Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Sijja kuwaayo bukulembeze bwa IPOD- Mao

Bya Prossy Kisakye Kisakye, Omukulembeze wa Democratic Party Norbert Mao ategeezezza nga bwatagenda kuwaayo bukulenmbezze bwa IPOD eri ekibiina kya Forum for Democratic Change  okuleka nga bafunye olutuula ne bamalaawo obutakanya kunsonga ezimu . Bwabadde ayogerako mu lukungana  lwa bannamawulire Mao agambye nti ye talina buzibu kuwaayo buyinza eri aba FDC wabula kino kyakubaawo oluvanyuma lwa…

Read More

Ow’ekitongole kyamakomera bamubbyeko emmundu ngali ku ssimu

Bya Sadat Mbogo Poliisi mu district ye Mpigi etandise okunonyereza kungeri, abanntu abatanategerekeka gyebalumbyemu omukuumi wekitongole kyamakomera nebamubbako emmundu, kika kya AK-47. Okusinziira ku poliisi, omukuumi Hadijah Katono bamubbyeko emmundu wakati mu nkuba eyabadde etonnya bweyabadde akuuma abasibe wali mu tawuni kanso ye Mpigi. Kati omuddumizi wa poliisi e Mpigi Joan Wabwire, agambye nti okunonyereza kwabwe kulaga nti,…

Read More

Abayizi be Makerere 15 bakwatiddwa

Bya Damalie Mukhaye Abayizi be Makerere abawala 15 bakwatiddwa, bwebabadde bekalakaasa nga bawakanya enyongeza yesbisale eyebitundu 15%. olukiiko olwokuntikko oluddukanya ettendekero olwa university lwayisa enyongeza eno ku buli mwaka. bano nga bakulembeddwamu omumyuka wa President waabwe Judith Nalukwago babadde betadde mu ddene okwolekera ku wofiisi yomukulembeze we gwanga, okutuusayo okwemulugunya kwabwe. Bano abasirikale ba poliisi nabakakanya obujagalalo, babaguddemu nebabuna…

Read More

Abantu 7 bafiridde mu kabenje Jinja

Bya Abubaker Kirunda Poliisis ekakasizza nti abantu 7 bebafiridde mu kabenje ddeabusa akagudde e Jinja mu kiro ekikesezza olwaleero. Akabenje kano kagudde ku kualo Igombe mu gombolola ye Buwenge ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala. Akabenje kano kabaddemu emmotoka kika kya kabangali namba UBA 996/Z bwesabadde abantu bayoola ebikajjo, nga wabadde wakabaawo emmotoka endala namba UAK…

Read More

Omusajja atemyeko omwanawe omutwe-Kiruhura

Bya Juliet Nalwoga, Poliisi mu bitundu by’e Kazo, mu disitulikiti y’e Kiruhura eri ku muyiggo gw’omusajja Jonathan Magara agambibwa okutemako omutwe gw’omwana ow’emyaka 7 n’abulawo nagwo. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti obutemu buno bwakoledwa ku kyalo Kashongi  mu district ye Kiruhura omugenzi Ephraim Muzafura bweyabadde kyaliddeko Magara okumusaba batambulemu mu budde obw’akawungeezi. Ekiwunduwundu…

Read More

Poliisi erabudde kunkozesa y’emmundu

Bya Juliet Nalwoga, BannaUganda balabudwa ku nkozesa y’emmundu nga tebafunye kubangulwa. Okulabula kuno kukoledwa ssekamwa wa police mu ggwanga Fred Enanga oluvanyuma lwo’kufa kwa Ali abdu Jabar eyakubidwa amasasi bweyabadde agenze okukyalira mukyalawe mu ddwaliro eyabadde yakazaala ku ddwaliro lya Kampala Independent Hospital e Ntinda kunjegoyego z’ekibuga mukampala. Police evudeyo n'evumirila obulagajavu ku nkozesa y’emmundu nga bafuna…

Read More

Eyasobya ku mwana ayagala bigwere bweru wa kkooti

Bya Ruth Anderah, Omusajja ow'emyaka 28 asabye kkooti enkulu mu Kampala emuteeke mu nkola eya puli bageyini oluvanyuma lw'okusobya ku mwana ow'emyaka mwenda. Othieno Michael bino abyogedde oluvanyuma lw'okusimbibwa mu kkooti enkulu mu Kampala era nalaba abajulizi omuli n'omwana gwe yatusaako eby’ensonyi. Omulamuzi Jane Frances Abodo akkiriza okusaba kwa Othieno era namuwa obudde ateseganye n'oludda oluwaabi ku…

Read More

Bannakyewa basabye gavumenti evve kunsimbi z’amafuta

Bya Prossy Kisakye, Ebibiina by’obwannakyewa bisabye gavumenti esuule mu kaseero ekirowoozo eky’okwagala okugya ensimbi obuwumbi 450 okuva mu nsawo ya mafuta Ng’ayogerako ne bannamawulire mu Kampala akulira ekibiina ki Transparency International Peter Wandera agamba nti entekateeka eno ekontana netteeka eryayisibwa mu 2015 erya Public Finance Management Act nga lino lirambika bulungi engeri ensimbi eziva mu mafuta…

Read More

Abazigu basse ssemaka na b’omu nnyumbaye babiri

Bya Malikh Fahad Poliisi mu district ye Lyantonde etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku bantu 3 abafamire emu, bwe bakubiddwa amasasi agabasse. Bino bibadde mu kabuga ke Kaliro mu kiro ekikesezza olwaleero abakwata mmundu, era abatamanya ngamba bwebalumbye amaka gomutuuze Moses Lwabagabo, nebamutta ne mukyala we Cellen Nyakato. Omulala afiridde mu bulumbaganyi buno ye Leokadia Kizza, muganda wabadde omukyala…

Read More

Omusomesa agudde mu mata naafa

Bya Damalie Mukhaye Poliisi mu district ye Kisoro etandise okunonyereza ku nfa y’omusomesa mu itundu ekyo, nga kigambibwa nti yadudde mu mata agatokota nafirawo. Omugenzi ye Edison Bwiringiro omutuuze ku kyalo Kibumba mu gombolola ye Murora, ngabadde musomesa ku ssomero lya Katojo Modern preparatory school. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Elly Maate agambye nti ono mu…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play