Ebyobulamu

Eddwaliro lye Lubaga lyetaaga byuma

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Eddwaliro lye Lubaga litandise kawefube w’okutereeza eddwaliro omujjanjabibwa abaana abakazaalibwa Kawefube ono agenda okutongozebwa ku lw’omukaaga luno agendereddwaamu kulaba nti eddwaliro lino lissibwaamu ebyuuma eby’omulembe Omwogezi w’eddwaliro lino Anne Nganda agamba nti basobodde okufuna ensimbi ezizimba leeba, sweeta bbiri , n’awatuukira abakyala n’eddwaliro ly’abaana nga […]

Eddagala liriwa

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Abakugu mu byobulamu bagaala gavumenti ekkirize abantu abatalina mukenenya okukkirizibwa bemire eddagala erikozesebwa ku bantu abali mu bulabe bw’okufuna mukenenya Dr Noor Semiyaga okuva mu kitongole ekirwanyisa endwadde ezibuna amangu agamba nti eddagala lino lijja kuyamba okukendeeza abantu abakwatibwa ekirwadde kya siriimu Ono agamba nti […]

E sembabule teri kabuyonjo

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Abakulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Ssembabule balaalise okuggala amaka agasoba mu 50 lwabutaba na zi kabuyonjo. Ebyaalo okuli Misojo A, Kiganda ,Misenyi, Nambirizi, ne Kyemandwa nga byobba biri mu gombolola ye Mateete ne Mijwala byebyolekedde ekyokya lwakubulwa aka mugwanya. Omukwanaganya w’ebyamazzi n’obuyonjo mu kitundu kino […]

Abe Lwengo bajjanjabiddwa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu 500 mu disitulikiti ye Lwengo bajjanjabiddwa mu nkambi y’ebyobulamu ekubiddwa mu nkambi y’amaggye e Kasajjagirwa Mu nkambi eno ebadde ku kisaawe e Kyazanga, abantu bakebereddwa n’okujjanjaba endwadde ezitali zimu ng’omusujja gw’ensiri, senyiga, emitwe, ebifuba, kko n’ekusomesa abakyala n’abaami kun kola z’ekizaala ggumba. […]

Abakyala banyigirizibwa nnyo

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Kizuuliddwa nti kyangu nnyo abakyala abali mu bifo by’obuyinza okulaga obubonero bw’okunyigirizibwa emirimu gyebakola ate okusingako ku basajja Mu basajja, kigambibwa okuba nti eky’okubeera n’obuyinza okugoba oba okuwandiisa abakozi abapya kibayamba okukendeeza ku birowoozo ate ekitali ku bakazi. Eri abakyala, buli lw’agoba omukozi oba okuwandiisa […]

Uganda ekubiddwa mu mbuga lwa basawo

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Gavumenti ya Uganda ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakusalawo kusindika basawo 250 mu ggwanga lya Trinidad and Tobago. Ettendekero erikola ku by’okunonyereza lyeriwaabye gavumenti nga ligamba nti kyenyamiza okulaba nti wakati mu bbula ly’abasawo mu ggwanga, ate abatono abaliwo gavumenti ekkirizza okubasindika ebweru Atwala emirimu gya […]

Bagaba akaboozi okufuna ebyenyanja

Ali Mivule

November 20th, 2014

No comments

Ensonga za Mukenenya ku bizinga yyo ekutte wansi ne waggulu Kati nno abakyala abakola ku myaalo kizuuliddwa nti bangi okufuna ku byenyanja bino basooka kwebaka na basajja ababivuba. Bino byatuuddwa ab’ekibiina ky’obwa nnakyeewa ekikola ku bya bavubi ekya Uganda fisheries and fish conservation Association ekikolera […]

Lunaku lwa Kabuyonjo mu nsi yonna

Ali Mivule

November 19th, 2014

No comments

Olwaleero lunaku lwa kabuyonjo mu nsi yonna. Mu Uganda abantu obukadde 11 ku bantu obukadde 34 beebatasobola kufuna mazzi mayonjo Okusinziira ku minisita akola ku mazzi n’obutonde bwensi Ephraim Kamuntu agamba nti kino kyekivuddeko n’endwadde ng’ekiddukano, ne Bilharzia n’omusujja gw’omubyenda guyite Taifoidi Minisita agamba nti […]

abaana abatannatuuka- ensimbi zibulamu

Ali Mivule

November 17th, 2014

No comments

Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi z’essa mu kukendeeza omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka Omukugu mu nsonga z’okuzaala mu kibiina kya SAVE The Children Uganda Patrick Aliganyera agamba nti amalwaliro mangi tegalina byuuma bikola ku baana ba kika kino omuli ebikuza abaana ekibaviirako okufa Aliganyera agamba […]

Omusawo abba eddagaal

Ali Mivule

November 17th, 2014

No comments

Waliwo omusawo akwatiddwa ng’abba eddagala lya gavumenti okuva mu ddwaliro lye Kawolo- Lugazi. Akwatiddwa ye Hadijah Namutebi ng’asangiddwa ne paketi za Septrin, Coatem , amaganduula agambalwa abasawo abakomola abasajja abiri n’ebirala. Byonna bibadde mu kalwaliro ke aka Mukisa Drug shop nga kasangibwa Namengo Lugazi mu […]