Ebyobulamu
Olunaku lw’abatalaba- omuggo gwebakozesa mukulu
Kkampuni ya monitor publications yegasse ku bakuza olunaku lw’okutumbula omuggo ogukozesebwa abalema Olunaku luno lukwatibwa buli nga 14 omwezi gw’ekkumi nga lukwatagana n’olw’okulwanyisa endwadde z’amaaso Kati abakozi ba monitor bayambye ku bantu bano okutambula okuva ku centenary park okutuuka e Lugogo ku katikati Omu ku […]
Omulala afunye Ebola mu America
Omusawo omulala akakasiddwa okuba n’ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya America Kati abasawo babiri beebakafuna obulwadde buno nga bonna baakwata ku musajja enzaalwa ye Liberia eyafa ekirwadde kino ssabbiiti ejja Yye akulembeddemu olutalo ku Ebola okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte agamba nti ensi ezze emabega […]
E Gulu Kasattiro ka Marburg
Mu ddwaliro lye Lacor bwerinde bwenyini oluvanyuma lw’omulwadde atwaliddwawo nga ateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg. Akulira eddwaliro lino , Dr Cyprian Opira agamba omulwadde ono ayawuddwa ku balala nga bwebalinda ebinaava mu kukeberebwa. Omulwadde ono yatwaliddwa mu ddwaliro lino nga alina obubonero bw’abalina Marburg nga […]
Endwadde z’amaaso- Mulye emmere erimu ebiriisa
Okulya emmere erimu ebiriisa byonna kiyamba okulwanyisa endwadde z’amaaso Atwala eby’amaaso mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Steven Bubikire agamba nti endwadde z’amaaso zisobola bulungi nnyo n’okutawaanya abaana abato kavuna baba nga tebalya bulungi Bino Dr.Bubikire abyogeredde mu nkambi ekubiddwa okukebera n’okulongoosa amaaso kko n’okutunda galubindi eri […]
Ebola ayongera kutabuka
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kirabudde nti eky’obulwadde bwa Ebola okutuuka mu bibuga mu mawanga agakoseddwa kyanditabula embeera Amyuka akulira ekibiina kino Bruce Aylward agamba waliwo okugayaala ng’obulwadde buno bwakatandika mu Guinea, Liberia ne Sierra Leone. Amawanga gano gaasabye dda nti gongerwe ku buyambi okusobola […]
Yinsuwa ku byobulamu ejja
Mu kawefube w’okulongoosa ebyobulamu mu ggwanga, minisitule y’ebyobulamu ereese enkolaku yinsuwa y’obulamu Bino byogedddwa kamisona akola ku by’okutekeerateekera minisitule eno Dr. Francis Runumi Mwesigye bw’abadde ayogerako eri bannamawulire Agamba nti abantu bajjanga kuba basasula ssente ez’omwaka olwo bwebalwaawo nebajjanjabwa Dokita Runumi agamba nti kino kijja […]
Abakadde bakufuna enkambi
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mukono bakuzzaawo enkambi z’ebyobulamu eri abakadde. Nkambi zino zabangawo buli mwezi era nga zibeera ku bagombolola kyokka neziyimirizibwa olw’ebbula ly’ensimbi. Amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Mukono Kigundu Musa agamba nti bakyakola ku by’ensimbi olwo baddemu kubanga abakadde beetaga obujjanjabi buno
Temulumba bisolo okulwanyisa Marburg
Pulezidenti Musweveni agamba nti endwadde ezizze zibalukawo nga Ebola ne Marburg zivudde ku bantu kwesenza ku bibira Pulezidenti agamba nti abantu bano basemberera ebisolo by’omunsiko ng’enkima nga bino bibasiiga endwadde nebazitambuza Asabye abakola ku bibira okunyweeza amateeka ku besenza ku bibira okukendeeza ku ndwadde Agamba […]
Okugaba omusaayi kutandise
Yuniti z’omusaayi 300 zeezisuubirwa okuva mu kawefube w’okukunga abantu okugaba omusaayi akulembeddwaamu aba Quality Chemicals. Omusaayi guno gugenda eri bamaama abazaala nga beetaga omusaayi Akulira Cipla Quality Chemicals Emmanuel Katongole agamba nti eggwanga lifuulwa abantu bangi olw’obutabaawo musaayi gubassibwaako Katongole agamba nti kawefube w’okusonda omusaayi […]
Omusawo wa Spain yakwata ku mulwadde
Omusawo enzaalwa ya Spain eyafunye ekirwadde kya Ebola kigambibwa okuba yekwata mu maaso ng’amaze okukola ku mufaaza eyali efa Teresa Romero, ye muntu asoose okufuna obulwadde buno ng’ali wabweru w’obugwanjuba bwa Africa. Omusawo ono yakola ku balamazi okuva mu Spain babiri nga bano baafa mwezi […]