Abakyala abakuba obwa malaaya basabiddwa okuva ku mulimu guno kubanga gubatyoboola.
Omubaka wa pulezidenti mu Kampala Deborah Mbabazi agamba nti abakyala abalaaya basobola bulungi nnyo okufuna emirimu emitonotono nebeyimirizaawo mu kifo ky’okutunuulira emibiri gyaabwe
Mbababazi agamba nti abakyala bano bafuna ebizibu bingi omuli endwadde n’obulumbaganyi ng’abamu batuuka n’okubatta kale ng’okusigala mu mulimu guno kimenya
Mu ngeri yeemu poliisi…
Abaana 2 bafiiridde muliro ogukutte enyumba.
Abafudde kuliko Lucky Achan ne Esther Achan ate ng’abalala babiri nabo bali ku ndiri nga bonna babadde batuuze be Bweyogerere Bukasa .
Okusinziira ku maama w’abaana bano Pascal Achan ,basanze akadomola ka petulooli ku makya ebweru w’enyumba nga kisoboka okuba nti ow’omutima omubi yeeyakoze kino.
Achan ayongerako nti taata w’abaana bano yabasuulawo…
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka eyawumula Kibuuka Musoke alaze obweralikirivu olw’abalabbayi abeyongedde mu ofiisi za gavumenti.
Omulamuzi kibuuka bino y’abyogeredde ku mukolo gw’okumusiima mu kulwanyisa obuli bw’enguzi n’okubeera omwerufu mu mirimu gye nga tannawumula.
Omulamuzi Musoke awadde eky’okulabirako eky’abaserikale ba poliisi abalina okukwasisa amateeka wabula nebadda mu kulya nguzi okuva eri abawaaba emisango nebebawawabira,
Abalala abasiimiddwa kuliko…
Gavumenti esobodde okununula obuwumbi 16 okuva mu mikono gy’abakulu abalya enguzi
Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja agamba nti ensimbi zino zinunuddwa okuva mu mwaka oguwedde okutuuka kano
Kino bakikoze nga bayita mu kunonyereza n’okutega obutego obukwata abali b’enguzi.
Mulyagonja mugumu nti mu myaka egijja bajja kwongera okununula ensimbi endala n’okukendeeza ku buli bw’enguzi
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda.
Amyuka katikkiro ow’okusatu owe Apollo Makubuya agamba nti Namaganda afudde muto kyokka ng’alese omukululo.
Yye Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa alumbye gavumenti olw’obutakola kimala kulaba nti amateeka ku mwenge gassibwa mu nkola.
Nankabirwa agamba nti abantu bangi bavuga batamidde ng’eyabadde avuga Taxi bweyabadde kyokka nga tewali bibonerezo…
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awaabye munne bwebesimbyeewo Hajati Fatuma Nabitaka owa NRM ng’amulanga butaba na bitabo.
Nambooze agamba nti Nabitaka yakoma mu siniya ya kusatu n’atandika okusomesa nasale kyokka oluvanyuma n’agobwa ku ssomero lya Kiwanga Umea.
Nambooze agamba nti bategese balooya baabwe abakulembeddwamu omubaka Medard Ssegona okulaba nti omukyala ono teyefuula ky’atali.
Nambooze ky’ayagala omukyala…
Akutte bendera ya FDC Dr Kiiza Besigye alumbye abatwala eby’okwerinda ku ma gombolola olw’okweyingizanga mu byobufuzi n’okulemesa enkungaana ze.
Besigye bino abyogedde ayogerako eri abantu be at Bugogo, Hapuyo ne Kyegegwa.
Besigye agamba nti abantu bano balina okuba abakozi ba gavumenti kyokka babivaako dda kyebakola kutiisatiisa bantu
Ono era yeemuzizza pulezidenti engeri gy’agenda okusakirira ebibinja by’abanywi b’amalwa nga…
Akakiiko akalondesa kasabye poliisi mu bwangu okunonyereza ku ffujjo eryakoleddwa mu disitulikiti ye Ntungamo olunaku lwajjo.
Akakiiko kano kavumiridde ekikolwa kino nga kagamba nti kiyinza okwongera obuvuyo mu bitundu ebirala.
Akakiiko era katandise okufulumya enkalala okuli ebifo ebigenda okukolndebwaamu ebye’enkomeredde
Abalonzi bbo bawerera ddala obukadde 15 okusinziira ku bifulumiziddwa era ng’abesimbyeewo bonna bakuweebwaako ku nkalala zino.
Akulira akakiiko Eng…
E Pallisa abantu 2 bakubiddwa amasanyalaze agabatiddewo bwebabadde betegeka ekifo ewabadde wagenda okubeera embaga.
Abalala 6 bali mu ddwaliro lye Pallisa bapooca.
Omunaana bano amasanyalaze gabakubye banjuluza weema omwabadde ewokutuula abagenyi b’abagole okuli John Mwanika, avuga emmotoka za poliisi ne mukyalawe Topista Namuzungu
Bano tenti yakoonye ku waya z’amasanyalaze negabakuba
Aduumira poliisi ye Bukedi Andrew Kaggwa akakasizza enjego eno…
Kkooti enkulu egobye okusaba kw’eyali akulira bambega b'amaggye Gen. David Sejusa ng'asaba obutaddamu kumusindika ku mirimu gyonna.
KKooti agamba tebakitegeera oba ssejusa akyali mujaasi oba nedda.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti Festo Nsenga agobye okusaba kwa Sejusa ng'agamba nti tasobola kusalawo ku nsonga yakuwumula kwa sejusa nga balina okusooka okuwulira obujulizi okuva ku njuuyi zombi.
Omulamuzi Lydia Mugambe akadde konna…
