaabibwako emisango gy’obubbi bw’ebigezo ebitandise okukolebwa abayizi olunaku olw’aleero.
Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba newankubadde entadikwa y’ebigezo ebya siniya ey’okuna bitandiise mirembe,abantu basabidwa okukozessa enamba ezibaweredwa okuwaaba emisango gy’abateberezebwa okwenyigira mu kukoppa oba okubba ebigezo.
Enamba ezifulumizidwa poliisi kuliko 0718 946 018 ne 0714 385…
Bya Prossy Kisakye, Abakulembezze b’amawanga eg’enjawulo basabidwa okwongera ku nsimbi ezitekebwa mu ekitongole ky’eby'obulimi okusobola okumalawo ekizibu kye mmere etamala mu bannansi b’amawanga ag’enjawulo.
Bino by’asanguzidwa minister omubeezi ow’eby’obulimi, Christopher Kibazanga bwabadde agulawo olukungana lw’ababaka ba mawanga ga East Africa olukwata ku mmere nendya ennungi .
Okusinziira kwa alipoota y’e kitongole kye kibiina kya mawanga amagatte eky’emmere…
Bya Ivan Ssenabulya
Omusirikale wa poliisi asimattuse okugajambulwa abatuuze, nga bamulanga okubalemesa okukozesa ebibanja byabwe.
Bino bibadde ku kyalo Kirangira mu gomboloola ye Nama mu district ye Mukono, abatuuze bwebakutte omusairikale ategerekeseeko erya Kakaire nebamukuba empi, nebamugalira nemu nnyumba y’omutuuze.
Bino byekuuse ku nayana ze ttaka omugagga Diika Banooba, lyeyagobako abatuuze ngagamba nti lirye.
Kinajjukirwa nti omukulmbeze w egwanga…
Bya Joel Kaguta
Abaana ababadde balaindiridde okukola ebigezo bya P7 2, bafiridde mu namutikwa wenkuba akedde okutonnya, nayigukulula ne ttaka ku kyalo Kyambarwa mu gmobolola ye Mahango mu district ye Kasese.
Ssentbbe we gombolola eno Eric Maathu Muhasa ategezezza bannaffe aba Daily Monitor nti abagenzi kubaddeko Winnie Biira owemyaka 18 ne Patience Kabugho owemyaka 15.
Agambye nti waliwo…
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala eragidde poliisi okukwata omukazi, agambibwa nti akyagaanye okujja mu kooti okuwa obujulizi ku mwana we owemyaka 9 gwebasobyako.
Omulamuzi Jane Frances Abodo yeyasizza ekiragiro kino oluvanyuma lwoludda oluwaabi, okutegeeza nti maama Regina Nangendo mu bugenderevu agaanye okujja mu kooti okuwa obujulizi.
Omulamuzi era yalagidde nakulira essomero lya Makindye Millitary P/S okuleeta…
