Ebyobulamu

Ebbula ly’obupiira, akaveera keekakola kati

Ali Mivule

September 16th, 2014

No comments

Ebbula ly’obupiira bu galimpitawa litabuse mu bizinga nga kati abavubi bakozesa buveera Ebizuuliddwa akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’abavubi biraga nti abavubi bano bakwata obuveera buno nebabwenaanika nga basibyeeko obuguwa oba labbabbandi  olwo nebakola ebyaabwe Akulira akakiiko kano Dr.Lulume Bayiga agambye nti kino kisinze […]

Okufa kw’abakyala b’embuto- obukiiko tebukola

Ali Mivule

September 16th, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu erangiridde enteekateeka y’okukyuusa mu bukiiko bw’obulamu ku byaalo. Minista omubeezi akola ku bujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba ekigendererwa kwongera muwendo gw’abakyala abagenda mu malwaliro nga bali mbuto Minisita agambye nti kino kijja kuyamba okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya nga kati balinnye okutuuka […]

Omuwendo gw’abafiira mu sanya gweyongedde

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

Ekigendererwa ky’ekyaasa eky’okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kyandigaana okutuukirira Abali mu byobulamu bagamba nti ng’ebulayo omwaka gumu gwokka nsalessale atuuke, abakyala abafa nga bazaala kati batuuse ne ku 17 okuva ku 16 ababadde bamanyiddwa Omukugu mu by’empuliganya mu kibiina kya White Ribbon Alliance Faridah […]

Abalina omusaayi gwa AB beerabira nnyo

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Abantu abalina omusaayi gw’ekika kya AB bali mu bulabe bw’okwerabirarabira Ekika ky’omusaayi guno nno tekitera kulaba era nga kigambibwa nti ku buli bantu 100 abakirina baba nga bana Ebizuuliddwa byegasse ku byasooka nga biraga nti ekika ky’omusaayi gw’omuntu kimussa mu bulabe bw’okufuna obulwadde bw’omutima era […]

Obwongo busigala bukola ne mu tulo

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Abanonyereza okuva mu Cambridge ne Paris bagamba nti omuntu nebweyebaka obwongo busigala bukola. Okuzuula bano bano bagezesezza abantu nga batunula kyokka nga nebwebeebase, basigadde baddamu bituufu. Bagamba nti ate obwongo bw’omuntu nga yeebase buba bwoogi nnyo nga busobola n’okukola egimu ku mirimu egisinga okuba emizibu […]

Abadde asiiga banne siriimu akomeddwaako

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya America, omusajja abadde agufudde omuze okusiiga abalala obulwadde bwa Mukenenya alagiddwa obutakola kikolwa kino Omusajja ono webamuloppedde mu kkooti nga yakasiiga abantu munaana mu bbanga lya myaka ena. Omukulu ono amanyiddwa nga AO okusinziira ku biwandiiko bya kkooti era alagiddwa okugenda afuna […]

Empeke za siriimu ezikaaya zitulemesa- abalina siriimu

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu esuubizza okufuan eky’okuddamu eri empeke eziweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya ezikaawa Abantu abakozesa eddagala lino bangi beemulugunya nti emu ku empeke zebamira zikaawa ekivaako bangi obutagimira Kati Minisita w’ebyobulamu Dr Rukahana Rugunda agamba nti ensonga eno yabatuukako era tebatudde bayiiya eky’okukola […]

Amaaso ku bali mu bulabe bw’okufuna siriimu

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kateekateeka kuvaayo n’enkola empya ezitunuulidde abantu abali mu bulabe okufuna obulwadde bwa mukenenya. Ssentebe w’akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti bakizudde nti abantu bano okuli abavubi, bamalaaya n’aba bodaboda beebasinga okutambuza obulwadde. Prof Natulya agamba nti kati bagenda […]

Empeke z’otulo ziwussa

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Omuntu buli lw’amira ennyo amakerenda g’otulo aba yessa mu bulabe bw’okuwutta Okuzuula bino abanonyereza batunuulidde abantu abawera mu ggwanga lya Canada nga bano baali bakozesa nnyo amakerenda gano okufuna otulo Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 100 abamira empeke zino, abaweza ebitundu 51 ku kikumi […]

Abamu badda engulu nga balongoosebwa

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abantu abamu badda engeri nga bagenda mu maaso n’okubalongoosa yadde baba basirisiddwa Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu ababadde balongoosebwa 300 . Ku buli bantu emitwaalo 19 abalongoosebwa, omu adda engulu nga bakyamukolako Kino kibaawo ku naddala ku bakyala abaali balongoseddwaako […]