Bya Damalie Mukhaye
Poliisi mu district ye Rubanda eriko omusajja owemyaka 35 gwegalidde ku misango gyokubbanga embuzi zabatuze.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Elly Maate agambye nti omukwate ye Godfrey Biryabarema ngabadde amanyiddwa nga money lender, ataasa abantu okubawola ssente mu kabuga ke Hamurwa.
Poliisi egamba nti oluvanyuma lwokwemulugunya kwabantu, baamulondodde era nebamugwako mu kasiko wabaddenga…
Bya Ruth Anderah
Omuvubuka owemyaka 15 asindikiddwa mu kkomera lyabaana erya Kampiringisa Rehabilitation Centre, yebakeyo emyezi 2 olwokubbanga solar za KCCA ku matala gokunguudo.
Omwana ono asimbiddwa mu maaso gomulamuzi we daala erisooka mu kooti ya City Hall Valerian Tuhimbise, era nakirza omusango ogumusomeddwa.
Omulamuzi agambye nti amuberedde wa kisa kubang akirza omusango, ateng okwenyigira mu bubbi buno…
Bya Prosy Kisakye
Ab’ekibiina kya UPC olwaleero bategese omusomo, gwokujukira eyaliko omukulembeze we gwanga era presidenti wekibiina kino Dr. Apollo Milton Obote.
Obote ajjukirwa nnyo nga taata we gwanga, mu biseera byokulwanirira obwetwaze, mu 1962.
Akulira ebyamwulire ku kitebbe kyekibiina Faizo Muzeyi, agambye nti mu musomo guno balubiridde okujukira ebintu ebirungi omugenzi byeyakolera egwanga.
Agambye nti gavana we ssaza…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi y'e Nabweru ekutte omukazi agambibwa okuyonsanga abaana ba baliraanwa be, atenga alina akawuka ka mukenenya.
Omukwate ye Sharon Muhindo nga mutuuze w'e Nabweru South, nga yakwatiddwa oluvannyuma lw’abatuuze okumwemulugunyako nga bwabadde aludde ng'ayonsa abaana baabwe.
Kiddiridde okumusanga lubona ng'aliko omwana wa munne gwayonsa.
Ekisinze okuggya abatuuze mu mbeera, kwe kutwala omu ku baana beyabadde ayonsa…
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu gombolola ye Matete mu district ye Sembabule etandise okunonyereza, ku batamanya ngamba abalumbye ekyalo nebabba abatuuze obutabalekera kantu.
Obubbi buno bubadde ku kyalo Kitagabana ngokusinga babbye birime ngemwanyi, ebisolo byabatuuze nebintu eboiralala ebikalu.
Abamu ku bakoseddwa kubaddeko Paul Kaddu, Bosco Ssekanjako nabalala.
Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obwagagavu bwe Masaka Paul Kangave akaksizza…
Bya Sadat Mbogo
Abatuuze ababadde abakaawu ku kyalo Kaalo mu gombolola y'e Bulo mu district y'e Butambala bakkidde omusajja owemyaka 37 nebamutta oluvannyuma lw'okumusanga n'obumyu 6, obubadde bugambibw aokubeera obubbe.
Omugenzi ategerekese nga ye Herman Mukwaya omutuuze mu district ye Kayunga mu Bugerere.
Okutibwa kigambibwa nti yasangiddwa lubona ngatwala obumyu bw'omu ku batuuze, nebatandikirawo okumukuba okutuusa lwassizza ogwenkomerero.
Oluvanyuma…
Bya Abubaker Kirunda
Amasasi gatokose okukira akatogo ku kyalo Wandago B mu tawuni kanso ye Magamaga, mu district ye Mayuge poliisi bwebadde etaasa omusajja abatuuze gwebababdde bagala okugajambula, nga bamulumiriza obulogo.
Abatuuze okutabanguka babadde mu lukiiko olubadde lukubirizibwa omumyuka womubakanwa gavumenti e Mayuge Emma Mitala.
Abatuuze babadde bagala omusajja ono abaviire ku kyalo nga bamulumiriza nti yanadiba nga…
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi be Kabojja mu tawuni kanso ye Kyengera bavadde mu mbeera nebekalakaasa, nga bawkanaya embeera yoluguudo embi.
Bano bawakaanya embeera yoluguudo lwe Masaka olukadde oluva e Nateete okugatta ku Kasanje.
Bagamba nti balulagajjalidde nnyo okuva mu mwaka gwa 2008, waddenga omukulembeze we gwanga yalagira baludabirize.
Omusasi waffe Steven Mbidde eno gyali era atubuliidde nti abatuuze basibye…
Bya Shamimu Nateebwa, Ministry y'eby'obulamu evudeeyo netangazza ku kigendererwa ky'okugemessa abaana mu kugema okwekikuggu okugenda okutandiika olunaku lwenkya.
Uganda erimuntekanteeka zokugema abaana abasoba mu bukadde 18 ekilwadde kya mulangira ne Rubella nga byebitundu 43% ebya baana be gwanga lino ,okugema kutandiika 16th- 20th October.
Minister webyobulamu Dr Jane Acheng, ategezezza nga egwanga bwelyalumbibwa ekilwadde mulangiira ne Rubella…
Bya Prossy Kisakye, Ssenkagale w’ekibiina kya DP Norbert Mao mu butongole alangiridde nti waakuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa bonna okwa 2021 ssinga banne bwe bavuganya, banalemererwa okukaanya okusimbawo omuntu omu.
Bino abitegezezza bannamwulire ku kitebbe ky’ekeibiina mu Kampala, ng’agambye nti aba DP Bloc babadde bagezezaako okuteseganya ne bannabwe bwe bavuganya gavumenti, wabula nga abasinga…
