Ebyobulamu
Kokoolo oluusi kisiraani
Bannasayansi bagamba nti omuntu okukwatibwa kokoolo kiba kisiraani. Ekibinja kya bano okuva mu America kigamba okunonyereza kwekikoze kulaga nti waliwo abantu bangi abalina kokoolo naye nga baakola buli kimu okumwewala omuli n’obutakomba ku ka sigala Bano bakizudde nti kumpi ebitundu 2 ku bisatu ebya kokoolo […]
Okwebaka kukira endya ennungi
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti omuntu okwebaka obulungi era ekimala kisingako endya ennungi mu kukuuma omuntu nga mulamu. Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga 23 ng’abantu ababeerayo abasinga bettanira okwebaka obulungi okusobola okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu. Kyokka era kyeyolese nti bwegutuuka ku kwebaka, abakyala bamanyi omugaso […]
Yinsuwa ku byobulamu
Abali mu byobulamu basabye gavumenti okussaawo yinsuwa eri abantu ba bulijjo okusobola okutereeza ebyobulamu. Addukanya eddwaliro lya Bishop Caesar Asili erisangibwa e Luweero Ernestine Akulu agamba nti kijja kusobozesa abantu bonna okufuna obujjanjabi obwetaagisa Ono agamba nti abantu abaweza ebitundu 80 ku kikumi tebalina bakozesa […]
Okwerabira kabonero
Okwerabirarabira kabonero akalaga nti omuntu yandisanyalala mu biseera by’omu maaso. Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa mu ggwanga lya Netherlands. Abanonyereza bano bagamba nti ate gujabagira ssinga omuntu alina obuzibu bw’okwerabira aba asoma mu ttendekero lya waggulu. Abasoma bano balina emikisa egiweza ebitundu 39 ku kikumi okusanyalala […]
abe Wankulukuku tebalina kabuyonjo
Abatuuze be wankulukuku wano mu kampala basabye ekitongole kya KCCA okuyamba okusomesa abantu baabwe ku by’obuyonjo okusobola okwewala endwadde eziva ku bukyafu. Kino kiddiridde aba KCCA okukeera okugenda okuyonja ekitundu kino wabula abasinga babadde bamanyi bagenze kubamenya era nebesamba okubakwatizaako. Kati omu ku bakulira eby’obulamu […]
olya katono n’okkuta
Bannasayanansi bayiyiizza ekirungo ekigattibwa mu mmere, omuntu n’akkuta kyokka ng’aliddeko katono. Okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti abantua bakikozesezzaako balya katono nebakutta era nga babadde basaze ku buzito. Ekirungo kino kikkakkanya kubanga kizimbya omuntu olubuto n’awulira nti akkuse Bano bagamba nti ssinga omuntu akikozesa buli lunaku kiyinza […]
Omunyu ne sukaali kiki ekisinga obubi
Bannasayansi bakubaganye empawa ku bigambibwa nti sukaali mubi nnyo eri abalina pressure okusinga omunnyo. Abakugu okuva mu America bagamba nti bagamba nti abantu basaanye okussa essira ku sukaali gwebanywa okusinga bwebakola ku munnyo. Bannasayansi bano bagamba nti sukaali wabulabe nnyo ng’aleeta n’obulwadde bw’omutima Wabula abanonyereza […]
Abalina siriimu babikooye
Mu disitulikiti ye Butambala abantu abalina akawuka aka mukenenya bakaladde nebalabula abantu ababafuula eby’obulambuzi nga babasabirako obuyambi okuva e bunayira nti bakikomye bunambiro. Bano nga bakulembeddwamu akulira ekibiina ekibataba abalina mukenenya ekya HIV forum Ssemaganda Lwanga. Lwanga agamba nti bakizudde nti waliwo abantu abagenda ebunaayira […]
Embeera mu Nkambi yakukyuuka
Oluvanyuma lw’embeera y’eby’obulamu okwongera okugotaana mu nkambi z’abanonyi b’obubudamu minisitule ekola ku nsonga z’ababundabunda etaddewo akakiiko akalondoola ebyobulamu mu nkambi zino okulaba nga tewabalukawo ndwadde zonna ziva ku bukyafu. Minisita akola ku bigwa bitalaze Musa Echweru agamba obukiiko buno bugenda kukwatagana butereevu ne minisitule y’ebyobulamu […]
Eddwaliro lyafuuka wofiisi
Agava e Mbale geeg’eddwaliro lye Bumasikye okubeera nga kati lyafuulibwa kitebe kya gombolola Eddwaliro lino lirina okukola ku bantua basoba mu 13,000 kyokka nga kati bano basindikibwa mu malwaliro amalala kubanga tewakyaali ddwaliro. Eddwaliro lino lyaali lyazimbibwa mu mwaka gwa 2009 era nga libadde likola […]