Amawulire

Abakozi ba Daily Monitor balongosezza eddwaliro lye Kisubi

Ali Mivule

October 27th, 2014

No comments

Mu nkola ey’okuddiza abantu, abakozi mu kkampuni ya Monitor olwaleero balongosezza edwaliro lye Kisubi Hospital Entebbe road. Abakozi bano balongosezza waadi empya omugenda okudda abalwadde abamu nga kw’otadde n’okugabira abazadde n’abaana amata ga Mega Milk n’omugaati gwa Superloaf Atwala eddwaliro lino Doctor Robert Asaba asiimye […]

Abalwadde b’akafuba beeyongedde

Ali Mivule

October 24th, 2014

No comments

Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kigamba nti abantu emitwaalo 50 beebalina obulwadde bw’akafuba Mu mwaka oguwedde gwonna abantu obukadde mwenda beebafuna akafuba okwetoloola ensimbi yonna okwawukanako n’obukadde munaana kitundu abafuna obulwadde bwebumu mu mwaka 2012. Wabula yadde guno bweguli, omuwendo gw’abafa obulwadde buno ggwo gukendedde Abali […]

Abakebera aba Ebola babanja

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Abekebejja abantu abayingira mu ggwanga ku kisaawe Entebbe bazzeemu okwemulugunya nti tebasasulwa Abakozi bano abasoba mu 5o baweebwa emirimu mu mwezi gw’omunaana oluvanyuma lw’obulwadde bwa Ebola okutabuka mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa Abamu ku bakozi bano bagamba nti bamaze emyezi ebiri nga tebasasulwa Wabula omuwandiisi […]

Ebola ekyasattiza amawanga

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kisisinkana akadde konna okukubaganya ebirowoozo ku bulwadde bwa Ebola obusenkanyezza enkumi mu mawanga agatali gamu Olukiiko luno olutudde mu Geneva lwakutunuulira engeri y’okunywezzamu ensalo n’engeri gyekiyinza okuyambamu Bino bizze nga mu America, abo bonna abava mu mawanga agalimu Ebola balina okukeberebwa […]

KCCA etusabe eddagala- NMS

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Ekitongole ekitereka ebikozesebwa mu malwaliro kisabye aba KCCA okuwaayo okusaba kwaabwe okufuna eddagala Kiddiridde aba KCCA okutegeeza ng’omujjuzo bwegubayitiriddeko okuva eddwaliro lye Mulago lweryatandika okukolebwaako nga kati n’eddagala lya kwekuba mpi. Akulira ebyobulamu mu KCCA Dr.Daniel Okello agamba nti eddagala lyebasinga obutaba nalyo lyeeyo elikola […]

Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo w’amabeere

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Abakyala bonna basaanye okukeberebwa kokoolo w’amabeere Akulira ekibiina ekiyamba ku bakyala abafuna kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti kirina okufuulibwa eky’etteeka nti abakyala bonna bakeberebwa kokoolo ono okusobola okufuna obujjanjabi nga bukyaali Mayengo agamba nti gvaumenti eyinza okukulemberamu omulimu guno ng’ekikola mu malwaliro gaayo gonna. Okusinziira […]

Obubaka ku mukenenya bukyuukemu

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Abakulembeddemu olutalo ku mukenenya basabiddwa okukyuusa mu bubaka okutambula n’embeera z’abantu. Akulira okutekerateekera essomero ly’ebyobulamu e Makerere prof. Fred Ssengoba agamba nti abantu bafuna ekirwadde kya mukenenya enkya n’eggulo kubanga ekikoleddwa kitono okuziyiza ekirwadde kino Prof Ssengoba agamba nti mu kadde kano Uganda yeesibye bwegutuuka […]

Eyali yasanyalala atambudde

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Omusajja eyali yasanyalala amagulu gonna olwaleero azzeemu okutambula  oluvanyuma lw’okulongoosa Kuno kwekulongoosa kw’ekika kino okusoose okuvaamu ebibala Darek Fidyka yali yasanyalala okuva mu kifuba okukkira ddala okutuuka ku magulu oluvanyuma lw’okufumitibwa ekiso mu mwaka gwa 2010. Abakugu okuva mu ggwanga lya Poland beebakoze ku musajja […]

Kabuyonjo tezimala

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Abakulembeze mu gavumenti z’ebitundu basabiddwa okukulembera olutalo okulaba nti buli maka gaba ne kabuyonjo Minisita omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti mu kadde kano abantu abaweza ebitundu 74 ku kikumi beebalina kabuyonjo naye nga basobola okweyongera Opendi agamba nti obutaba na kabuyonjo […]

Uganda yava dda ku mulamwa ku bakyala abafiira mu sanya

Ali Mivule

October 20th, 2014

No comments

Eggwanga lyava dda ku luguudo okutuukiriza ekigendererwa ky’ekyaasa namba ttaano nga kino kikwata ku kukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya Akulira ekiwayi ekitekeerateekera essomero ly’ebyobulamu e Makerere Prof Fred Sengoba agamba nti yadde omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya bakendeddde nga kati bakyala 146 ku mitwaalo […]