Ebyobulamu
Temuboola balina Ebola
Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Ban Ki-moon avumiridde eky’okuboola abasawo abakola ku balina endwadde ya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa Ono agamba nti mu kadde kano amawanga mangi agalina abasawo mu mawanga gano bwebadda ewaka babawula ku bantu kyokka nga mu kaseera kano abasawo bano bamugaso […]
Yaka atuuse mu malwaliro
Minisitule ekola ku byobulamu etegeezeza nga bw’egenda okubunya enkola y’amasanyarlaze ya yaka mu malwaliro gonna okusobola okukendeeza ku nkozesa y’amasanyalaze mu malwaliro gano. Minisita e’ebyobulamu akola guno na guli Dr. Elioda Tumwesigye atugambye nti kino kigendereddwamu kumalawo kizibu kya nsimbi z’amasanyalaze n’amazzi okwetuuma. Tumwesigye agamba […]
Abasawo baleseewo emirimu
Emirimu gisanyaladde ku ddwaliro ekkulu erye Pallisa, abasawo bwebasuddewo emirimu okumala essaawa mukaaga okulaga obuwagizi munaabwe gwebaggulako emisango gy’okuvaako okufa kw’omukyala w’olubuto Bosco Obete nga y’akulira eddwaliro ategeezezza bannamawulire nti abakozi baggwaamu amanyi okuva munaabwe lweyaggulwaako emisango egy’okutta omukyala Jessica Alupo eyafa oluvanyuma lw’okuvaamu omusaayi […]
Amata ganafuya amagumba
Okunywa ennyo amata tekikendeeza ku bulabe bw’omuntu okunafuwa amagumba Okunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya Sweden kulaga nti abakyala abanywa giraasi z’amata olunaku ate bali na mu bulabe bw’okunafuwa amagumba okusinga kw’abo abataganywa. Abanonyereza bano bagamba nti basalawo okunonyereza ku nsonga eno okukakasiza ddala oba amata […]
Amayumba g’abasawo gasemberedde okuggwa
Omulimu gw’okuzimba enyumba z’abasawo be Mulago gusemberedde okuggwa Enyumba zino zakuyamba okutereeza empereeza mu ddwaliro e Mulago kubanga bangi bava bweru, ekikalubya emirimu gyaabwe Yinginiya wa minisitule y’ebyobulamu Henry Matega agamba nti enyumba 100 zeezigenda okusooka okumalibwa kyokka ng’ekigendererwa kyaabwe kya nyumba 2000 ezijja okukomekkerezebwa […]
Ab’embuto abafa beeyongedde
Abakyala bakyasanga obuzibu okufuna byebetaaga nga bali embuto ekyongedde omuwendo gw’abafa Bannakyeewa abali mu byobulamu by’abakyala n’abaana bagamba nti abakyala 17 beebafa buli lunaku ate nga bwegutuuka ku baana abawerera ddala 282 beebafa buli lunaku olw’obutafuna ddagala Omu ku bakulu mu mukago gwa bannakyeewa mu […]
Kasasiro abatta
Abantu ababeera okumpi n’eddwaliro lye Masaka bakooye kasasiro ava mu ddwaliro lino Eddwaliro lino lirina ekipipa kya kasasiro ebweru omusuulibwa kasasiro okuva ku ddwaliro nga kino kiri kumpi n’oluguudo olugenda e Katwe Kasajjagirwa Abatuuze ababeera ku byaalo ebiri okumpi n’ekipipa kino bagamba nti kasasiro abayitiriddeko […]
Okujjanjaba endwadde ezitasiigibwa
Ab’omukutu gwa yintaneti ogwa Google batandise okunonyereza ku ngeri y’okutegeeramu nti omuntu agenda alina kokoolo, bulwadde bw’omutima oba okusanyalala n’endwadde enzala ezitasiigibwa Bagaala kuyiiya ekyuuma ekiyinza okussibwa ku mukono gw’omuntu nekitegerekeka nti mulwadde. Ekyuuma kino kyakukolagana n’empeke ezimiribwa olwo omubiri neguzuukuka Okutegeera abantu obulwadde bwa […]
Amalwaliro gafunye emifaliso
Minisitule y’ebyobulamu olwaleero etandise okugaba emifaliso mu malwaliro ga gavumenti Emifaliso gino akanaana gimazeewo akawumbi kamu mu obukadde 250 nga gyaguliddwa oluvanyuma lw’ababaka ababadde balambula amalwaliro ga gavumenti okulagira nti gigulwe Ababaka bano bakizuula nti yadde amalwaliro galina ebitanda, tekuli mifaliso era gyebigweera ng’abalwadde beebase […]
Ebiku biremesezza abayizi okusoma
Ebiku ebiyitiridde mu masomero naddala mu disitilikiti ye Mpigi bikoseza nyo ensoma y’abaana okusinzira ku kunonyereza okukoleddwa abali abayizi mu district eno wamu n’abasawo. Abasoose okubirozaako beebayizi ba St Balikuddembe Mitala Maria. Ng’afulumya alipoota ekwata ku biku n’engeri gyebikosezzaamu abayizi, akulira abaali abayizi Remmiguis Kasozi […]