Ebyobulamu
Abavubuka mubasomese ku mukenenya
Abazadde basabiddwa okusomesa abaana baabwe ku bulabe bw’obulwadde bwa mukenenya ng’ennaku z’okusoma zisembera Akulira akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya Dr. Christine Ondoa agamba nti abavubuka bangi bafuna obulwadde buno kubanga baba bamanyi kitono. Ondoa agamba nti abaana balina okufuna obubaka bumu nti kiba kirungi […]
Kiruddu, Kawempe gaggwa mwaka guno
Okuddabiriza eddwaliro lye Kiruddu ne Kawempe kwakumalirizibwa omwaka guno. Atwala ebyobulamu mu KCCA, Dr. David Sseruka agamba nti amalwaliro gano gakugaziyizibwa nga gakola ku bantu abawerako era nga gakubaamu ebitanda 400. Sseruka agamba nti luli babadde bakola ku bantu emitwalo 29 kuva ebweru, nga bazaaza […]
Gavumenti yeeyamu ku be Nebbi
Minisitule y’ebyobulamu alumbye abaddukanya eddwaliro lye Nebbi olw’okuzza abalwadde mu kabuyonjo kubanga baddabiriza eddwaliro Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti eddwaliro lino lyanditaddewo enkambi eri abalwadde abangi abagendayo okwewala okubateeka mu bifo ebikyaafu nga kabuyonjo. Lukwago agamba nti bakutuula n’abaddukanya eddwaliro […]
Okugema awamu tekutuuse
Okugema kwa poliyo okw’ekikungo okumaze ennaku ssatu mu ggwanga lyonna kukomekerezeddwa nga waliwo disitulikiti ezitagemye baana bonna Mu Butambala omukungu wa ssabasajja Jimmy Kamuli Ssali abadde mu kulondoola okugema kuno, agambye nti yadde nti wadde mu byaalo bye Butambala ne Gomba basobodde okumaliriza obulungi, […]
Okugema poliyo kufundikiddwa
Okugema kw’ekikungo okw’obulwadde bwa poliyo kukomekerezeddwa olunaku lwaleero. Okugema kuno okukoleddwa nju ku nju kwatandika wiiki ewedde ku lw’omukaaga era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kyekitaddemu obuwumbi obusoba mu 14 Abaana abali wansi w’emyaka 5 bebagemeddwa mu nteekateeka eno. Omwogezi wa minisitule y’eby’obulamu Rukia Nakamatte […]
Abavubuka balina okwebaka ekimala-Alipoota
Abavubuka abateebaka tulo tumala emirundi egisinga batera okukozesa ebiragalaragala n’okwegadanga mu ngeri etali ya buvunanyizibwa. Bino bizuuliddwa bannasayansi okuva mu America. Bano bagamba nti abavubuka balina okufuna otulo otumala era abatakikola batera okukola ebintu ebitategerekeka. Wano webasabidde abazadde okulondoola enneyisa y’abaana baabwe okulaba nti beebaka […]
Mali eweddemu Ebola
Eggwanga lya Mali lirangiriddwa ng’eriweddemu obulwadde bwa Ebola Kiddiridde abasawo okulondoola embeera mu ggwanga lyonna okumala ennaku 42 nga tewali mupya afunye kirwadde kino. Omulwadde wa Ebola eyasemba mu ggwanga lino yalabwaako mu December w’omwaka oguwedde Obulwadde bwebumu era bukendedde mu mawanga amalala nga Sierra […]
Abasawo bagaala kwongezebwa musaala
Abasawo mu ggwanga bagaala kwongezebwa musaala wakiri asookerwaako abe ng’afuna akakadde kamu n’ekitundu Nga bayita mu kibiina kyaabwe kyaabwe ekya Uganda medical workers union,abasawo bagamba nti omusaala gwebafuna mutono nnyo era emirundi egisinga gubalamu amaanyi nebatafa ku balwadde. Mu kadde kano omusawo asinga afuna emitwalo […]
Okugema poliyo kutandikwa lwa mukaaga
Minisitule y’ebyobulamu yakutandika ku lw’omukaaga okugema abaana obulwadde bwa poliyo okwetoola eggwanga lyonna. Minisita w’ebyobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti kawefube asakiriddwa ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna wakuwemmenta obuwumbi obusukka mu 14 Agamba nti bagenda kubeera n’okugema mu disitulikiti eziwerera ddala 41 n’ezo eziri ku nsalo […]
Waadi y’abaana n’abakyala
Pulezidenti Museveni azzeemu okweyama okutereeza ebyobulamu mu ggwanga n’okukola kyonna ekisoboka okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya. Obubaka bwa pulezidenti bwetikkiddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ku mukolo gw’okuzimba waadi y’abakyala n’abaana ku ddwaliro ekkulu e Masaka. Sekandi agamba nti Uganda ekoze nnyo okulwanyisa […]