Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Lunaku lwa Kondomu

Leero lunaku lwa kutumbula kukozesa bupiira bukalimpitawa buyite kondomu Abakugu mu byobulamu kati bawanjagidde abantu okukozesa obupiira okukuuma obulamu bwaabwe era nga beeyagala. Akulira ekibiina kya Straight Talk Foundation Susan Ajok, agamba nti abavubuka bangi bakimanyi nti siriimu atta kyokka nga tebafaayo kukozesa bupiira Ono era agamba nti obupiira buno buyamba n’okuziyiza embuto naddala eri abavubuka abatannaba kwetuuka Bbo…

Read More

Eddwaliro lye Masaka lifunye sikaani

Kyaddaaki eddwaliro lye Masaka lifunye sikaano oluvayuma lw’emyaka ena nga teririna kyuuma kino Akulira eddwaliro lino Ereazer Mugisha y’ayanjulidde bannamawulire amawulire gano Mugisha agambye nti ekyuma kino baakiguze obukadde 122 okuva e Budaaki nebakola ne ku kikadde ku bukadde 55 Ono agambye nti ebyuuma bino byatandise dda okukola era nga biriko n’abasawo abakugu Omu ku basawo abakugu mu ddwaliro…

Read More

Ali olubuto, tokwata ku mwenge

Abakyala abagaala okufuna embuto oba abalina ento ezitasukka myezi esatu basaanidde ddala okwewala okukomba ku kigambo mwenge Bannasayansi okuva mu ttendekero lya Royal College of Obstetricians and Gynaecologists erisangibwa mu Bungereza. Bano beebamu baali bategeeza nti tewali buzibu ssinga omukyala bw’ati anywaako katono ku mwenge gw’ekika kya Wine Bano kati bagamba nti engeri yokka ey’okutaasa omwana kwekwewalira ddala…

Read More

Abalina Hernia balongoseddwa

Abalwadde abalina ekirwadde kya Ania abasoba mu 120 beebalongooseddwa mu nkambi etegekeddwa ab’eddwaliro lye Kibuli okumala ssabbiiti namba Ekigendererwa mu nkambi eno kyali kyakulongoosa abalwadde 100 kyokka nga basusseemu. Abantu bano balongoseddwa abakugu okuva mu Turkey nga bayambibwaako aba wano Atwala eby’eddagala ow’eddwaliro lye Kibuli Dr. Muhamood Elgazar agambye nti abantu abasinga bebakozeeko, ania waabwe abadde akuze nga…

Read More

Abasawo bayambeko abantu okwetta- Canada

Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga lya Canada ekkirizza abasawo okuyambako abalwadde abali mu bulumi okufa Kino kyaali kyassibwaako envumbo mu mwaka gwa 1993. Mu kusalawo kwa kkooti , kkooti egambye nti kuno kuba kulinyirira ddembe lya bannansi ba Canada ababeera mu bulumi ng’ate tebajja kuwona Ensonag eno yali yatwalibwaayo bannakyeewa nga bakikiridde abakyala babiri abaalina obulwadde obutawona nga bagaala…

Read More

Okutambulira ku nyonyi tekujjaamu mbuto

Ettendekero ly’abakugu mu nsonga z’abakyala mu ggwanga lya Bungereza litegeezezza nti omukyala w’olubuto olukulu okulinnya enyonyi ssikyabulabe nga bangi bwebabadde babitebya Bano batunuulidde abalina embuto ezisukka mu wiiki 28 Kkampuni z’enyonyi nyingi zirina amateeka eri abakyala b’embuto nga tezikkiriza abamu kusabaaliraku nyonyi zaayo Bannasayansi bano bagamba nti yadde buli Muntu asabaalira mu nyonyi akosebwa amasanyalaze olw’entambula y’enyonyi, tewali…

Read More

Abasawo bannayuganda 100 bakwolekera obugwanjuba

Gavumenti yakusindika abasawo abasoba mu kikumi mu bugwanjuba bwa Africa okuyambako okulwanyisa ekirwadde kya Ebola Kamisona atwala ekiwayi ekikola ku kiziyiza endwadde mu minisitule y’ebyobulamu Alex Opio agamba nti Ebola akyaali wabulabe eranga amawanga gonna gali mu bulabe okumufuna okuli ne Uganda Opio agamba bukyanga bulwadde buno butandika nti abantu 900o beebafudde ekirwadde kya Ebola ate abalala…

Read More

E Buwama bazaalira ku tooki

Eddwaliro lya gavumenti e Buwama liri mu mbeera mbi lwa bbula ly’amasanyalaze. Eddwaliro lino libanjibwa ensimbi ezisukka mu kakadde akalamba nga era bamaze ebbanga nga bali mu kibululu oluvanyuma lw’amasanyalaze gano okusalibwaako. Ekikwaasa ennaku bannakazadde b‘eggwanga bazaalira ku tooki n’amataala g’emikono nga era abamu bajjibwako ensimbi eziri wakati w’olukumi  n’enkumi ebbiri  okugula amafuta oba obusubbaawa okumulisa nga…

Read More