Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abayizi be Makerere 10 bakwatiddwa

Bya Damalie Mukhaye Poliisi namagye balemesezza abyizi be Makerere okwekalakaasa kwebabadde batandise, nate olwaleero okuwakanya enyongeza eyebitundu 15% ku bisale. Abayizi babadde bazeemu okugobagana ne poliisi, mu lunnaku olwokusattu, bwebalumbye ebisulo nebibiina nga bagobayo banaabwe begatte ku kegugungo. Wabula poliisi ebanguyidde era abayizi 10 bebakwatiddwa embeera nedda mu nteeko, ngomugatte abayizi 47 bebakakwatibwa okuva obwegungo buno butandika ku…

Read More

Omukazi yesse naleka abaana 5

Bya Sadat Mbogo Ensasagge egudde ku kyalo Maya mu town council y'e Kyengera mu district y'e Wakiso, maama ow'abaana 5 bweyesse. Okusinziira ku bba womugenzi ategeerekeseeko erya Mutebi, mukyala we Allen Nakaggwa nga kigambibwa nti yeesaze mu bulago n'ejjirita okukkakana ngafudde. Kati poliisi y'e Nsangi emukutte ayambeko mukunonyereza, wabula yye agambye nti omugenzi abadde atera okugwamu akazoole. Omulambo gutwaliddwa…

Read More

Abaana b’okunguudo basse omusirikale

Bya Abubaker Kirunda Poliisi e Jinja etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku musirikale waayo, abaana boku nguudo bwebamukakanyeko nebamutematema nebamutta. Omugenzi ye George Tanga ngabadde akuuma ku poliisi mu paaka ya taxi e Jinja, wbula kigambibw anti aliko abaan beyakutte nemitayimbwa egigambibwa okubeera emibbe. Eno bweyabatutte mu kaddukulu, omu ku baana yabadde ne jambiya namwqefuliira nebamutematema nebamutta. Kati omubaka…

Read More

Abayizi abasoba mu 30 bakwatibwa e Makerere

Bya Damali Mukhaye, Abayizi abasoba mu 30 okuva ku Ssetendekero wa Makerere be bakwatiddwa Poliisi ng'eyambibwako aba-miritale. Mu bakwatiddwa kuliko n’omukulembezze waabwe Munnakisinde kya People Power Julius Kateregga,kwossa n’abayizi abali ku mwaka gwabwe ogw’okubiri. Bano baky’ekalakaasa olw'abakulira ettendekero lino okwongeza ebisale kye bagamba nti si kyabwenkyanya. Poliisi ewalirizidwa okuba omukka ogubalagala mu bbanga okusobola okukakanya abayizi abafulumye university…

Read More

Poliisi e Kabale etandise okunonyereza ku butemu

Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu bitundu by’e Kabale ebakanye n’okunonyerezza ku butemu obw’akoledwa ku musajja ow’emyaka 27 ategerekesse nga, Asiimwe Ambrose. Omugenzi y’abadde akulira edduuka lya Simba Telecom e kabale ng’abadde mutuuze w’e Kinyu-Butobere mu tawuni y’e Kabale. Kigambibwa nti ono yabuze lunaku lwajjo n’oluvanyuma omulambo gwe gwasangibwa ku lugundo lwa Kisiz-Nyakishenyi road, nga gujudde ebiwundu nga…

Read More

Poliisi yalemereddwa okutuuka ku kizinga ekyakutte omuliro

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi eriko ekibinja kyabaddukirize, besindise ku kiznga kye Luwero ekyesudde okuva ku kiznga ekyawamu mu ditrict ye Buvuma okwetegereza embeera. Eno wabaddeyo omuliro nabbambula, mu kiro bekikesezza olwaleero omfiridde abantu abaewerako batanaba kukaksibwa na muwendo. Poliisi etegezezza nga bwetasbodde okutuuka ku kiznga kino mu budde, kubanga kiri wala nnyo. Kati akulira poliisi eddukirira nokuzikiriza omuliro, Joseph…

Read More

Okwekalakaasa e Makerere kuyingidde olunaku olwokubiri

Bya Damalie Mukhaye Emirimu gisanyaladde ku ttendekero ekkulu mu gwanga, nate abayizi bwebatanudde okwekalakaasa mu lunnaku olwokubiri. Abayizi e Makerere bawakanya enyongeza eyebitundu 15%, ku bisale, eyaysibwa olukiiko olwokunyikko olwa University Council, omwaka oguwedde. Olwaleero okwekalakaasa kutandikidde ku Mitchel hall, nekubuna wonnna. Wetwogerera ngabakuuma ddebe okuli abamagye, aba LDU ne poliisi bayiriddwa ku ttendekero ouokukakanya embeera. Kati twogeddeko nabamu ku…

Read More

Abasuubuzi b’akeedi bekalakaasiza lwa kizimbe kugalwa

Bya Prossy Kisakye, Abasuubuzi b’omu Kampala abakolera ku kizimbe kya skyline shopping arcade mu kibuga wakati bekalakasizza olw’okubasibira ebizimbe byabwe okuviira ddala mu ssabiiti ewedde  ekitongole ekiwooza  ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority,oluvanyuma lw’abannanyibi bizimbe okulemererwa okusasula omusolo. Bano nga bakulembedwamu Ssentebbe w’ekibiina ekibagatta  ki Kampala Arcade’s Traders Association  Geoffrey Katongole bategeezezza nga ekitongole ekiwoza omusolo gw’eggwanga…

Read More

Abatuuze bagudde ku mulambo gw’omukazi

Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi mu disitulikiti y’e Rukiga ebakanye n’okunonyereza ku kyandiba nga kayasse omukyala ategerekese nga Ninsiima Kellen, eyasangibwa ku mabali gekubo . Omugenzi abadde mutuuze w’e Ibasyo mu tawuni kanso y’e Muhanga era nga abatuuze bagamba nti yakoma okulabwako ku lunaku lwe Sunday ku bbaala emu. Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kye Kigezi…

Read More

Kadaga y’enyamidde obutawagira Bannalulunji

Bya Kyeyune Moses, Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga lino Rebecca Kadaga avumiridde minisitule ye by’obulambuzi okulemererwa okussa ensimbi mu bannalulunji abali mu lw’okaano lw’ensi yonna ate ne basooka ku kisaawe okubaniriza nga bawangudde. Kadaga olw’aleero abadde asisinkanye ekibinja kya bannalulunji b’ekitongole ky’eby’obulambuzi nga basaba obuyambi okusoboola okwetaba mu mpaka z’ensi yonna ezisuubirwa okubaawo mu mwezi ogujja mu ggwanga…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play