Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abanene bameggeddwa mu NRM

File photo: Owe byokulonda mu NRM Nga tukyagenda mu maaso n’okubatusaako ebyavudde mu kamyufu ka NRM, bingi ebyewunyisa ate nga waliwo n’abapya abayiseemu nga kati beetaga kwetegereza. Akalulu kano kalese abakadde bangi okuli ne baminisita nga bakaaba ate nga waliwo n’abaali baagwa kyokka nga bazzeemu okuwangula. Mu ngeri yeemu era akayufu kano kaleese abayimbi ne bannakatemba abasazeewo okwegatta…

Read More

Ssebuufu asuze Luzira

File Photo: Sebuufu wa Pine mu kooti Omutunzi w’emotoka mu Kibuga Kampala Mohammed Ssebuufu asindikiddwa e Luzira lwakutta mukyala . Ssebuufu avunaanibwa wamu Godfrey Kayiza omukuumi, , Philip Mirambe munansi we Congo, ne Stephen Lwanga nga bano kigambibwa nti batta Donah Katushabe. Omulamuzi omukulu mu kkooti ya Buganda road Flavia Nabakooza abavunaanibwa y’abasomedde emisango gy’ettemu n’okubba essimu y’omugenzi…

Read More

Owa siniya y’okuna yali mukulu mu UNRA

File Photo: Kagina ngaali mulutuula Ekitongole ky’enguudo ekya UNRA olwaleero kitegerekese nti yawandiisa omuyizi wa siniya y’okuna okukulira ekiwayi ekigula ebintu e Jjinja Ono ng’amaze okufuna omulimu olwo yaddayo n’afuna dipulooma. Bino bitegeezeddwa akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole kino era ng’omukyala ayogerwaako ye Harriet Nagadya. Akakiiko akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire agambye nti kyenyamiza okulaba nti abantu abatalina bukugu…

Read More

Abanene bameggeddwa mu kamyufu- abe Kampala bakaaba

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva mu Rubaga South abalumbye ekitebe ky’ekibiina kyabwe ku luguudo lwa Kyaddondo nga baagala ebyavudde mu kubala obululu bisazibwemu nga balumiriza nti mwabaddemu okubbira. Akakiiko k’ebyokulonda ek’ekibiina kya NRM  kategezezza nga welunazibira olunaku olwaleero  nga ebyavudde mu kulonda kw’akamyufu byonna bimaze okulangirirwa. Amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda…

Read More

Aba DP batabuse e Masaka

File Photo: Mbidde nga seeka Bannakibiina kya DP e Masaka bazimudde ekiragiro  kyokubawumuza nebalemera mu ofiisi. Ku lwokutaano oluwedde , ssentebe w’ekibiina kya DP e Masaka  Fred Denis Mukasa Mbidde y’awumuzza abakulu 6 ku bigambibwa nti ba tebagoberera ssemateeka w’ekibiina. Abaawumuziddwa kuliko  Dick Lukyamuzi Ssenyond,ssentebe wa  Bukoto East Constituency, Deo Maweje , John Bosco Nawandagala ,  Aisha Nakitende, …

Read More

KKanisa agwiiridde abantu

File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali Mu disitulikiti ye Mbarara abantu 3 bafudde oluvanyuma lw’omuyaga ogwamaanyi okusuula ekanisa y’abalokole n’ebabutikira mu gombolola ye Kashari. Aduumira poliisi ye Mbarara  Jaffer Magyezi akakasizza akabenje kano wabula n’anenya nyo bananyini kanisa eno olwokuzimba ekizimbe ekinene naye nga tekuli mpagi nywevu. Abagenzi bategerekese nga  Jane Kyofuna, Edrai Kyomuhendo ne  Annet Mwesigwa…

Read More

Akena akwatibwe- Kkooti

File photo:Akena ne bana Upc Kkooti ya Buganda Road eragidde ssenkagale w’ekibiina kya UPC Jimmy Akena akwatibwe lwakuzimuula biragiro bya kkooti. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Mary Kaitesi Kisakye y’ayisizza ekiragiro kino amakya galeero nga bbo abalala okuli ababaka  Betty Amongi, Fred Ebil, ne  Maxwell Akora  wamu nebanaabwe abalala balina okweyanjula mu kkooti nga 7 December…

Read More

Eyawanguddwa Nabakooba atabuse

File Photo: Eyaali owogezi wa police nabakooba Omubaka wa disitulikiti omukyala Dorothy Mpima aganye okukkiriza nti yawanguddwa era wakwesimbawo nga atalina kibiina. Bino Mpiima abirangiridde ku kitebe kya NRM ku disitulikiti  oluvanyuma lw’omuyimbi Judith Babirye okumumegga. Mpima alumiriza ab’ebyokwerinda okumulwanyisa nga bagulirira abalonzi. Wabula ye omuwandiisi w’ekibiina ku disitulikiti James Wasswa ategezezza nga okulonda bwekubadde okwamazima. Ku kifo ky’omukiise we…

Read More

NRM esazizzaamu okulonda, mu Bugisu, bayomba

File Photo: Muna Nrm nga londa Akamyufu ka NRM mu bitundu bye Bugisu kafumbekedde buvuyo na kwekalakaasa. Amannya ga bantu agamu tegabadde ku nkalala, ebikozesebwa mu kulonda bituuse kikereezi sso ng’ate ewalala ebituuseeyo bibadde tebimala. E Mbale mu kitundu kye Wanale, abaana abali wansi w’emyaka 15 balabiddwaako nga nabo balonda. E Tororo enkuba eya maanyi etonye eyingiridde emirimu era…

Read More

Okulonda mu kampala, balwanye, e Makindye tebalonze

File Photo: Abawagizi ba NRM Okulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM kufundikiddwa mu bitundu ebisinga ng’okubala obululu kutandise Akalulu kano mpozzi keekamu kw’obwo obufumbekedde okulwanagana nga n’awamu okuyiwa omusaayi kulabiseeko. Mu kampala, embeera etandise ya kimpowooze kyokka ng’ebintu bimaze nebitabuka E Lubaga enguumi enyoose abawagizi ba Katongole Singh bwebalumbaganya aba Abdul Kitatta gwebalumiriza okutabula okulonda   Wabula yye Sentebe wa NRM e…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play