Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

omupoliisi wakukwatibwa

File Photo: Muna mawulire eyakubwa police Eyali atwaala poliisi ya Kampala mukadde Jorum Mwesigye ayolese okukwatibwa lwakwepena kkooti Omulamuzi wa kkooti ya Buganda road ow’eddaala erisooka Mary Kaitesi Kisakye agambye nti tagenda kulonzalonza kulagira Mwesigye akwatibwe ssinga talabikako mu kkooti nga 10 December. Guno gwa kusatu nga Mwesigye yepena kkooti era nga yakoma okugendayo mu gw’omusanvu. Mwesigye avunaanibwa kukuba…

Read More

Omuliro gukutte edduuka lya piki

File Photo: Ekizimbe ekiyidde mu kampala Poliisi etandise okunonyereza ku kivuddeko omuliro ogukutte edduuka lya pikpiki ku luguudo oludda e Bombo wakati mu kibuga Kampala. Omulir guno gutandikidde mu piki negulanda okukwata edduuka eddala eritunda eddagala. Atwala poliisi y’abaziinya mooto Joseph Mugisa agambye nti okunonyereza kwebasoose okukola kulaga nti omuliro guno gwandiba nga guvudde walagi abadde mu dduuka…

Read More

E Rubaga balwanye – Singh akaaba

File Photo: Katongole Singh nga buuza ku bantu Okulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM kufundikiddwa mu bitundu ebisinga ng’okubala obululu kutandise Akalulu kano mpozzi keekamu kw’obwo obufumbekedde okulwanagana nga n’awamu okuyiwa omusaayi kulabiseeko. Mu kampala, embeera etandise ya kimpowooze kyokka ng’ebintu bimaze nebitabuka E Lubaga enguumi enyoose abawagizi ba Katongole Singh bwebalumbaganya aba Abdul Kitatta gwebalumiriza okutabula okulonda   Wabula yye Sentebe…

Read More

Besigye asunsulwa lwa kusatu oluggya

Akutte bendera ya FDC ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga Dr. Kiiza Besigye wakukakasibwa nga 4 omwezi ogujja. Kidiridde akakiiko okugaana okusaba kwa FDC okwasooka nti Besigye asunsulwe nga 3 ku ssaawa nya ez’oku makya Essaawa zino zibadde zikayaanirwa aba FDC ne NRM kyokka ng’akakiiko kasazeewo dda nti NRM yeeyasooka okusaba Amyuka akulira akakiiko kano Michael Kabaziguruka agambye nti kati…

Read More

Bafeze omusuubuzi

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi ye Kyotera mu disitulikiti ye Rakai eriko abasajja 2 bekutte lwakufera musuubuzi 500,000. Deo Kyobe 25 ne Godfrey Kasaga 27  bonna nga batuuze be sanje bebakwatiddwa lwakufera Dickson SsebugwawoKigambibwa nti ababiri bano befudde ab’ebyokwerinda nebasaba Ssebugwawo ssente zino okumuyambako okumubanjiza ssente ze ku babadda bakyaganye okumusasula. Okunonyereza kwa poliisi okusoose kulaze…

Read More

NRM okwongezaayo okulonda- Abakugu boogedde

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera Abamu ku batunulizi b’ebyobufuzi bategezezza nga ebigenda mu maaso mu kibiina kya NRM bwebitali bipya kale nga betaaga okutuula bateese okugonjoola ensonga zonna. Omukugu mu by’obufuzi  Mwambutsya Ndebesa agamba okwongezaayo akamyufu kano kiraga nti ebintu tebitambula bulungi mu NRM. Ono agamba nti ekibiina kisaanye okwewala obwanakyemalira mu kukulembera bannakibiina wabula bateese okumalawo…

Read More

Bana balumiziddwa mu kavuyo

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera Abantu 4 balumiziddwa mu fujjo erikoleddwa abawagizi ba NRM mu disitulikiti ye Lwengo nga betegekera akamyufu k’ekibiina akayongezeddwayo okutuusa olunaku lw’enkya. Abalumiziddwa kuliko  Mzee Nyansi owokukyalo  Mijumi , Hamdan Muddu o’we  Kayirira, Alex Kamya ow’e Lwensalon’omulala ategerekese nga Kafeero. Kafeero nga y’omu ku bakulembeze ku kyalo  Tayirira y’ajiddwa mu nyumbaye nebamukuba mizibu…

Read More

Katikkiro ku mugongo

File Photo: Katikiilo Peter Mayiga nga tambula Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga akunze baminista ba ssabajja kabaka abakalondebwa okukola enyo okutuusa Buganda ku Ntikko. SSabasajja yakola enkyukakyuka mu ba minisita be nga mu bakyusibwa kwekuli ne katikkiro namba bbiri nga kati ye wekitiibwa Twaha Kawaase. Katikkiro agambye nti abakulu bano balondeddwa mu kaseera nga Buganda ebeetaga…

Read More

Mbabazi ne Besigye bazzeemu okusisinkana

File Photo: Besigye ngali ne Mbabazi Ab’omukago gwa The Democratica Alliance bakyagenda mu maaso n’enteseganya z’okusimbawo omuntu omu ku bwapulezidenti . Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti  Dr. Kiiza Besigye n’eyesimbyewo nga atalina kibiina Amama Mbabazi bazzemu okuteesa ku wikendi. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omukago guno, enteseganya zino zakwatiddwa nga zikubirizibwa ab’ekibiina kya Kofi Annan Foundation mu kibuga…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play