Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Enyumba ya saabakiristu bagyocezza lwa bulogo

Bya Sadat Mbogo Poliisi mu district y'e Mpigi ekutte abantu 4 abagambibwa nti bakkakanye ku nnyumba ya Ssaabakristu nebajikumako, nga balumiriza bbaawe okweyenyigira mu bikolwa bya kalogo kalenzi. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Katonga Joseph Tulya, abakwate bayokezza ennyumba ya Ssaabakristu Specioza Birabwa ow'ekisomesa ky'e Kanyike ku kyalo Lunyerere mu ggombolola y'e Kammengo. Kigambibwa nti…

Read More

Agambibwa okubba egaali yetugidde mu kaddukulu

Bya Abubaker Kirunda Omusajja abadde ateberezebwa okubba eggaali yetugidde mu kaddukulu ka poliisi mu district ye Iganga. Omugenzi ye John Nsoone nga basanze omulambo gwe gulenjejjera ku kasolya ka poliisi ye Kawete mu gombolola ye Namungalwe. Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akaksizza nti ono abadde awerenmeba nemisango egyokubba eggaali ku kyalo Bugono mu gombolola ye Nambale,…

Read More

Abaana 3 bafiridde mu kubumbulukuka kwe ttaka e Kasese

Bya Benjamin Jumbe Ekitongole kya Uganda redcross kizudde ebiralala ebikwata ku baana 3 abafiridde mu ubumbulukuka kwe ttaka, mu district ye Kasese. Abagenzi kuliko Masereka John, Weasly Muhindo ne Derrick Baluku nga baana ba Modesto Masereka owemyaka 40 ne Biira Stella bwebakubiddwa enyumba bwebabadde wakati mu namutikwa wenkuba.Enjega eno ebadde mu division ye Bulembia mu kiwonvu kye…

Read More

Kabaka alabudde ku kusanawo kw’obutonde bwensi

Bya Ivan Ssenabulya Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, akatyabaga kenkyukakyuka y’obudde nokusanawo kwobutonde bwensi akaitadde ku kuseraba kwobuntu bulamu mu bitundu. Bino bibadde mu bubaka bwe obumusomesswa Maama Nnabagereka Sylvia Nagginda mu lukungaana olwe nnaku 2 olubadde lukwata ku buttoned bwensi, olubumbujidde mu kibuga Accra mu gwanga lya Ghana. Agambye nti mu mpisa eyobuntu…

Read More

Eyatta Mowzey Radio bamusibye emyaka 14

Bya Ruth Anderah Omulamuzi wa kooti enkulu Entebbe awadde Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy ekibonerezo kyakusibwa emyaka 13, emyezi ne nnaku 26 olwokutta omuyimbi Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowzey Radio. Omulamuzi Jane Frances Abodo abadde amuwadde ekibonerezo kya myaka 14 wabula namujirako omwaka 1 nemyezi 8 ne nnaku 26, ebbanga lyabadde amaze ku alimanda. Agambye nti yatunuliidde…

Read More

Ebintu bya Were babikumyeko omuliro

Bya Ivan Ssenabulya ne Steohn Mbidde Abayizi ku ttendekero lye Makerere balumbye ekisulo kyeyali omukulu wabayizi, nebajjayo obuntu bwe nebabutekera omuliro. Papa Were Salim munnakibiina kya FDC betekedde obuntu bwe okubadde TV, omufaliso ebifananyi nebiralala omuliro nga bamulumiriza okubeera omuli wenkwe. Abayizi bano era basobodde okufuluma ettendekero, nga babadde baliko sanduuko yabafu gyebakutte nebolekera mu Kikoni. Enyongeza eyebitundu 15%…

Read More

Ow’emyaka 42 asobezza ku muwala we

Bya Abubaker Kirunda Poliisi mu district ye Bugweri eriko omusajja owemyaka 42 gwegalidde nga kigambibwa nti yasobezza ku mwana wa muganda we. Omukwate mutuuze ku kyalo Nakibembe mu gombolola ye Ibulanku, nga kigambibwa nti teyakoma awo yatikka ne kawale ke kano akemyaka 13 olubuto. Omuddumizi wa poliisi e Bugweri John Nkundizana akakasizza okukwatibwa kwomusajja ono. Kati agambye nti bagenda…

Read More

Omwana afiridde mu kabuyonjo

Bya Abubaker Kirunda Omwana omulenzi owemyaka 3 agudde mu kabuyonjo nafirawo. Enjega eno ebadde ku kyalo Baitambogwe mu ditrict ye Mayuge. Ssentebbe we kyalo Sulaiman Wandera agambye nti omugenzi ye Patrick Kaziba, ngabadde yajja ne maama we okukyalira jajja we mu kitundu kino. Poliisi enyuluddeyo omulambo guno negutwalibw amu gwanika okwongera okwekebejebwa. Wano alabudde abatuuze ku kulekanga zzi kabuyonjo anga…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play