Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Empologoma esse omukyala

File Photo:Empologoma nga ekutte omukazi Poliisi wamu n’ekitongole ky’ebyebisolo mu ggwanga bali ku muyiggo gw’empologoma eyasse omukyala mu disitulikiti ye Ibanda. Gladys Komworeko y’asangiddwa mu kasiko akaliranye amakage nga abwebweneddwa empologoma eno bweyabadde agenze okulunda ente ze. Kigambibwa nti empologoma eno ezze etta n’ebisolo ku kyalo nga era kati abatuuze bali mu kutya. Ssentebe w’e gombolola ye  Nsasi Benon…

Read More

Emigga gibimbye e Kigumba

File Photo : Omukazi nga yooza Ebyentambula ku luguudo lw’e  Kigumba-Masindi bisanyaladde oluvanyuma lw’emigga okubimba amazzi neganjala mu nguudo za tawuni. Okusinziira ku bavuzi bemmotoka ebifo ebisinze okukosebwa kuliko ekyalo Nyambindo nga eno omugga Waiga gwegubimbye n’ebyalo ebirala okuli  Kigumba.Ssentebe wa disitulikiti ye Kiryadongo  Ben Constantine Moru ategezezza nga gavumenti bwezze esubiza okuddabiriza oluguudo oluva e Kigumba-Kyenjojo…

Read More

Omubaka omulala afudde kikutuko

File photo: Ababaka ba Palimenti Palamenti y’eggwanga ekyali  mu kiyongobero oluvanyuma lw’amawulire g’okufa kw’omubaka we Okoro nga ono ye Stanly Omonya. Omubaka y’asembye okulabikako mu kisaawe e Namboole mu ttabamiruka w’ekibiina kya NRM gyeyazirikidde nga era y’afudde atuusibwa mu ddwaliro. Okusinziira ku mubaka omukyala ow’e Zombo Hon Kwiyucwiny Grace Freedom y’afudde kirwadde kya mutima. Omugenzi abadde yakawangula akamyufu k’ekibiina…

Read More

Ebigezo bitandise bulungi

Ebigezo bya P7 ebyakamalirizo bitandise bulungi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Ku ssomero lya Nakasero Primary wabula bakereyemu essaawa namaba nga batandise ku ssaawa 4 mu kifo ky’essaawa 3 olw’empapula okusookam obutamala. Era ne  mu district ey’e Mpigi waliyo ebifo awatuulibwa ebifunye omuwendo gw’ebigezo ebitamala bw’ogeraageranya n’abayizi ab’ewandiisa okutuula ebigezo bino. Ku ssomero lya Nkozi Nusrat primary school, amasomero…

Read More

Nyakaana awangudde Singh

Godfrey Nyakana Amooti ye mumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya NRM wano mu Kampala sso nga ye  Sam Engola alidde obwa ssentebe mu bukiika kkono bw’eggwanga.   Mu bitundu ebirala abamu baalekedde banaabwe okuyitamu nga tebavuganyiziddwa, ku bifo bino bonna balemeddeko nebavuganya.   Nyakaana  y’amezze  Katongole Singh Malwah n’obululu 3389 sso nga ye Katongole y’afunye  1544 mu kulonda okwabaddewo akawungeezi…

Read More

Pulezidenti Museveni anaayogerako eri bamemba mu ttabamiruka

File Photo: Abawagizi ba NRM Ttabamiruka ‘ekibiina kya NRM akomekerezebwa olunaku olwaleero. Olukungaana luno olw’ennaku 2 mubaddemu okukakasa pulezidenti Museveni nga agenda okukwatira ekibiina kino bendera ku bwa pulezidenti nga tavuganyiziddwa wamu n’abakulembeze b’ekibiina abalala abaakakasiddwa. Ssentebe w’ekibiina kino era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okwogerako eri ebakungu b’ekibiina kino oluvanyuma lw’okuddamu okuweebwa bendera . Amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kya…

Read More

Teri kutwala bantu Namboole- Akakiiko akalondesa

File Photo: Abawagizi ba NRM Ate nga ebula olunaku lumu lwokka okutuuka ku lunaku lw’okusunsula abesimbyewo ku bwapulezidenti, akakiiko k’ebyokulonda kalabudde abesimbyewo bonna obutasukka lunaku lwaleero nga bamaze okuwerezayo amanya g’abo abagenda okubawerekera nga bagenda okusunsulibwa ku kisaawe e Namboole. Okusunsula kwakukwatibwa olunaku olw’enkya nga era buli yesimbyewo alina okugenda n’emmotoka  2 wamu n’abantu 20. Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda…

Read More

Ebigezo bya P.7 bitandise

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo bye kyo musanvu Ab’ekibiina ekyomusanvu olwaleero lwebatuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo. Ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga  Matthew Bukenya agamba abayizi abasoba mu  620,000 basuubirwa okutuula ebigezo bino mu bifo ebisoba mu  7,800. Amakya galeero abayizi bakutuula ekigezo kya  Social Studies n’oluzungu olwo olunaku olwenkya bakole okubala ne sayansi. Mungeri yeemu Bukenya agamba olwokubeera abenkanya,…

Read More

Enyonyi ya Russia agudde

Waliwo enyonyi y’eggwanga lya Russia egudde mu masekati ga Sinai mu ggwanga lya Misiri ngerimu abantu abasoba mu 200. Enyonyi eno ekika kya  Airbus A-321  esimbudde okuva ku Red Sea resort neyolekera ekibuga St Petersburg mu ggwanga lya Russia. Amawulire okuva mu ggwanga lya Misiri galaze nti ebipapajjo by’enyonyi eno bimazze okuzulibwa era nga ambulance ezisoba mu…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play