Bya Ruth Anderah, Omusajja ow’emyaka 30 asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike okuwerenemba n’omusango gw’okusobya ku mwana ow’emyaka 4 gyoka ng’amuyita mu kamwa.
Kino kidiridde Ssabawaabi wa Government Mike Chibita okuwereza ekiwandiko ekiraga nti okunonyereza kwa police mu musango guno kuwedde.
Kabenge Saadi omutuuze we Kirinya Bukasa, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Joan Aciro amusindise mu kkomera…
Bya Prossy Kisakye, Abayizi ku ttendekero e Makerere balayidde nti bakugenda mu maaso n’okwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulira ettendekero lino okwongeza ebisaale ne bitundu 15%
Abayizi abasoba 45 abaakwatibwa mu kwekalakaasa okwatandika ku lunaku lw’ebbaza olunaku lw’eggulo baayimbuddwa okuva mu budukulu bwa poliisi obw’enjawulo ku beyilo oluvanyuma lw’okugulwako emisango gy’okukunga abayizi okwekalakaasa n’okwonoona ebintu
Bano nga bakulembedwa abakulira…
Bya Abubaker Kirunda, Abavubi mu disitulikiti ye Namayingo batendereza govt okusindika amaggye ga updf okulwanyisae envuba embi kunyanja.
Bano bagamba nti mu kusooka baalaba endowooza eno ng’etaari nnungi wabula kati batandise okulaba kubibala olwebyenyanja okweyongera obungi.
Sentebe wa Maninga beach management unit Vincent Ouma agamba nti govt esanye eyongere okuwa obudde ne bikozesebwa eggye lya updf lisobole okugenda…
Bya Prossy Kisakye, Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Jacob Oulanyah atendereza eddwaliro lya gavumenti erya Lalogi Health Centre IV olw’okukola enyo okumalawo ekizibu kya bakyala abafiira mu sanya mu disitulikiti y’e Omoro
Bino yabyogedde awaayo mama kit 300 ne bikozesebwa oluvanyuma lw’okuzaala ebibalirwamu obukadde 60 ku ddwaliro lya Lalogi Health Centre 1V erisangibwa mu…
Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekivunanyizibwa ku ntebereza y’embeera y’obudde ki Uganda National Meteorological Authority kirabudde kunnamutikwa w’enkuba esuubirwa okutonya ng’erimu n’okubwatuka okumala ennaku taano.
Okulabula kuno wekugidde ng’ebitundu b’eggwanga ebyenjawulo bifuna enkuba ey’amaanyi eresse ng’ebirime n’amayumba g’abantu bisanyizibwawo.
Mu kiwandiiko ekifulumizibwa akolanga senkulu w’ekitongole kino Paul Isabirye agamba nti embeera eno etandika lunaku lw’aleero okutuusa ku lunaku…
Bya Ruth Anderah
Abayizi ku ttendekero e Makerere baddukidde mu kooti ya Buganda Road nga bagala ekake, poliisi eyimbule banaabwe 46 abagaliddwa e Wandegeya babayimbule.
Bano bebazze bakwatibwa okuva okwekalakaasa lwekwatandika ku Lowkubiri, nga bawakanya enyongeza eyebitundu 15% ku bisale.
Okuddukira mu kooti babadde bakulembeddwamu omumyuka womukulu wabayizi Judith Naluwago, era bagamba nti ennaku 48 zaaweddeko nga bagaliddwa…
Bya Shamimu Nateebwa, Ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ki Human Rights Awareness and Promotion Forum basaba minisitule y’eby’obulamu okusaawo enkola enambulukufu enagobererwa mu kulongoosa abaana bazaalibwa n’ebitundu ebitakwatagana nakikula kya mibiri gyabwe kikendezze ku baana abalongosebwa nga tebanatuuka myaka gyesalirawo.
Mu kwogerako eri bannamawulire mu kutongoza alipoota eyakoledwa okulondoola embeera z’abantu bano ze bawangaliramu ey’omwaka 2019 akulira…
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu ekkiriza Omusinga w’e Rwenzururu Charles Wesley Mumbere, agende ebweru w’eggwanga okulongosebwa amaaso.
Omulamuzi Margaret Oguli Oumo amulagidde okweyanjulanga ku kitebe kya bambega, buli lwa bbalaza olusooka mu mwezi wabula amugaanye okugenda e Kasese.
Ku nsonga z’eby’okwerinda mu maka g’omusinga, omulamuzi agambye nti buvunyizibwa bwa gavumenti okusalawo eby’okwerinda ebimugwana.…
Bya Prossy Kisakye, Eyaliko senkagale w’ekibiina kya FDC, Dr. Kizza Besigye ategeezeza nga bwebali muntekateeka ez’okutuuza olukungana tabamiruka olugenderedde okukubaganya ebirowoozo na bakwatibwako ensonga ezigenda mu maaso mu ggwanga kko ne bannauganda okutwaliza awamu n’oluvanyuma bateme empenda ez’okuzisalira amagezi
Bino abyogeredde mu lukungana lwa bannamawulire lwatuuziza mu kampala nalaga obwenyamivu olwobutali bwenkanya obugenda mu…
Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko akalondoola ebiweerezebwa ku mpeewo mu ggwanga lino kategeezezza nga bwe kali muntekateeka ez’okujaako amasimu gonna agatatukagana n’amutindo okwetoloola eggwanga nga kino kisubirwa okubaawo wakati wemyezi 5-6 egyijja.
Kino kyasanguzidwa akulira akakiiko kano Eng Godfrey Mutabazi mu lukugaana lwa ministry ya techinologiya olwa buli mwaka olutudde wano Mu Kampala.
Mutabaazi…
