Ab’ekibiina kya FDC bawakanyizza ebigambibwa nti omuntu waabwe Dr Kiiza Besigye yasegulidde Amama Mbabazi owa Goforward okukwata bendera y’abavuganya wansi w’ekisinde kya TDA
Amawulire gaalaze nga Besigye bweyabadde akkirizza okulekera Mbabazi ku lw’obulungi bwa buli omu n’okulaba nti abavuganya bafuna obuwanguzi.
Kati akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu agambye nti enteseganya zikyagenda mu maaso era…
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba yetondedde bannakibiina olw’emivuyo egyetobese mu kamyufu
Lumumba wabula tanyonyodde kiki ekiyinza okuba nga kyavuddeko obuzibu bwonna.
Akalulu kafumbekedde mivuyo gyabikozesebwa okutuuka ekikereezi, okugula abalonzi, nga n’awamu wofiisi zayokyeddwa
Akulira akakiiko akalondesa Dr Tanga Odoi gyebuvuddeko akavuyo konna yakassa ku Lumumba gw’agamba nti teyabawa lukalala lupya olwa ba memba
Lumumba kati yetonze n’asaba abawagizi…
Pasita Augustine Yiga amanyiddwa nga abizaayo kyaddaaki apondoose n’awa omuwala gweyazalaamu omwana obuyambi.
Omuwala ono Brenda Nalubega alumiriza omusumba Yiga okumukaka omukwano n’amufunisa olubuto kko n’okumusiiga siriimu kyokka n’amusuulawo nga n’omwana tamulabirira.
Yiga ng’ayita mu mwanyina amanyikiddwako erya Nassozi awadde omuwala ono akakadde k’ensimbi kamu era n’ategeeza omuwandiisi wa kkooti enkulu Emanuel Baguma nti ku balaza ya…
File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi
Amyuka omubaka wa Bugirimaani mu Uganda asabye abapoliisi okukola emirimu gyaabwe n’obukugu okwewala okulabibwa obubi.
Kolhendoer Fer Petra agambye nti poliisi yetaaga okussaamu ekitiibwa kyokka ng’erina kusooka ku ky’ewa.
Omukulu ono okuva mu Bugirimaani okwogera bino abadde awaayo emmotoka,n’ebirala ebikozesebwa poliisi okubayambako okunonyereza obulungi ku misango.
Kolhendoer agambye nti yadde mulimu gwa poliisi okukuuma…
File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera
Abakulira ekibiina kya NRM balabudde abo bonna abagenda okwesimbawo nga abatalina kibiina nti baba bavudde mu kibiina.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Lumumba Kasule okulabula kuno akutegezezza bannamawulire n’asaba abaawanguddwa mu kamyufu okukkiriza okuwangulwa bagende mu maaso n’okukole emirimu gy’ekibiina.
Ategezezza nga bwebataddewo dda abagenda okutunula mu kwemulugunya kwonna okwavudde mu kamyufu nga wano…
File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu
Akakiiko k’ebyokulonda kawadde abesimbyewo ku bwapulezidenti ebinagobererwa ebisembayo nga betegekera okusunsulibwa ssabbiiti ejja.
Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, abesimbyewo 7 bokka ku mwenda bebalonda essaawa z’okusunsulibwako nga pulezidenti Museveni y’alonda ssaawa 4 ez’okumakya.
Mbabazi wakuddirirwa eyali ssabaminisita Amama Mbaabzi ku ssaawa 5 olwo Prof Vanasuis Baryamureeba aggye ku ssaawa 6 ye Charles…
File Photo: Abantu nga balya emere
E Gulu abantu 10 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulya obutwa.
Abali obubi kuliko abaana 3 nga era balumiddwa embuto oluvanyuma lw’okulya kabalagala agambibwa okubeeramu obutwa.
Aberabiddeko n’agaabwe balumiriza nti omukyala atunda paani Kevin Anena mu ka tawuni ka Unyama yandiba nga yakikozesezza ttima okutabula obutwa mu menvu g’akubamu paani.
Omu…
File Photo: Bana Nrm nga balwana
Abeesimbyewo mu kamyufu ka NRM mu disitulikiti ye Lwengo balumirizza abaserikale ba poliisi abakwatiddwa mu kitundu kino nti betabye mu kubba obululu.
Nga bakulembeddwamu Dr. Sarah Nkonge eyesimbyewo ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Lwengo Lwengo wamu neyesimbyewo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti George Mutabaazi,bategezezza nga Michael Ndirimo omuserikale ku poliisi ye…
File Photo: Ababoda boda mu kampeyini
Poliisi akangudde eddoboozi ku ba ofiisa baayo abeerabidde emirimu gyaabwe nebadda mu byobufuzi.
Kiddiridde okukwatibwa bw’omu poliisi amanyiddwa nga Moris Latigo ng’alonda mu kamyufu ka NRM e Gulu ate nga e Lwengo, yye Micheal Mbirimu yetabye ku bakwatiddwa n’obululu obubbe.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti kikyaamu omupoliisi okubeera n’oludda bwegutuuka…
File Photo: Bana Nrm nga balwana
Abalonzi mu bukiikakkono bwa disitulikiti ye Nakaseke balumbye ofiisi awagattirwa obululu mu kibuga kye kiwoko nga beemulugunya ku mivuyo egyafumbekedde okulonda
Abatuuze bano bavudde mu ma gombolola okuli erye Ngoma, Kinyogoga ne Kinoni sub-country.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agambye nti abatuuze ekibajje mu mbeera kwekulaba nga ebivudde…
