Ensimbi ezitamala zikyamesezza enteekateeka z’okutumbula empereeza ey’omulembe eri abalwadde mu ddwaliro lye Masaka
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi z’omuwi w’omusolo, addukanya eddwaliro lye Masaka , Dr Florence Tugumisirize agambye nti wadde balina abalwadde bangi, ebikozesebwa bitono nga n’abakozi batono
Tugumisirize agambye ku basawo 30 beebetaaga, balinako 10 bokka
Ateeezezza nti oluusi babulwa n’ezisasula amazzi…
Abasawo bakola kyonna ekisoboka okutaasa omwana eyazaaliddwa me feesi bbiri mu ggwanga lya Buyindi
Omwana ono yazaalibwa nga 22 omwezi guno era ng’embeera gy’alimu ssi ya bulijjo
Omwana w’ekika kino tatera kuzaalibwa nga mu buli baana emitwalo 10 omu y’azaalibwa era nga mu nsi yonna, abaana b’ekika kino 36 beebakazaalibwa kyokka nga teri yali alamye
Omwana ono alina…
Okukozesa eddagala ly’ebika ebibiri erigema poliiyo kisobola okuyamba okutangirira ddala ekirwadde kino okukwata omuntu
Okunonyereza okukoleddwa mu buyindi kulaga nti ssinga omwana aweebwa akadagala k’omu kamwa ate n’agattako empiso olwo agumira ddala nekitaba kyangu okufuna poliiyo
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna kigamba nti ebizuuliddwa biwa essuubi era bya byafaayo
Obulwadde bwa poliiyo buvaako omuntu okugongobala oluusi ekivaako okufa
Palamenti mu ggwanga lya Sierra Leone liyisizza etteeka erigufuula omusango omuntu okukweeka omulwadde wa Ebola
Anakwatibwa wakusibwa emyaka 2 .
Kati etteeka lino lisigalidde kussibwaako mukono gwa mukulembeze wa ggwanga
Lyo eggwanga lya Ivory Coast liggadde ensalo zaalyo okwewala okufuna ekirwadde kino ekifuuse ensonga mu nsi wonna.
Kyo ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kigamba nti amawanga agafubye okunyikiza olutalo ku…
Poliisi ye Mulago eriko omusawo omufere gwekutte .
Silver Oringa nga akola n’ekitongole ekiddukirize ekya Red Cross abadde ajja ku balwadde ensimbi nga abakolerako mu paakingi y’emmotoka.
Atwala poliisi y’eMulago , Hashim Kasinga agamba bazze bamulinya akagere nga baamukutte lubona ekiro ekikeesezza olwaleero nga ajjannaja omulwadde.
Wabula yye Oringa yyewozezzaako nga bwabadde ku bulungi bwansi kubanga abantu banji…
Eddwaliro lye Mulago lyetaaga ebyuuma ebikuza abaana okukola ku muwendo gw’abaana abeeyongedde abazaalibwa nga tebannaba kwetuuka
Okusinziira ku baddukanya eddwaliro balina ebyuuma bino 24 naye ng’ebikola biri 13 byokka
Omusawo omukugu mu nsonga z’abaana Dr Jamiru Mugalu agamba nti oluusi batuuka n’okubeera n’abaana 135 ku byuuma ebitono byebalina nabo nebasoberwa
Dr.Mugalu agamba nti kino kubawaliriza okussa abaana babiri…
Abali mu lutalo ku mukenenya bakyawanda muliro ku kya pulezidenti Museveni okussa omukono ku tteeka erinayamba okuziyiza mukenenya.
Abantu bano bagamba nti etteeka lino ligenda kuzza eggwanga amabega mu lutalo ku mukenenya
Akulira ekigatta abalina obulwadde bwa mukenenya mu East Africa Lilian Mworeka yewunyizza engeri eggwanga gyerinamalawo obulwadde buno ng’etteeka bweriti weeriri
Twogeddeko n’abalwanisa mukenenya abawera mu lukungaana…
Bannasayansi bazudde eddagala eriyinza okuyamba abantu nebatamanyuuka nviiri kufuna kiwalaata
Eddagala eryogerwaako lyelibadde likozesebwa ku bantu abalina amagumba agatayunga bulungi
Eddagala lino erimanyiddwa nga ruxolitinib liyamba omuntu okumera enviiri
Abakoze okunonyereza kuno beeba Columbia University Medical Center.
Ekiwalaata nno yadde abamu bakiyita kabonero ka bugagga naye bulwadde bwneyini.
Mu ggwanga lya Bungereza, ku buli bantu olukumi b’osanga babiri babeera n’ekiwalaata
Bannasayansi…
Veri Junior Kengoro ye Muntu asoose okuganyulwa mu nkambi ekubiddwa mu ddwaliro e Mulago okulongoosa abalina ebizimba ku bwongo.
Kengoro aludde ng’alumizibwa omutwe nga talina maanti kyokka nga bino kati lufumo
Ono nno yoomu ku balwadde 30 abalina ebizimba ku bwongo abalina okulongoosebwa mu nkambi efundikirwa ku lw’okusatu lwa ssabbiiti eno
Akulira abalongoosa emitwe, Dr Michael Muhummuza omuwendo…
Minisitule y’ebyobulamu yeetaga obukadde bwa doola 600 okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu myaka etaano egijja.
Enteekateeka eno esuubirwa okussa mu nkola ezinalwanyisa omusujja gw’ensiri omuli okufuuyira
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr. Asuman Lukwago agambye nti bakafuna obukadde bwa doola 200 okutandikirawo.
Lukwagoa gamba nti bagaala kutandikirawo okufuuyira naddala mu bifo ebirimu ennyo ensiri.
Omusujja gw’ensiri gwegwakasinga okutta abantu mu…