Abayizi b’obusawo ku ddwaliro lya gavumenti e Soroti bediimye okujanjaba omuntu yenna lwaminisitule y’eby’obulamu kulwawo kubasasula.
Akulira abayizi bano Isaac Orec agamba banatera kubagoba mu mayumba nga kati bateekateeka kugabana mizigo mwebasula olwabalandiloodi okutiisa okubagoba lwakumala emyezi 3 nga tebabasasula.
Ono agamba baawndikira dda omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’eby’obulamu ku nsonga eno n’abagumya bugumya nga bwebajja okusasulwa.
Bano…
Eggwanga lyakulangirirwa nti liweddemu ekirwadde kya Marburg ssinga tewabaawo Muntu mupya afuna obulwadde buno mu nnaku ssatu
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti kati ennaku ziweze 30 nga tewali Muntu mupya yaafunye kirwadde kino
Dr. Lukwago agamba nti abantu abataano bebaali balondoola babakebera nga tebalina kirwadde kino era nebasiibulwa
Mu nkambi zonna ezassibwaawo ez’abantu…
Abakugu bakizudde nti omuntu asobola okuwuliriza ebintu ebikaawa, ebirimu omunnyo, ebibalaala n’ebiwooma omulundi gumu
Buno babituseeko oluvanyuma lw’emyaka nga banonyereza era nga bigenda kuyamba okumalawo okukaayana ng’abamu bagamba nti obwongo tebusobola kuwuliza bintu bino
Basanguddewo n’ebigambibwa nti entikko y’olulimi yeeyokka ewuliza ebiwooma.
Abakugu okuva mu yunivasite ye Colombia bagamba nti buli kirina empooma kirina omusuwa gwaakyo mu bwongo…
Banaggagga 10 batonzeewo ensawo enayamba abantu abakoseddwa ekirwadde kya Ebola
Bano basisikanye mu ggwanga lya Ethiopia era nebasondawo doola obukadde 28 ezigenda okuyamba okusindika abasawo mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia.
Abakugu bagamba nti obulwadde buno basobodde okubwetoloola nga kati kufuba kujjanjaba ababulina n’okutaayiiza abatannabufuna
Abantu abali mu 5000 beebakafa ekirwadde kino kw’abo omutwalo egumu mu…
Wadde nga gavumenti eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gw’ensiri, okunonyereza kulaga nti omusujja gukyayongera okubala bannayuganda embiriizi.
Omukugu mu by'obulmu okuva mu ddwaliro lya Princess Diana health center 4 mu disitulikiti ye Soroti Paul Ocmar agambye nti abalwadde ebitundu kyenda ku kikumi byebafuna
Ono agambye nti gavumenti erina okwongera amaanyi ku ngeri y'okwewalamu obulwadde buno.
Kigambibwa nti abantu…
Olusisira lw’ebyobulamu olugenda mu maaso mu ssaza laya Ssabasajja lujubiddwa.
Olusiisira luno luyindira ku mbuga lye ssaza wakati mu kwetegekera olunaku lwa Bulungi bwansi olugenda okukuzibwa nga 8 omwezi guno.
Minisita w’ebyobulamu mu bwa Kabaka bwa Buganda Dr. Ben Mukwaya agambye nti endwadde omuli omusujja, endwadde eziva ku bisolo wamu n’okulya obubi zeezisinga okujanjabibwa.
Dr Mukwaya agambye nti …
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti buli Muntu lweyetakula yeeyongera okusiiyibwa
Okunonyereza okukoleddwa mu mmese kulaga nti buli Muntu lweyetakula anafuya olususu olwo nelwongera okumusiiwa
Abakugu mu ndwadde z’ensusu bagamba nti kino kigenda kubayamba okuzuula lwaki eddagal etuufu ery’okukozesa ku bantu abasiiyibwa emibiri
Omuwendo gw’abalwadde abalina endwadde ezitawona nga beetaaga obujjanjabi obwenjawulo bweyongedde Okusinziira ku kibiina ekibudabuuda abalina endwadde ezitawona ekya Hospice Africa Uganda , abalwadde abali mu 250 beebetaaga okuyamba Omukulu mu kibiina kino Dr. Eddie Mwebesa agamba nti ku bano, ebitundu kkumi bokka beebayambiddwa Mwebesa agamba nti abasinga ku balwadde bano balina mukenenya, kokoolo ne sukaali.…
Okukolera mu ssaawa ezitali za mirimu kisobola okukaddiya obwongo bw’omuntu
Okunonyereza kuno kufulumidde mu kitabo ekitunuulira engeri emirimu gyegikosamu abantu
Abantu bano bwebati obwongo bwaabwe bukyuuka ng’okubutereeza kitwala emyaka etaano.
Abakugu bagamba nti ebizuuliddwa byakuyamba okutegeera engeri abantu gyebatandikamu okuwutta ng’abamu batuuka n’okubulwa otulo oba okugugumuka
Abanonyereza bano bamalirizza nga bagamba nti omubiri gw’omuntu gwakolebwa okubeera nga gukola emisana…
Ab’ebyobulamu abali eyo mu 80 bebayunguddwa okujanjaba abantu ba beene nga twetegekera olunaku lw’ebyobulamu olutegekeddwa nga 29 November.
Kino kibukuddwa ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’olunaku luno Dr Musisi olugenda okubeera mu ssaza lya ssabasajja erye Buddu mu lukungaana olukubiriziddwa omwogezi w’essaza lino Dick Lukyamuzi Ssenyondo.
Dr Musisi agamba enteekateeka eno yakukulungula wiiki namba nga abantu ba beene bajanjabibwa…