Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Siirimu wakulabika nga bukyaali mu baana

Abakugu bazudde enkola abasawo gyebayinza okukozesa okutegeera abaana abazaaliddwa n’ekirwadde kya mukenenya. Minisitule y’ebyobulamu etongozezza enkola eno ekozesa ekyuuma eky’omulembe Minisita akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti luli kibadde kibatwalira ssabbiiti bbiri ekitono ennyo okukebera omwana kyokka nga kati kyakumala ssaawa busaawa. Omu ku bakulembeddemu okuzuula ekyuuma kino Dr Laurdes Nadala agamba nti abaana abaweza ebitundu…

Read More

Poliyo yandiddamu okujojobya Uganda

Okubalukawo kwa Poliyo mu mawanga agaliraanye Uganda okuli Somalia, Central African republic ne Mu Kenya kwandikosa olutalo ku bulwadde buno mu uganda Okusinziira ku musawo omukugu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr Bakyaita Basajja Tebadiba, obulwadde buno bwandituuka ne wano olw’ensalo ezitaliiko nnyo natti Dr Bakyaita agamba nti Uganda yeewa omwaka gwa 2018 okubeera ng’obulwadde buno buweddewo kyokka…

Read More

Abawala abajjamu embuto bakweyongera

Okujjako nga amateeka  gateekeddwawo, abawala abatoabagyamu embuto mu ggwanga baakweyongera. Alipoota y’ekibiina ekinonyereza ku by’obulamu ekya White Ribbon Alliance yalaze nga abakyaala abafiira mu ssanya bwebeyongedde okuva ku 16 okutuuka ku 17 buli lunaku. Ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka abakyaala  Betty Amongi  agamba abawala abafuna embuto nga tebaneetuuka bebavuddeko abakyaala abafiira mu ssanya okweyongera. Ono agamba minisitule y’ebyobulamu esaana…

Read More

Abalema bayambiddwa

Abalwadde abalina obulemu,abasoba 500 bebafunye obujanjabi obwobwerere okuva mu ddwaliro lye Mulago, mu kawefube awomeddwamu omutwe abasawo okuva mu ggwanga lya Bungereza. Akulemebddemu abasawo bano Dr. Trudy Owens agambye nti abalwadde bano bawereddwa ebintu omuli engatto z’abalema, obugaali n’ebintu ebirala. Wabula Dr. Owen, alaze okutya olw’omuwendo gw’abantu abalina obulemu ku mibiri okweyongera mu ggwanga.  

Read More

Ebola- Teri kutambula mu Sierra Leone

Mu ggwanga lya Sierra Leone abantu bassiddwaako natti okutambula okumala ennaku ssatu n’okigendererwa ky’okulemesa ekirwadde kya Ebola okubuna Abantu bangi babadde batya okutambula okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi kyokka nga katia basawo bakuva nju ku nju Abasawo abasoba mu mitwalo esatu era bagaba ssabbuuni n’okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu keirwadde kya Ebola Ate mu ggwanga lya Guinea, emirambo…

Read More

Abatunda taaba tebajja gavumenti ku mulamwa

Abali mu lutalo lw’okulwanyisa okufuuweeta sigala basabye palamenti okwanguyiriza okuyisa etteeka erinayongera okukugira okumukozesa . Nga boogerako eri bannamawulire, abakulu bano bagambye nti ekya kkampuni ezimu ezikola taaba okuggalawo kigendereddwaamu kuwa gavumenti birowoozo birala ebe ng’ebivaako. Ebbago ly’etteeka ku taaba lyakukaliga abakola taaba n’abamunywa ekyeralikirizza kkampuni ezitali zimu Akulira ekibiina ekirwanyisa taaba ekya Centre for Tobacco Control in…

Read More

Oluguudo lw’eddwaliro lwayonooneka

Abatuuze ku kyaalo Pachara mu disitulikiti ye Adjumani bakaaba luguudo lubi okutuuka ku ddwaliro lye Uderu health center II. Abantu bagamba ntu oluguudo luno kati myaka 20 ng’oluguudo lufu kyokka ng’ababatwaala tebenyeenya Oluguudo luno lulimi ekigoma wakati nga emmotoka zisanga obuzibu okutambula Omu ku batuuze William Tabu, agamba nti abasinze okukosebwa beebakyala b’embuto nga bangi bazaalira mu kkubo. Abatuuze…

Read More

TASO teggalawo

Ekibiina ekibudabuuda n’okujanjaba abantu abawangaala ne mukenenya  ekya TASO kigumizza abajanjabibwa yo nga bwebatagenda  kuggalawo . Kiddiridde amawulire agafulumye olwaleero nga galaga nti aba TASO bagenda kuggalwaawo olw'ebbula ly'ensimbi oluvanyuma lw'abagabirizi b'obuyambi okubijjamue nta. Omwogezi w’ekibiina kino Megan Katasi agamba yadde nga ensimbi okuva mu bagabi b’obuyambi zakendeera, bakyajanjaba abalina siriimu n’okusomesa abo  abatalina siriimu engeri y’okwekuumamu. Agamba…

Read More

Obupiira tebutuuka basajja

Ab’ekitongole ekitereka eddagala bagamba abo bonna abeetaga obupiira bu gali mpitawa basobola okuwaayo okusaba kwaabwe mu butongole Kiddiridde ababaka ba palamenti okuva ku bizinga okutegeeza ng’abavubi ku mwaalo gwe Senyi, Kiyindi ne Katosi bwebakozesa obuveera ne labbabbandi okwetangira ekirwadde kya Mukenenya. Ayogerera ekitongole ekitereka eddagala n’ebyobulamu ebirala, Dan Kimosho agamba nti naye enviiri zamuvudde ku mutwe bweyawulidde…

Read More

Abasawo mu by’endya balimba abantu

Abasawo mu byendya basaanye okussibwaako amateeka amakakali kubanga bangi babuzabuuza abantu Mu Lukiiko olwegattiddwaamu abasawo abakola ku by’endya okuva mu mawanga ga East Africa, abakugu mu by’endya bagambye nti abasawo bangi tebalina bukugu mu byandya nga byebawa abantu ate biyinza okusajjula embeera Akulira abakugu mu by’endya, Fredrick Kizito agamba nti tewali mateeka makakali ku basawo b’ekika kino…

Read More