Bya SIMON PETER EMWAMU Amataba gagotanyizza ebigezo by’akamalirizo eby’ekibiina eky'omusavu mu disitulikiti okuli Katakwi, Kapelebyong n’ebitundu ebimu ebya Bukedea
Kino kiviriddeko masomero mu disitulikiti zino okutandika ebigezo ekikeerezi. Samson Okare Olaki,akolanga akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Kapelebyong atubuulidde nti ebigezo bituuse ekikeerezi mu bitundu bye Okoboi olw’engundo embi.
Ono ategeezeza nga…
Bya Prossy Kisakye, Poliisi y’e Nakyessa mu gombolola y’e Kayonza mu disitulikiti y’e Kayunga ekutte omusajja ow’emyaka 40 ku bigambibwa nti yasobeza ku bawalabe 2.
Kitegerekese nti omwana omu wamyaka 2 ate omulala w’amyaka 7, nga maama w’abaana bano Hasifa Penina yabadde agenze mu nnimiro
Penina anyonyodde nti yagenze okudda nga bamugamba nti bba atute baana bagulira…
Bya Sadat Mbogo
Abantu mu Zone y'e Wakimese mu town council y'e Kyengera mu district y'e Wakiso baguddemu ekyekango, bwebafunye amawulire g'okuttibwa kwa munnaabwe.
Omugenzi kigambibwa nti eyamusse yasoose kumukabasanya, oluvannyuma n'amuyiira amazzi agooca n'amufumitafumita ebiti mu bitundu bye byekyama.
Omugenzi ye Norine Nalubega ngabadde atemera mu myaka 18, era abadde mufumbi wa caayi n'obuugi mu kitundu, nga…
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku mwalo gwe Nairobi ku kyalo Nakalyango, mu gombolola ye Malongo omuvubuka owemyaka 18, bwagudde mu Nyanja Nalubaale nafa.
Omugenzi ye Julius Pamba ngabadde mutuuze mu kitundu kino, wabula okugwa mu Nyanja kigamabibwa nti abadde anaaba.
Ono ye muntu owokusatu okugwa mu Nyanja Nalubaale, mu bbanga erya wiiki emu.
Omwogezi wa poliisi mu…
BYA FELIX AINEBYOONA
Poliisi mu district ye Mbarara eriko omukazi nakampaate gwegalidde owemyaka 28 nga kigambibwa nti yakidde bbaawe namutta.
Okuysinziira ku mwogezi wa poliisi ki kitundu kya Rwizi Samson Kasasira, omukwate ye Faridah Nakayuwa Grace, ngabadde mukyala wa Abel Gava.
Bano baafunye oluyombo ku ntandikwa yomwezi guno nga 1 Novemba, omukazi najjayo ekyambe atematema omusajja okutuusa lweyasizza ogwenkomerero.
Kasasira…
Bya Damalie Mukhaye ne Juliet Nalwoga
Abayizi ebekyomusanvu, olwaleero bagenda kutandika ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebyomwaka guno 2019.
Bino byebigezo ebyakamlirizo ebyomulundi ogwokubiri, ngebyasooka byali bya S4 era bikyagenda mu maaso.
Ssabawandiisi wekitongole kyebigezi mu gwanga ekya Uganda National Examinations Board Daniel Odongo atubuliidde nti abayizi emitwalo 69 nekitundu bebewnadiisa era bebasubirwa okutuula ebigezo bino, mu bifo omutwalo 1…
Bya Prossy Kisakye, eggye ekuuma byalo erya LDU ettabi lye Entebbe eririko abakulembeze babamenyi bamateeka 2 ababadde batigomya ebitundu by’e Entebbe bebatadeko obunyogoga.
Maj. Bilal Katamba omwogezi wa LDU abakwate ategezeza nti kuliko Charles terminal owemyaka 30, ne Joseph Mawanda.
Terminal yakwatibwa mu bitundu by’e Lumuli Makandwa ate Mawanda baamukwatidde ku baitaababiri e Entebbe nga bali…
Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole kya Uganda wildlife Conservation education centre, ekimanyidwa nga Zoo kitongoza olunaku lw’eZzike eryaliliyitibwa Zakayo.
Zakayo lye Zzike eryali lisinga obukulu mu mazike wano mu ggwanga wabula lyafa mu mwaka oguwedde nga liweza egyobukulu 54.
Zakayo ajjukirwanyo olw’okuleeta abalambuzi abangi okuva munsi yonna.
Bweyabadde ayogerera mu kutongoza olunaku olw’okujukirirako zakayo akulira ekitongole kino Dr James…
Bya Prossy Kisakye, Abasuubuzi abakalabiza emirimu gyabwe ku mwala gwe Nakivubo okuliraana ewa Kiseka mu Kampala balajanidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okubataasa obutagobebwa mu kifo kino
Olunaku lw’eggulo abasubuuzi bano baliko ekiwandiko kye bagudeko nga kyawandikibwa omuggaga w’omu kampala John bosco Muwonge eri ekitongole kya KCCA ng’ayagala abasuubuzi bano balekere awo okukolerawo.
Bano nga bakulembedwamu Isaac Mulumba…
Bya Malikh Fahad
Omusajja asimattuse okutibwa abatuuze mu gombolola ye Kibinge mu district ye Bukomansimbi olwokubba embizzi.
Ayise ku lugwanyu okufa ye Frank Sseluwu owemyaka 25, nga mutuuze ku kyalo Butayunja ngamukozi wa lejja lejja, wabulanga wetwogerera anyiga biwundu mu ddwaliro lya Butenga health center IV, abatuuze bwebamusazeeko amakugu.
Ssentebbe we gombolola ye Kibinge, Sowedi Sserwadda agambye nti obumenyi…
