Bya Ivan Ssenabulya
Okuwuliriza omusango gwabantu 6 abaakwatibwa ku misango gy’obutemu kutandise mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi.
Abavunanwa kuliko Ssebuyungo Wilber ng’olumu yeyita Sonko Owen, Wamala Mohammed eyeyita Vincent Bob, Lutwama James, Semwanga Kizza Fred, Kibuuka Joseph Jr. ne Walakira Isa, nga bawerenneba na misango gya butemu n'okukukusa abantu okubasaddaaka. bano bonna…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Kabale etubidde nomulambo gomukazi ogwasangiddwa nga gutenjejjera ku mugga Kiruruma.
Omulambo guno gwasangiddwa ku kyalo Kamirongo mu gombolola ye Maziba mu district ye Kabale, nga gwamukazi wabulanga teguliiko bimwogerako.
Owmogezi wa poliisi mu kitundu Eli Matte agambye nti omugenzi alabika atemera mu myaka 30, nga yabadde ayambadde ekitende ekya kitaka ne brouse eya…
Bya Ritah Kemigisa, Damalie Mukhaye ne Prosy Kisakye
Minisita owebyenjigiriza nemizannyo Janet kataaha Museveni okwegugunga ku ttendekero e Makerere akitadde ku nguzi, mu bantu abamu bagamba nti bebaseesa mu mbeera eno okusobola okuyisaawo ebigendererwa byabwe ngabantu.
Mu bbaluwa gyawandiise olwaleero, Kataaha Museveni agambye nti okwekalakaasa kuno tekwetagisa kubanga abayizi bennyini betaba mu ntekateeka yokuyisa enyongeza eyebitundu 15…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Iganga eriko okuziiika kweyimirizza, nga kigambibw anti omugenzi yatiddwa baluganda lwe.
Omugezi ye Ismail Waiswa owemyaka 36 ngabadde mutuuze mu gombolola ye Nabitende.
Okusinziira ku mudumizi wa poliisi mu district ye Iganga David Willis Ndaula, ono baamutugira mu masuuka wabula abenganda babadde banguyirizaako okumuziika.
Omugenzi abadde musiraamu wabula babadde bamutadde mu keesi, ekyaletedde nabatuuze okwemulugunya…
Bya Juliet Nalwoga ne Damali Mukhaye, Police eriko abantu beelumirizza okukulemberamu okwekalakaasa kw’abayizi ku ssetendekeero e Makeerere .
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi mu masekati ga Kampala, ssekamwawa poliisi Fred Enanga, ategezezza nga bwe balina amawulire gonna ku basa ensimbi mu kwediima kw’abayizi kuno .
Enanga ategezezza ng’abantu 7 abatali bayizi abakwatidwa amaggye ssabiiti…
Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti y’e Rukungiriis etandise okunonyereza kunfa y’omusajja ategerekese nga James Rwitamanzi owemyaka 38 agambibwa okuba nti yattiddwa mu kulwanagana olwomukazi
Omugenzi abadde mutuuze we Bikunyuin mugombolola ye Ruhinda nga kigambibwa nti yattiddwa William Owakubriho owemyaka 41.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Elly Matte, atubulidde nti omugenzi neyamusse babadde baganza omukazi omu ategerekese…
Bya Prossy Kisakye, Minisita wa Kampala nemirirano , Betty Kamya asabye abagoba ba taxi ku siteegi y'e Entebbe mu paaka enkadde okusenguka bagenda mu paaka ya Usafi nga tebawalirizidwa
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala Kamya agambye nti ekitongole kya KCCA kirina enteekateeka ez’okukulakulanya paaka enkadde eranga taxi zonna zirina okuvaamu okusobozesa omulimo guno okugenda mu…
Bya Ruth Anderah
Okutandika okuwulira omusango gw'omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, nate tekugenze mu maaso oluvanyuma lw'omu ku bavunaanwa obutaberawo.
Kino kidiridde omu kubannamateeka babavunanwa Samuel Muyizzi, okutegeeza kooti nti omuntu we David Lule taliiwo mulwadde.
Kati omulamuzi omusango nagwongezaayo okutukira ddala nga 12 Decemba 2019.
Bobi Wine avunanibwa okujemera ebiragiro…
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu Entebbe yejerezza Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy emisango gyobutemu, wabula nebamusngisa ogwokutta omuyimbi
Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowezey Radio, mu butali bugenderevu.
Omulamuzi abadde mu mitambo gyomusango guno Jane Frances Abodo alamudde nti, omuvunanwa Troy teyali kigendererwa ekyokutta omugenzi kubanga 2 bano basooka na kunyumirwa mu baala mwebaali.
Omulamuzi agambye nti okufa kwa…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Kaliro eriko ateberezebwa okubeera omubbi gwekubye amasasai agamusse.
Ono bamutidde mu kisenyi kye Natwana ku luguudo oluva e Kaliro okudda e Buwenge mu tawuni kanso ye Kaliro.
Omuddumizi wa poliisi mu district ye Kaliro David Kamwoya agambye nti omusajja ono ne banne abalala 3, babadde batadde road block mu kitundu kino…
