Ebyobulamu
Senyiga mulwanyisa na mazzi
Obadde okimanyi nti omuntu amala ennaku bbiri ng’anfunye ssenyiga kyokka nga talaga Senyiga omu ku mutendera guno oluusi abula ate n’adda omuntu n’ataggwaako lunyira Omusawo mu ddwaliro e Mulago Dr Charles Kasozi agamba nti senyiga w’ekika kino akwata abantu abalina ebizibu mu nyindo zaabwe naddala […]
Eddwaliro lye Kabale lyakutereezebwa
Minisitule y’ebyobulamu ewaddeyo ettaka okugenda okuzimbibwa leeba ku ddwaliro lye Kabale Akola ku by’obulwaliro mu minisitule y’ebyobulamu Dr Jacinto Amandua agamba nti omulimu gwakumala emyezi 14 Dr Amandua agambye nti gavumenti ya Japan yeeyabaddukiridde n’obuwumbi 370 okukola ku malwaliro agawera okuli n’erye Hoima ne Fortportal. […]
Hepatitis B atabukidde abe Lango
Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza ng’obulwadde bwa Hepatitis B bwebuzzeemu ate okutawaanya abe Lango Abayizi bana okuva ku ssomero lya Aduku Secondary School mu disitulikiti ye Apac beebamaze okukakasibwa okuba n’ekirwadde kino era nga bassiddwa mu nkambi yaabwe ku Aduku health center IV. Ku ntandikwa y’omwaka guno […]
Kokoolo w’amabeere ekimusibyeewo butamanya
Obutamanya busongeddwaako ng’ensibuko y’obulwadde bwa kokoolo w’amabeere obweyongera buli lunaku Abali mu byobulamu bagamba nti abakyala bangi tebamanyi bikwata ku kokoolo wa mabeere ng’abasinga batuuka n’okugenda mu basawo b’ekinnansi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro. Akulira ekibiina ekiyamba abakyala abalina kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti abakyala […]
Obulwadde bwa Marburg- Gavumenti tetudde
Omuwendo gw’abantu abateberebezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg gwongedde okulinnya. Abalala 17 baawuddwa mu bantu abalala nga kati abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kino bali 97 Alondoola endwadde ezibalukawo mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Isa Makumbi agamba nti batandise n’okusomesa abasawo e Mengo ku ngeri gyebayinza okukwatamu abantu abalina ekirwadde […]
Omuyizi eyagobwa ku ssomero- bannakyeewa batabuse
Ekyamangu kirina okukolebwa okubonereza abaagobye omuyizi olw’okubeera n’obulwadde bwa mukenenya Abalwanyisa obulwadde bwa Mukenenya bagamba nti ekikolwa ky’okugoba abalina obulwadde bwa mukenenya tekikkirizika era kirina okuvumirirwa Kino kiddiridde omuyizi ku ssomero lye Nalufenya Primary school e Pallisa okugobwa ku ssomero lwakubeera na siriimu. Akulira ekibiina […]
Essomero lya Philly
Ab’enyumba y’omugenzi Philly Lutaaya batongozezza eddimu ly’okusonda ensimbi ez’okuzimba essomero erinasomesa n’okulabirira abayizi abalina obulwadde bwa Mukenenya Akulira ekibiina kya Philly Lutaaya foundation Tezra Lutaaya agamba nti essomero lino lyakuzimbibwa Gomba omugenzi gyeyazaaliba Agamba nti essomero eno lyakukolanga ku bavubuka nga bisatu nebannamwandu ababonaboona […]
Omusawo munnayuganda afunye Ebola
Omusawo munnayuganda ayatwalibwa mu ggwanga lya Sierra Leon okujanjaba ekirwadde kya Ebola akwatiddwa ekirwadde kino. Omusawo ono kati addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Frankfurt mu ggwanga lya German era ng’ayawuddwa ku balwadde abalala. Abantu abasoba mu 3,000 beebakafa ekirwadde kya Ebola mu mawanga ga West […]
Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga ayagala kifuuke kya buwaze abakyala okukuberebwa kokoolo wa nabaana. Kadaga agamba nti eno y’engeri yokka ey’okulwanyisaamu ekirwadde kino. Sipiika agamba nti abakyala bangi batuuka mu ddwaliro kikereezi gyebigweera nga tewali kya kutaasa. Mu malwaliro ga gavumenti kokoolo ono akeberebwa […]
Omusawo bamutadde ku kisenge
Omu ku basawo abakulembeddemu okujjanjaba abalina ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Liberia assiddwa mu nkambi oluvanyuma lw’omuyambi we okufa ekirwadde kya Ebola Minisita omubeezi akola ku byobulamu mu ggwanga lya Liberia agamba nti omusawo ono bamwawudde mu bantu kubanga yadde talina bubonero bwonna naye […]